Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga kye Mbale oluvanyuma lw’abatujju aba Al shabab okuwera okulumba ebitebbe bya gavumenti mu kitundu kino.
Kino kyadiridde omukuku gwe bbaluwa omwabadde obubaka buno obwokutisatiisa eri ekitebbe kya poliisi e Mbale ku CPS eyaleteddwa abantu abtanategeerekaeka.
Omudumizi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Francis Chemusto, ategezezza ngebbaluwa eno bwesubirwa okuba nti yaleteddwa bakambwe aba…
Abasiramu okuva ku muzikitti gwe Kibuli basadde eswala eyenjawulo nga bebaza omutonzi olw’okukuma Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga mulamu.
kino bakikoze OBuganda bwetegeekera okukuza amazalibwa ga Beene agomulundi ogwe 61.
Bano abakulembedwamu Supreme Mufuti we Kibuli Sheikh Sliman Kasule Ndirangwa n’abakulu balala okuva mu Buganda bebazizza Allah olwo kusobozesa Kabaka okuwangala emyaka 61 egyobutto.
Poliisi ye Nakisunga mu district ye Mukono eriko nakawere gwegalidde lwakubba mmere y’abatuuze.
Molly Asiimwe omutuuze we Lufunve mu ggombolola ye Nakisunga ngayonsa akwatiddwa abatuuze bwasangiddwa lubona ne ttooke lwabadde abbye okuva mu lusuku lw’omutuuze.
Ono bamukubyemu oluvanyuma nebamutwala ku
poliisi.
Atwala poliisi ye Nakisunga Egussu Simon ategezezza nti bagenda kumuwereza ku poliisi e Mukono oluvanyuma atwalibwe mu kooti.
Yye…
File Photo:Enyumba nga ekutte omuliro
Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga eri kumuyiggo gw’omuvubuka Joseph Okecha owokukyalo Kawuku mu gombolola ye Busaana eyatekedde enyumba ya muganda we omuliro, mukyalawe nabaana babiri nebasirikkiramu.
Kitegezeddwa nti Okecha okwokya mugandawe Obore Chalis kivude ku nkayana zetakka zebabade nazo okuva kitabwe eyaffa emyaka esatu egiyise bweyabagaba nyizamu buli omu kyoka Obore natunda…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Omulambo gw’omuyizi wa yunivasite UCU guzuliddwa mu kidiba ekiwugirwamu mu kiffo ekisanyukirwamu ekya Big Fan Entertainment wali e Boma mu disitulikiti ye Mbarara.
atwala okunonyereza ku misango ku poliisi ye Mbarara Taban Chiriga ategezezza nga engoye z’omugenzi wamu ne wallet omubadde ebifananyi bya muganzi we bitwaliddwa ku poliisi omuyizi ku…
N’okutuusa kati poliisi teyanukula ku nsonga z’eyali akulira abakuumi ba Amama Mbabazi Christopher Aine bweyazzemu okulabika oluvanyuma lw’ebbanga nga abuze.
Aine olunaku olw’eggulo y’alabise nga ali ne Muganda wa pulezidenti Museveni Gen Salim Saleh n’ategeeza nga bw’abadde yekukumye mu ggwanga lya Tanzania.
Aine y’afuuka ensonga mu ggwanga bweyabulawo mu biseera bya kampeyini nga abamu bagamba y’afa dda…
Abantu abalala 4 bafudde ekirwadde kya cholera mu disitulikiti ye Butaleja nga kati abakafa bawe 8.
Akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr. John Motovu ategezezza nti ababiri bafiiridde mu maka gabwe e sso nga abalala babadde ku bitanda mu ddwaliro.
Ono agamba nti bonna abafudde bebamu ku 25 abaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.
Ye alondoola eby’obulamu ku disitulikiti…
Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekiyinza okufiirwa akatale ka USAFI nga kino kidiridde gavumenti okulemelerwa okubongera ensimbi okusobola okumalayo ebbanja ely’obuwumbi 34 ezasigala ku nsimbi ezaagula akatale kano
omwaka oguwedde KCCA yagula akatale kano okuva kunyiniko kubuwumbi 50 nesasaulako 26 , bwetyo nesigala nga ebanjibwa 34 nabuli kati obukyabuze.
Kati bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka paraliment akakola…
Abalimi be Mukono basatira oluvanyuma lw'okulumbibwa obusannyi obusanyawo ebirime byabwe.
Agavaayo galaze nga buno obusaanyi bwebulidde ebirime by’abantu mu bitundu nga Namumiira, Ddandiira nawalala mu ggombolola ye Nakisunga.
Kati abeeno bekubidde enduulu eri abakulu ba district ye Mukono, nga bagala ne ministry yebiggwa bitalaze ebayambe
Yye omukuggu mubyobulimi okuva ku district ye Mukono Mukasa Lydia atuseeko mu balimi…
Amagye ga UPDF geganye ebyokugyayo abajaasi ababadde bakuuma omusinga wa Rwenzururu.
Kino kidddiridde okulwanagana wakati w’abajaasi ba UPDF n’abakuumi b’obusinga ab’enono wiiki ewedde.
Kati omwogezi w’amagye ga UPDF ow’ekibinja ekyokubiri Major Ronald Kakurungu ategezezza nti amagye okukuuma omusinga buyinza bwebalina okuva mu ssemateeka w’eggwanga ,kale nga tebayinza kumala gavaayo bwebatyo.
Ono agamba nti baasisinakanyemu n’omusinga nebateesa ku nsonga…