Abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti gonna bayingidde olunaku olwokubiri nga batadde wansi ebikola okutuusa nga gavumenti ebasasudde ssente zaabwe zebabanja.
Bano bagamba babanja gavumenti obuwumbi obuli eyo mu 28 oluvanyuma lw’okulemererwa okubawa ssente zaabwe ezali zilina okubongezebwa ku misaala gyabwe mu mwaka gw’ebyensimbi 2015/2016.
Ssentebe w’anakozi bano…
Ab’ebibiina ebivuganya gavumenti nabo bakwegatta mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kya sipiika mu palamenti ye 10 .
Aba NRM bebabadde bakesowolayo okuli sipiika aliko kati Rebecca Kadaga n’omumyukawe Jacob Oulanya.
Wabula akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Ogutu agamba nabo nga abavuganya bali mu nteekateeka ezisembayo okuleeta omuntu waabwe yesimbewo.
Wafula aganye okumenya erinya ly’omuntu ono n’ategeeza nti bakumlangirira…
Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu tebakyalina webegeka luba oluvanyuma lw’amataba okusanyawo amaka gaabwe.
Abasinze okukosebwa batuuze ku mwalo gwe Kamuwunga ne tawuni kanso ye Lukaya nga eno amaka mangi gajuddemu mazzi n’enimiro nyingi zisigadde ku ttaka.
Ssentebe we Kamuwunga Ronald Ssemanda agamba bali mu kutya eno enjala yandibalumba olw’ebirime…
Minisitule y’ebyobulamu ebakanye ne kawefube w’okugema abantu be Masaka omusujja gw'enkaka.
Abantu 5 bebakafa omusujja guno nga abalala bakyabalondoola okulaba nga tebasiiga balala.
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku bujanjabi obusokerwako Sarah Opendi agamba kino kigendereddwamu kumalawo bulwadde buno mu kitundu.
Kati Opendi alabudde abo bonna abalina enteekateeka z’okufuluma egwanga okusooka okugemebwa okwewala okutataganyizibwa.
Minisita w’ebyobulamu Dr. Eryoda Tumwesigye asabye abakulira amalwaliro gonna okufuba okulaba nga abakadde nabo bafiibwako mu ngeri eyenjawulo.
Tumwesigye agamba bano batuuze bankizo nyo sso nga okusimba enyiriri bambi kubakalubiriza kalenga bangi ebyokwejanjaba babivaako nebalinda kufiira waka.
Agamba singa bafiibwako mungeri eyenjawulo basobola okwongera ku buwangaazi bwabwe.
Mu kiseera kino munna Uganda abalira ku myaka 63 okuwangaala nga…
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kanungu oluvanyuma lw’omujaasi wegye lya UPDF okukuba abantu 6 amasasi nebafa.
Corporal . Moses Katungwezi Katoko y’asse abantu bano mu kiro ekikesezza olwaleero nga tekinategerekeka lwaki omujaasi ono anawusse okusasaira amasasi mu bantu babulijjo.
Omwogezi w’amagye g’eggwanga Col Paddy Ankunda ategezezza nti omujaasi ono baamukutte dda era wakubonerezebwa.
Omubaka wa Kampala omukyala Nabiira Ssempala Naggayi wamu nabawagizi be saako abakiise abagya ku Lukiiko lwa KCCA bazinzeeko wofiisi zakakiiko kebyokulonda wano mu Kampala nga bawakanya kyebayise okwagala okubasuuza obuwanguzi bwabwe.
Bano bagumbye awo bagala batekebwe mu bakulembeze abagenda okulayira mangu ddala, kubanga balondebwa bantu, kalenga bagamba bandibasuuza omugaati okuva mu kamwa.
Kino kidiridde abaddukidde mu kooti…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Taata asuddewo abaana be 6 oluvanyuma lwa mukyala we okufa n'agenda ku bizinga nafuna omulala.
Derick Mulimira omutuuze we Kirangira Mukono omuvubi ku mwalo gwe koome yasuddewo abaana be.
Kati omwana omukulu Rebecca Bukirwa owemyaka 10 asoma ekibiina eky’okubiri ku ssomero lya Nabbaale P/S yalabirira baana banne 5 okuli Ibrahim Katuma owemyaka…
File Photo: Ekifaananyi kyo musajja nga egezako okusobya kumwana
Poliisi ye Kasese eriko paasita gwekutte lwakugezaako kukwata muwala ow’emyaka 19 myezi mitono nga kyaggye ave mu kkomera olw’omusango gw’okusobya ku mwana.
Paasita ono atayatukiriziddwa manya yakwatiddwa mu loogi ye Jeriza e Kasese.
Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Kasese Joseph Andama agamba omusajja ono yayimbulwa ku…
File Photo: Abantu nga balaba abafuridde mukulwanaga
Mu disitulikiti ye Bundibugyo amasomero 6 n’okutuusa kati maggale olw’abasomesa n’abayizi okugaana okuddamu okusoma oluvanyuma lw’obutabanguko mu kitundu kino.
Oluvanyuma lw’okulonda waaliwo okutingana mu mawanga nga era bangi bekukuma.
Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno Pastor Bamwitirebye Peter agamba abayizi bangi bakyali mu kambi z’ababundabunda nga n’abasomesa aba Konzo ababadde basomesa a…