Amyuka ssentebe w’ekibiina kya DP nga era ye mubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awabudde ab’oludda oluvuganya gavumenti obutasuulawo buvunanyizibwa bwabwe obwokulonda gavumenti y’ekisikirize mu palamenti.
Nambooze agamba oluvanyuma lw’ebibiina by’obufuzi okusemba ababaka baabwe okulayira kati baabasulawo.
Nambooze agamba betaaga akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti era n’asaba abalonda aba FDC okwebuuza ku bekikwatako bonna nga…
File Photo: Sabalabirizi wa uganda Stanly Ntagaali
Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda yegaase ku bazze bavumirira ekya sipiika wa palamenti okuyingira essabo okwebaza bajjaja okudda ku bwa sipiika wa palamenti.
Ssabalabirizi Stanley Ntagali mu kiwandiiko ky’afulumizza ategezezza nti yadde nga bakkiririza mu by’obuwangwa, obwesige bulina kubeera mu mukama katonda yekka nga era y’alina okumalira buli omu ebyetaago bye.
Ntagali…
File Photo: Abanonyereza ku mivuyo mu kitongole kye nguudo
Pulezidenti Museveni bamukwasizza alipoota ya mpapula 1,300-eyakoleddwa ku kunonyereza ku mivuyo egyali mu kitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga.
Omulamuzi Catherine Bamugemereire owa kkooti ejulirwamu eyakuliramu okunonyeerza okwemyezi 6 y’akwasizza pulezidenti alipoota eno.
Ezimu ku nsonga ezanonyerezeddwako kuliko obutabalika 9 obwalina okukozesebwa mu kuzimba enguudo eziwezaako kilomita 1500 mu myaka 7…
File Photo: Abateberezebwa okutegga bomu mu kooti
Amasanyalaze gakyakareyezza okuwa ensala ku musango gw’abantu 13 abavunanaibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 mu kampala mu 2010 batuuse mu kkooti enkulu.
Amasanyalaze gavuddeko oluvanyuma lw’ekinyonyi okugwa mu waya z’amasanyalaze.
Byo ebyokwerinda binywezeddwa ku kkooti yonna nga era ssibuli omu nti asalimbirayo wabuloa nga tekilobedde abantu abenjawulo okugenda ku…
Abalwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga tebalinanyo Ssuubi mu palamenti eyekkumi oluvanyuma lwa sipiika n’omumyukawe okudda mu bifo byabwe.
Olunaku olweggulo Rebecca Kadaaga yazze ku kyasipiika awatali amuvuganya ye Jacob Oulanyah n’amegga Mohamad Nsereko ku kyomumyuka.
Kati akulira ekibiina kya Anti-Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba bannayuganda tebasubira kingi kuva mu palamenti eno olwobukulembeze obutakyuka.
Gavumenti za Uganda nga eli wamu neya Tanzania ne Ethiopia zifunye obukadde bwa doola 6 okulwanyisa obusolo nga emmese ne kamuje obufukidde ddala ekizibu ku kufiiriza abalimi nga bulya emmere gyebalima.
Ssente zino ziweereddwayo aba banka yensi yonna wansi w’enkola y’amawanga ga Africa eya African Centres of Excellence Project.
Wano mu Uganda yunivasite Yunivasite ye Buseitema y’egenda…
File Photo: Besigye mu kaguuli
Bannamateeka ba munna FDC Dr. Kiiza Besigye balabikanga nga abaweddemu essuubi ku musango ogumuvunanibwa.
Omu ku bannamateeka Yusuf Nsibambi agamba Besigye bazze bamukyusa okuva mu kkomera limu okumutwala mu ddala nga bamuggulako emisango gy’okulya mu nsi ye olukwe awatali kukkiriza bannamateekabe kumukiikirira.
Agattako nti n’essawa z’alina okuleetebwa mu kkooti zizze zikyusibwakyusibwa nga tebamutegezezzanako.
Nsibambi…
Poliisi e Mukono egalidde omusajja owemyaka 41 ku bigamibwa nti
yakidde omwana owemyezi n'amusobyako.
Musajja mukulu ategerekeseeko nga Mukulu Yusuf omutuuze we Bukwakwa ekisangibwa mu bizinga bye Koome mu district ye Mukono yagaliddwa olvanyuma lw'okusobya ku mwana owemyezi 11 gyokka.
Kino kidiridde maama womwana ono Esther Nalubega okulaba omwana we ngattonnya omusaayi, songa omuvubuka ono abadde yakava okumpi…
Poliisi ye Kyenjojo eriko omusajja ow’emyaka 54 gwekutte lwakutuga mukaziwe lwekugaana kumufumbira kyaggulo.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kyenjojo Ibra Bataasi agamba omukwate ono yafulumye ne mukaziwe okuva mu bbaala oluvanyuma omwami n’agulayo kilo yenyama omukyala afumbe.
omukyala yaganye okufumba enyama nga agamba akooye sso nga bonna batamidde n’ekyaddiridde nguumi n’amutuga n’amutta.
Omugenzi ategerekese nga Tumusiime.
Ab’ebibiina byobwanakyewa basanyukidde ekya pulezidenti Museveni okugaana okussa omukono ku tteeka erijja ababaka ba palamenti mwabo abalina okusasula emisolo ku nsako yaabwe.
Pulezidenti Museveni bano yabaddizza ebbago lino baddembe okulyekenenya bave ku by’okwejja mu balina okusasula omusolo.
Omukwanaganya w’ekibiina ekikola ku byambalirira ekya CSBAG Julius Mukunda agamba buno buwanguzi bwamanyi era palamenti erina okugoberera amateeka.