Abakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo wano mu ggwanga nabo batuuseko ku kizimbe kya Kyaseka Towers ekyayiseemu ku lw’okusooka lwa wiiki eno.
Bano nga bakulembeddwamu ava mu kitongole ky’a bakebera omutindo gw’ebizimbisibwa John Sanyu , bakizudde nti nanyini kizimbe yakozesa emitayimbwa egyawerebwa ekitongole kino sso nga nga n’omusenyu gwayitirira nyo okusinga ku seminti.
Kati abakugu bano era…
Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Baraka Obama akkirizza nti ddala yali nsobi okulumba eggwanga lya Libya okumamulako Co Muammar Ghaddafi nga tebamaze kwetegereza binaddirira.
Obama agambye nti kyali kituufu okuyamba abamamulako Ghadafi wabula tebamanya nti ebinaddako byali bibi.
Obama nga wakuwaayo obuyinza eri omukulembeze omuggya mu January w’omwaka ogujja agambye zino zezimu ku nsobi zeyejusa mu kisanja kye…
Abakebera abalwadde b’emitwe mu ddwaliro lye Butabika emirimu gyabwe gisanyaladdemu oluvanyuma lw’ekyuma ekikebera ekya kya X-ray okufa.
Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu, akulira eddwaliro lye Butabika Dr. David Basangwa ategezezza nga ekyuma kino bwekitasobola kuddabirizibwa kubanga kiweddeyo.
Agamba baasaba obukadde 400 mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2016/2017 okufuna ekyuma ekirala zebatafunye.
Kati akakiiko kano kasabye ababaka…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Wabadewo akasatiro ku kyalo Kyaboggo mu kibuga Mubende omuntu bwafiridde mu Ssabo lyomusawo wekinansi amanyidwanga Ssalongo Binsangawano Kiviri ekimuwaliriza okubinyika munsuwa naduka.
Okusinzira ku bba w'omugenzi Ntindyetaho Mariko omugenzi abadde ayitibwa Temali Jane myka 45 nga wano anyonyodde nga bweyasalawo okuleta mukazi we mu Ssabo oluvanyuma lwokutambuza mu kaziwe mu…
Abantu abagwa mu kikula ky’abantu ekyenjawulo baagala gavumenti eyongere ku nsimbi zeteeka mu mablirira yaabwe ey’ebyobulamu.
Okusinziira ku mubaka omukyala owe Koboko Margaret Babadiiri obukadde 100 gavumenti zeteekateeka okubawa mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2016/2017 ntono ddala okukola ku by’obulamu bwabwe.
Babadiiri agamba abakyala abalina obulemu ku mibiri gyabwe bafuna obuzibu okufuna obujanjabi olw’ebbula ly’ensimbi kale nga…
File Photo:Omwogezi wa FDC Ssemujju
Ab’ekibiina kya FDC bavumiridde ekya pulezidenti Museveni okuvaayo n’akolokota abagabi b’obuyambi b’agamba nti beyingiza mu nsonga z’eggwanga lye ly’akulembera.
Museveni gyebuvuddeko y’ategezezza nga bwali omukugu enyo ab’amawanga okuddawo okumuwa amagezi ku nkulembera y’eggwanga.
Wabula omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Semujjuategezezza bannamawulire nga pulezidenti Museveni bw’asanye okwegendeerEza olulimi lwakopzesa.
Poliisi eriko abateberezebwa okubeera abazigu 6 beyasse era n’ezuula n’emmundu 5 mu kikwekweto ekyakoleddwa ku bubondo bw’ababbi ku wiikendi.
File Photo: Aba Police ku kabangaali ya bwe
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bano bakubiddwa mu bitundu byomu Kampala n’ewalala.
Emmundu 3 zagyiddwa wano mu Kampala sso nga 2 zavudde Karamoja.
Enanga agamba era balina bebakyakumira mu…
Poliisi esabye eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye asse ekitiibwa mu kkooti yeyanjule mu kkooti ye Kasangati olunaku lw’okusatu olw’ebibaluwa bibakuntumye ebizze bimuweebwa nga talabikako.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba Besigye bamuwereza ebibaluwa ebimuyita mu kkooti wabula tabaddangamu.
Enanga agamba Besigye asuubirwa okwewozaako ku misango gy’okuleeta obujagalalo mu kibuga egigambibwa…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abakulembeze mu disitulikiti ye Kasese babunyise enjiri y’emirembe bave kubabawa essuubi eritaliiwo nti bakwetongola mu ggwanga lyabwe erimanyiddwa nga Yiira Republic.
Pulezidenti Museveni nga ali mu bitundu bye Rwenzori okugonjooka ekitta bantu omwakafiira 45 asabye abantu be Kasese okukuuma emirembe bewale abasakiriza ku mboozi y’olutalo.
Bw’abadde asisinkanyewmu abakulembeze b’ekibiina kya NRM…
Gavumenti erabudde nga bw’egenda okukozesa omukono ogwekyuma ku bantu abakukusa abaana okubajja mu bitundu bye Karamoja okubayiwa ku nguudo za Kampala.
Omuwandiisi wakakiiko kabaana mu gwanga Martin Kiiza agambye nti waliwo abakiri emabega okuleetang abaana mu Kampala okusabiriza naye bakukwatibwa bavunanibwe mu mateeka.
Cild Traffickera lug
Kati okusinziira ku bibalo, biraga abaana 12,000 nokusoba bebali ku nguudo abasinga…