Abanonyi b’obubudamu okuva mu ggwanga lya South Sudan abasoba mu mu 5000 bebakasala ensalo okwesogga Uganda mu wiiki 2 ezakayita.
Bangi baduse mu kibuga Juba nga batya obutabanguko obuyinza okubalukawo ku madda g’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga era eyali akulira abayeekera Dr Riek Machar.
Awandiisa ababundabunda okuva mu ofiisi ya ssabaminisita mu Adjumani Titus Jogo agamba abasinga ku baduse…
Abawabuzi ba kkooti 2 bawadde endowooza zaabwe eri omulamuzi wa kkooti enkulu Afolse Owinyi Dolo ku musango gw’abantu 13 abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 wano mu Kampala nezitta abasoba mu 70.
Robert Lubega Sseguya awabudde 12 baabsingise emisango gy’obutemu obutujju n’okuyambako mu butujju wabula nga ayagala omulala Muzafaru Luyima bamwejereze .
Ye Juliet Kasendwa Aligawesa omulamuzi amuwadde…
File Photo: Polofesa we makerere eyeyambudde
Akakiiko ku ttendekero ekkulu e Makerere akatekeddwawo okunonyereza ku mbiranye wakati wa Dr Stella Nyanzi eyeyambudde nga yekalakaasa ne kakensa Mahmood Mamdani katandise egyako olwaleero.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Professor Dumba Ssentamu, abanonyereza bakulemberwamu David Bakibinga okuva mu ssomero ly’ebyamateeka nga era bakuvaayo ne alipoota ku lwokutaano luno nga 22 etesebweko…
File Photo: Abasajja abatanategerekeka nga bakuuba abantu emiigo
Poliisi etukizza okunonyereza kwayo ku basajja abekapika obukookolo nebawewenyula bannakampala kibooko awatali agamba.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba abaserikale bonna abali mu kuwerekera Besigye abawagizi be nebabakuba kibooko bawadde sitetimenti zaabwe eri akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa okumanya ekyagenda mu maaso.
Agamba baagala…
File Photo: Father Simon Lokodo
Minisita w’empisa n’obuntubulamu Father Simon Lokodo alagidde omukenkufu wa yunivasite ye Makerere eyeyambudde nga yekalakaasa akwatibwe.
Dr. Stella Nyanzi akedde kweyambulamu ngoye nga awakanya eky’akulira ebyokunonyereza ku yunivasite eno Professor Mahmoud Mamdam Nyanzi okuggalawo ofiisi ye .
Lokodo agamba yadde nga omukyala agamba abadde atulugunyizibwa , yandilaze okwemulugunya kwe mu ngeri endala sso…
File Photo: Toyireti nga ezimbibwa
Abakulembeze e Bukomansimbi bakwatiddwa lwabutaba na kabuyonjo.
Mu kikwkweto ekikoleddwa mu bitundu bye Kagoggo ne Kasambya mu ggombolola ye Kibinge bangi basangiddwa nga tebalina bwa mugwanya.
Eno abantu okubadde Frank Sseguya akulira ekibiina kya NRM mu kitundu bakwatiddwa.
Omulondoozi webyobulamu mu district ye Bukomansimbi Daniel Kapere, atagezezza ngabantu bwebabdde basusse obukyafu ekyerarikiriza okuli nabakulembeze.
Ono…
Mu byemizannyo ba Nantameggwa mu kikopo kya Bulaaya abakakiwangula emirundi 10 aba Real Madrid bakwambalagana ne Manchester city mu mpaka eziddirira eza kamalirizo eza UEFA Champions league.
Mu bululu obulala obukwatidda Atletico Madrid bwakubefuka ne Bayern Munich eya Germany.
Emipiira egissoka gyakubaawo nga 26th na 27th omwezi guno ate baddingane nga 3rd ne 4th omwezi ogujja.
Gwo ogwakamalirizo…
File Photo:Abantu nga babasomosa omugga
Ba malaaya ku mwalo gwe Katosi bagamba wetagisaawo enkola eyokwekenenya abakazi appya abagya okwegatta ku mulimu gwokulenga akaboozi.
Bano tubatukiridde nebategeeza nga omuwendo gwabwe bwegweyongedde nga n’abamu bakyamu.
Bagamba waliwo abava ku bizinga ebirala nebabononera nakatale saako okukola ebitagoberera mateeka
gebabaga.
Bbo abatuuze n’abataka be Katosi balumiriza ba malaaya bano okwonoona abaana abato nga nabo…
File Photo: Police nga ekoora ogwayo
Ate olukiiko olutaba bannadiini ab’enzikiriza ezenjawulo nabo bayingidde mu nsonga z’okulwanagana kwe Kasese.
Bano nga bakulembeddwamu Mufti wa Uganda Sheikh Ramadhan Mubajje basuubizza okusaba gavumenti eyongere okunonyereza ku nsonga eno ate wabeewo nokusonyiwagana.
Gyebuvuddeko omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kasese Winnie Kiiza yasomozezza gavumenti enyonyola ddala ani atta aba Konzo.
Abantu 45 bebakattibwa…
File Photo:Ababaka mu Palamenti
Gavumenti eyolekedde okufiirwa obuwumbi obusoba mu 40 oluvanyuma lw’ababaka ba palamenti okukozesa obuyinza bwabwe nebakyuusa eteeka eribalagira okusasula omusolo ku misaala gyabwe nga kati bakulya kawewevu awatali musolo gukekejjuddwako.
Ababaka bano bakyusizza enyingo y’ebyemisolo eya 2016 nebeggya mu bantu abalina okusasula omusolo.
Enongosereza zino zakoleddwa ssaawa 2 ezekiro ngekiteeso kileteddwa omubaka wa Rubanda East…