Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ssabalabirizi Ntagali bamutwala mu kkooti

File Photo:Stanley Ntagali nga ayogeera Waliwo ekibinja kyabakulisitu abali eyo mu 200 abasazewo okukuba ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali mu kkooti nga bamulumiriza okulwawo okulonda omulabirizi w’obulabirizi bwa west Ankole.   Bano nga bakulembeddwamu  Zeddy Byakyaro ne Phillip Murwani bagamba nti olukiiko lw’abalabirizi lwatuula nebalonda abalabirizi ba Bunyoro Kitara ne West Buganda wabula tebalonda wa West Ankole…

Read More

Omubaka Kabaziguruka bamusibidde waka

File photo: omubaka we'nakawa Kabaziguruka Omubaka w’egombolola ye Nakawa  Micheal Kabazigurika  akyasibiddwa mu nyumbaye oluvanyuma lwa poliisi okumuyimbula ku kakalu kayo akawungeezi akayise.   Kabaziguruka yakwatibwa okuva mu makage ku lunaku lwokusatu n’agalirwa ku kitebe kya poliisi ekola ku misango egyenjawulo wali e Kireka ku misango egyekuusa ku butujju.   Kati nga ayogerako naffe okuva mu makage, Kabaziguruka  ategezezza nga…

Read More

Aba bbomu bajulidde

Abasajja 7 ebasibibwa amayisa wamu n’emyaka 50 ku musango gw’okutega bbomu mu kampala mu mwaka gwa 2010 baddukidde mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ebibonerezo byabwe bino. Bano kuliko  Isa Luyima, Haruna, Luyiima, Suleiman Nyamandondo , Hassan Agade, Idris Magondu, Habib Njoroge ne  Muhammed Ali era bayise mu kitongole ky’ebyamakomera okujulira.   Mu kiwandiiko kyabwe ekyokujulira, bategezezza kkooti ejulirwamu…

Read More

Ogwa Besigye teguwuliddwa

File Photo: Besigye nga yetorodwa abaserikale ba makomela Omusango gwa DR Kiiza Besigye ogw’okujeema mu nkola ya defiancy campaign mu kkooti etaputa ssemateeka gugudde butaka. Omusango guno gubadde gwakuwulirwa abalamuzi 5 amakya galeero. Wabula olutuuse mu kkooti, bannamateeka ba ssabawolereza wa gavumenti nga bakulembeddwamu amyuka ssabawolereza Mwesigwa Rukuntana wamu ne munnamateeka w’ekibiina kya FDC   Ladislous Rwakafuuzi bategezeddwa…

Read More

Emirambo gikyabuze

Poliisi yokumazzi ekyanoonya emirambo gy’abantu 2 kwabo abaagudde mu Nyanja nalubaale nebafa olunaku lw’eggulo.   Bano bebamu ku baabadde ku lyato elyabadde okwabadde abantu 10 okuva ku kizinga kye Mpenja nga baabadde badda Gaba 3 nebafa, 5 nebataasibwa sso nga emirambo 2 gikyabuze.   Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba emilambo gya  Frank Musilamu ne  Irene…

Read More

Abatamiivu babagobye mu kanisa

Abatamiivu bonna bagobeddwa mu kanisa ye All Saints Obanga pe wany mu disitulikiti ye Lira. Rev Tonny Mike Okello  y’awadde ekiragiro kino ekitandika okukola ku ssande ejja oluvanyuma lw’abasabi okuggya mu misa y’eggulo kumpi kimu kyakubiri nga bawunya omwenge nga era embwa bagiyita ngwa.   Rev Okello agamba omuntu bwategeera nti atamidde erigenda ku kanisa alyesonyiwe  abeere ewuwe…

Read More

Bannamagoya bemulugunya

File Photo: Banamagooye nga baali mulutuura Bannamagoye abasoba mu 500 bateeseteese okukukumba ku nguudo ze Jinja okwongera okumanyisa abalala nti nabo bantu abatasanye kusosolwa era kutunulibwa nga bikolimo.   Ssentebe wabanamagoya abava e Jinja Peter Ogik agamba bakweyiwa ku nguudo nga 13 June bamanyise abalala nti nabo bantu.   Ogik agamba abantu bangi balina endowooza nti bannamagoye nsibuko ya bugagga…

Read More

Omuvubuka waba illuminati akwatiddwa

File Photo:Fred Enanga nga araga abamawulire omuvubuuka agambibwa okubeela owa eluminati Omuvubuka abadde yeyita Jeff Kiwa maneja w’abayimbi nga asuubiza abantu okubayingiza mu kibiina kyeizikiza ekya illuminati bafune obugagga akwatiddwa. Moses katende nga mutuuze ku kyalo  kijabijjo  e Gayaza akukunuddwa  Galiraya mu disitulikiti ye  kayunga gy’abadde yekukumye.   omuvubuka ono nga wamyaka  18 n’akkiriza nti yeyali n’emabega w’okusendasenda  omuvubuka …

Read More

Lukwago Alayidde

File Photo:Omuloodi wa Kampala nga tuuka ku city hall okulyayira Kyaddaaki Erias Lukwago alayiziddwa  ku  bwa loodi meeya bw’ekibuga Kampala. Lukwago alayiziddwa wakati mu mizira okuva erio namunji w’omuntu azze amuwerekera okuva ewuwe e Wakaligan’ababadde bamulindidde  ku City hall. Bannabyabufuzi abenjawulo bawerekeddeko Lukwago wakati mu kusaakanya nti omuloodi waali. Bakansala ba KCCA bebasoose okulayizibwa olwo omuloodi naye n’akuba ebirayiro. Wabula…

Read More

E kalungu baweze ebyuma bya Zaala

Mu kawefube w’okulwanyisa obuzzi bw’emisango mu disitulikiti ye Kalungu, ab’obuyinza mu disitulikiti eno baweze ebyuuma bya zaala byonna.   Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Abu-Bakr Lubega Kaddunabi ategezezza nga abamenyi b’amateeka bangi bwebamala ebiseera byabwe ku byuma bino nebagaana okukola bwebuziba nebatabaana ebyalo nebatulugunya abatuuze.   Agamba kizibu okuzuula bananyini byuma bino kubanga bangi…

Read More