Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ab’E Bundibugyo babasengudde

Poliisi ye Bundibugyo etandise okusengula abantu okuva mu bifo ewabumbulukuse ettaka omwafiiridde 13. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Rwenzori Lydia Tumushabe, poliisi ekolagana n’abekitongole ekiddukirize ekya Red Cross okuva mu municipaali ye Bundibugyo, n’egombolola lye Bukonjo okubatwala mu nkambi ye Bugukwanga camp n’ewalala ewatali kubumbulukuka kwa ttaka. Agamba abantu 150 bebabadde baakwatwalibwa mu nkambi eno. Olunaku lw’eggulo…

Read More

DP eyagala pulezidenti alangirire ddi lwawummula

File Photo: Aba Democratic Party Nga pulezidenti Museveni yetegeka okulayizibwa ku kisanja ekirala, ab’ekibiina kya DP bamukubye akaama nti nga bweyetegekera olunaku lwenkya, alowooze neku ky’okulangirira olunaku lw’agenda okuwummula.   Nampala w’ekibiina kya DP era omubaka wa  kalungu East Joseph sewungu ategezezza nga ekya pulezidenti Museveni obutata buyinza bwekivuddeko obuvuyo mu ggwanga.   Ssewungu agamba pulezidenti Museveni ave mu kutya…

Read More

Abazigu bayingiridde omubaka Nakabira

File Photo:Omubaka Nabirah Poliisi ye  Kinoni mu district ye Lwengo ekyanonyereza ku bazigu abatanategerekeka abaalumbye amaka g’omubaka omukyala owa disitulikiti eno Gertrude Nakabira nebakuliita n’ebiwerako. Okunonyereza kwa poliisi okusoose kulaze nga abanyazi bano bwebabbye ebiwandiiko bya kkooti  omubaka Nakabira byakozesa ku musango gweyawawabira eyamuwangula mu kalulu Hajji Muyanja Mbabaali. Nakabira agamba webameneyedde enyumba ye y’abadde ali mu lukiiko…

Read More

Omukazi asudde abaana bamujjawe mu mugga

File Photo: Police nga ekola ogwayo E Kabale poliisi eriko omukyala gwekutte, nga ono avunibwa gwakutta abaana ba mujawe 2, n’abasuula  mu mugga . Police egamba nti  omukyala ono Novius Amanya  mukyala wa Innocent Ruzigwa  abatuuze be Katasya, yakutte abaana ba mujjawe 3 natambula nabo, wabula bweyatuuse ku muga Ruhuma  nasuulamu abaana 2 okuli  Frank Ribery ne…

Read More

Ba pulezidenti 14 bayitiddwa ku mukolo gw’okulayira

File Photo: Museveni nga layiira Abakulembeze b’amawanga 14 bakakasizza  nga bwebagenda okwetaba ku mukolo gw’okulayiza pulezidenti Museveni sabiiti eno. Okusinziira ku minisita akola ku nsonga z’obw’a president Frank Tumwebaze, abasuubirwa kuliko  Robert  Gabriel Mugabe owa  Zimbabwe, Salvar Kiir owa  South Sudan, owa Kenya Uhuru Kenyatta owa Tanzania John Magufuli n’abalala. Tumwebaze agamba nti n’abaliko abakulembeze okuli Mwai Kibaki…

Read More

Ssabawandiisi wa FDC bamukutte

  File Photo: Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC  Harold Kaija akwatiddwa ku kitebe kya FDC wano e Najjanankmbi. Tutegeezedwa nti Kaija agiddwa ku kitebe ky’ekibiina bw’abadde ayogerako eri bannamawulire nga avumirira ekya poliisi okukwata bannakibiina wamu n’abalala okubasibira mu maka gaabwe. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kwa…

Read More

Taata asazeeeko muwalawe omutwe

Entiisa ebutukidde abatuuze ku kyalo Kasenge mu gombolola ye Nsanji omusajja bw’atemyeko omwana omuggya nanyina omutwe naye neyesala obulago. Bosco Kabugo nga muvuzi wa bodaboda y’akoze obutemu buno ku mwana atanaba kutegerekeka manya. Kitegerekese nga taata w’omwana ono bwebayawukana ne maama w’omwana ono nga kyandiba nga Kabugo ono kwaggye obusungu. Agavaayo galaze nga poliisi  bwetuse mu bwangu n’eddusa…

Read More

Abayizi b’Emakerere batiisizza okwekalakaasa

File Photo: Ekizimbe kye tendekelo lye Makerere Abayizi ku yunivasite ye Makerere batisizatisiza okwekalakaasa olunaku olwenkya, singa abakozi abatali basomesa tebakomye kediimo kaabwe. Abakozi bano bayingidde olunaku olwokuna  nga batadde wansi ebikola nga ensonga z’a misaala Akola  nga omukulembeze wabayizi be makerere Jotham Burupoto  agamba  nti ebibiina , kko namaterekero g’ebitabo gonna maggale,kyokka nga abaana bakutandika ebibuuzo nga…

Read More

Abafere balumbye Bukomansimbi

File Photo: Akabuga ke Bukoma nsimbi Poliisi ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’abafere abagenda basasanya ssente z’ebichupuli mu disitulikiti. Okusinziira ku batuuze, abafere bano batambulira ku pikipiki kyalo ku kyalo nga bwebatimba abaayo bbule nebababba. Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko  Kitanda, Butenga n’obutawuni obulala. Omu ku gwebafeze Muhammad Kabogere agamba bano basing kugaba bichupuli bya mitwalo 5. Omwogezi wa poliisi mu…

Read More

Omuvubuka asobezza ku wa nasale

Omulamuzi wa kkooti e Gulu Deogratious Ssejjemba aliko omuvubuka g ow’emyaka 27 gw’aguddeko omusango gw’okukukusa n’okusobya ku kawala ka nasale. File Photo: Police nga ekola ogwayo Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu William Bayo lutegezezza nga , Job Okema nga  October 1, omwaka oguwedde wali ku kyalo Laroo yawamba omwana ono n’asaba bazadde be emitwalo 25 nga tanamuta nga…

Read More