File Photo: Akulira akakiiko ke'byo kulonda
Akakiiko k’ebyokulonda kakusasanya obuwumbi obuli eyo mu 5 okutegeka okulonda kw’obukiiko bwa gavumenti ez’ebitundu obwasigalira mu kulonda okwakaggwa.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Badiru Kiggundu agamba okulonda ku mitendera egyenjawulo kwakutandika nga 17 May kukomekerezebwe nga 31 May nga era bassentebe bazidisitulikiti wamu n’amagombolla abasigalira mwebagenda okubalondera mu disitulikiti 109.
Okulonda kuno kwakubeera mu…
N’okutuusa kati Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ne Paasita Pr. David Happy Ngabo ow’ekanisa ya Rock Deliverance Ministries bakyali mu kaduukulu ka poliisi e Naggalama mu disitulikiti ye Mukono.
Bano b’akwatiddwa n’abawagizi ba FDC abalala ku kitebe kya FC e Najjanankumbi bwebabadde bagenze okwetaba mu kusaba kw’ekibiina okwabuli lwakubiri nga wakayita mbale amyuka ssabalamuzi w’eggwanga…
File Photo: Abantu nga bamwa omwenge
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ayagala kuleeta teeka nga likugira omuntu okumala gekatankira mwenge.
Mu tteeka lino Omwenge gwakunyeebwa wakati we saawa 11 ez’olweggulo ne ssaawa 6 nga bukya okuva ku Mande okutuuka ku lwokutaano wabula nga wiikendi omuntu waddembe okutobya ku mumiro nga bw’ayagala.
Mu tteeka lino era…
File Photo: Museveni nga fukilira ebimuli
Pulezidenti Museveni Yoweri Museveni olunaku olwaleero agudewo eddwaliro edene elya Entebbe Grade B Hospital, nga kino kigenderedwamu kubbulula bya bulamu mu ggwanga
Kumukolo guno president abadde ewerekedwako minister akola ku by’obulamu Dr. Elioda Tumwesigye, era nga asoose nakulambula dwaliro lyonna bwerifanana.
Kati lino ligaziyizidwa okuva ku bitanda 100-200, nga kwogase okutekebwamu ebikozesebwa…
File Photo: Kadaga ngali mubyambalo byobwasipiika
Ab’ekibiina kya NRM bakiriziganyizza ku b’ani bebagenda okusimbawo ku bwa sipiika wa palamenti wamu n’omumyukawe.
Bano bakkiririziganyizza mu nsisikano gyebabaddemu olunaku lw’egulo mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni, akakiiko k’ekibiina akokuntikko kakulangirira byabasazewo nga ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM katudde nga 5 May…
File Photo : Kaihura ngyogeera
Ate nga bannamawulire bakuno bakuza olunaku lw’eddembe lyabannamawulire poliisi ebasabye okukozesa obukugu obw’ekitalo nga bakola emirimu gyabwe okwewala okukuubagana ne poliisi.
Kino kiddiridde alipoota ezenjawulo eziraga nga poliisi bweli ku mwanjo mu kutulugunya bannamawulire.
Kati nga ayogerako nebannamaulire olwaleero, ssabapoliisi Gen.Kale Kayihura ategezezza nga bannamawulire abamu bwebalimu kyekubira mu kukola emirimu gyabwe kale…
File photo: Kaihura ngayogeera
Ssabapoliisi w’eggwanga General kale kaihura alabudde abawagizi b'ekibiina kya a FDC okuva ku nteekateeka zaabwe ez’okutabangula emikolo gy’okulayiza pulezidenti Museveni.
Bino webijidde nga ab’ekibiina kya FDC kyebaggye bawere okutegeka okwekalakaasa nga 5 omwezi guno nga bawakanaya eby’okulayiza pulezidenti Museveni.
Kati Kayihura agamba aba FDC balina okussa ekitiibwa mu byasalibwawo kkooti ensukulumu oluvanyuma lw’okulangirira pulezidenti…
File Photo: Pasita Ngabo
Poliisi ekutte omubulizi w’enjiri David Ngabo mu kikwekweto ky’ekoze ku kitebe ky’ekibiina kya FDC wali e Najjanakumbi.
Pastor Ngabo y’akulemberamu essaala zabuli lwakubiri ezatumibwa Black Tuesday nga zetabwamu bannakibiina kya FDC n’abawagizi baabwe.
Poliisi bano ebakedde nga misa okubalemesa okugenda mu maaso n’essaala zino zimukutula njegere oluvanyuma lwa kkooti okutegeeza nti zimenya mateeka.
Omwogezi wa…
File photo: Omusawo nga gema omwana
Abakulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Kibuku District balajanye olw’eddala elijanjaba ekirwadde kya Cholera okubaggwako.
Ekirwadde kino kyalumba abeeno wiiki 2 eziyise nekitta abantu 2 sso nga 74 bakyali ku ndiri.
Omu ku basawo mu ddwaliro lino Rashid Lubega ku ddwaliro lye Kadama agamba eddagala lyonna balikozesezza liweddewo nga kati bemagazza.
Ebyalo ebisinze okukosebwa…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Kamuli eriko omukazi gw’ekutte n’omwana ateberezebwa okubeera omubbe.
Omukazi ono ategerekese nga Nambi i akwatiddwa n’omwana ono ateberezebwa okubibwa okuva e Busia.
Wabula ye Nambi agamba Mukwano gwe akola obwa malaaya e Busiya ategerekese nga mwajuma yeyamulekedde omwana ono nga agenze kwetundira Nairobi mu Kenya gy’agamba nti waliyo ku ssente…