Akakaiiko ka parliament akakola ku by’obugaga eby’ensibo kasabidwa okuteeka NEMA kuninga ebabuulire omuwendo gw’entobozzi gwekuma
Kinajukirwa nti uganda yakoma okubala entobazzi mu mwaka 2008, wabula nga okuva olwo nyingi zizze zesengwako abantu.
Bwabade alabiseeko eri akakiiko ka parliament akakola ku by’obugaga eby’ensimbi, minister akola ku butonde bwensi mu government ey’ekisikirize John Kenny Lukyamuzi agambye nti NEMA yateekawo…
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kitegezezza nga amalwaliro gaakyo 2 bwegatanetegeka kutandika kukola ku balwadde basengulwa okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago erili mu kuddabirizibwa mu kiseera kino.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba amalwaliro okuli Kiruddu ne Kawempe ab’eddwaliro lye Mulago gy’ebalina okusengulira abalwadde mukiseera nga liddabirizibwa teganaggwa bulungi.
Sserukka agamba amalwaliro gano…
E Ssembabule abatuuze be Mateete bagobye omukazi ku kyalo lwakuwemula.
File Photo: Abatuuze nga bali mu kakiiko ke kyalo
Florence Nabuma omutuuze ku kyalo Kyabakaga y’atakyalina maka oluvanyuma lw’abatuuze okumunabira mu maaso nti agagambo gamokola gabayinze .
Nabuma okugobwa ku kyalo kiddiridde okuwemula muliranwa we Jane Nakavubu eyekubidde enduulu mu bakulu b’ekyalo abasazewo omukazi ono bamugobe kubanga bazze bamulabula…
File Photo: Muhwezi ngayogeera
Minisitule y’ebyamawulire ekakasizza akakiiko ka bantu 9 abagenda okulondoola ebintu by’obuseegu mu ggwanga.
Nga ayogerako nebannamawulire mu ofiisi ya ssabamininisita, minisita w’ebyamawulire Jim Muhwezi ategezezza nga obuseegi bwekikyali okusoomoza okwamanyi sso nga bannayuganda bangi beyunira eby’obuseegu.
Muhwezi agambye obuseegu ate buyitiridde mu bavubuka ekibaleetedde agayisa agavundu gamba nga okusobya ku baana abatanetuuka, okukwata abakazi…
File Photo: Dr kiyingi
Omusawo munnayuganda akolera mu ggwanga lya Australia Aggrey Kiyingi kyaddaaki gavumenti emugyeko emisango gy’okwetaba mu kutta abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga.
Kiyingi abadde omu kw’abo abavunanibwa okutta bamaseeka
Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita atisse munnamateeka wa gavumenti Charles Kamuli ebbaluwa ekakasa nti Kiyingi tebakyamuvunaana.
Mwenda ku bavunanwa basabye kkooti eyimirize eby’okuwulira omusango guno okutuusa nga…
File Photo: Loodi Mayor wa kampala Erias Lukwago
Nabuli Loodi mayor wa Kampala Ssalogo Erias Lukwago akyali mu office y’amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma nga eno egenzeeyo kumanya nsonga lwaki akyamulemesezza okudda mu yafiisi ye.
Kinajukirwa nti olunaku olwaleero Lukwago abade yewezze okudda mu yafiisi oluvanyuma lw’emyaka 3 ,wabula government nemuwabula government nemuwabula obutakigeza.
Kati mukaseera kano agavaayo galaze…
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi11 azeemu natukizza ekyokuzza enfuga eya Fedro mu Buganda, nga agamba nti eno yeyokka egenda okuzza Buganda kuntiko.
Omutanda okwogera bino abadde ku kasozi Buddo , kumikolo egy’okukuza amazaalibwa gomutanda ag’e 61 egybuto.
Omutanda agambye nti abazadde ba buganda bwanga Bajukire okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mukulabirira abaana baabwe naddala abali nkola eya…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Tororo ekutte ba ssentebe b’abavubuka 12 lwakulemererwa kusasula nsimbi z’abavubuka ezabaweebwa okwekulakulanya.
Omubaka wa pulezidenti e Tororo Martin Orochi y’alagidde poliisi okukwata ba ssentebe b’ebibinja by’abavubuka bano abaganyulwa mu ssente zino wabula nebalemererwa okuzizzaayo.
Kinajukirwa nti ku bibiina by’abavubuka 76 ebyatwala obukadde obusukka mu 600, ebibiina 46 byebibadde byakazaayo ssente…
Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti DR Kiiza Besigye aguddwako emisango gy’okujeemera ebiragiro bya poliisi wali mu kkooti ye Kasangati.
Obujulizi bulaga nti Besigye ono yetaba mu kanyoolagano ne police wali ku nkulungo ye Mulago poliisi bweyamukwata nemuggalira ku poliisi ne Naggalama.
Emisango gyonna Besigye agyeganye era neyeyimirirwa ssentebe we gombolola ye Nangabo Tonny Kiyimba…
Abayizi ku ttendekero lye Kyambogo bavudde mu mbeera nebekelakaasa lwabakulira ettendekero lino kulwawo kufulumya byava mu bigezo by’olusoma olwaggwa.
Bano bagamba tebayinza kutuula bigezo bya lusoma luno nga tebategedde ngeri gyebakolamu olusoma oluwedde.