File Photo : Omusajja ngali kumpingu
Poliisi ye Iganga eriko omusajja ow’emyaka 27 gwekutte lwakusobya ku kawala ak’emyaka 12.
Omukwate ategerekese nga William Bwire omutuuze ku kyalo Nampirika mu gombolola ye Bulamaji .
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono nga kati akuumibwa ku kitebe kya poliisi e Iganga.
Mubi agamba poliisi ekyagenda mu…
File Photo: Ekizimbe ekiyidde mu kampala
Ebintu byabukadde bisanyewo mu muliro ogukutte edduuka eritunda engoye mu tawuni ye Kakira.
Edduuka lino lya Janet Baizi nga era litunda ngoye wali ku poloti namba 52.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira Samson Lubega agamba tebanazuula kivuddeko muliro guno naye nga okunonyereza kugenda mu maaso.
File Photo : General Kaihura nga yogeera
ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura asabye bannayuganda ekisonyiwo ku kwa poliisi olw’ebigambibwa nti basajja be batulugunya abantu mu biseera by’okulonda.
Kaihura okwetonda akukoledde ku mukolo gw’okwebaza ogwategekeddwa omubaka w’ekitundu kye Bukono Pacis Namuganza.
Kayihura abadde ayanukula ebyogeddwa omubaka ono nga abaserikale ba poliisi bwebabatulugunya ebitagambika wamu n’okwetaba mu kubbira ababavuganya obululu.
Kaihura…
File Photo:Ensaalo ya Uganda ne Congo
Abakungu ba gavumenti ya Uganda ne Congo bakutuula olwaleero okuteesa ku ngeri gyebayinza okumalawo okutibwa kwabannayuganda okweyongedde ensanji zino.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Nebbi Bessie Alijong ategezezza nga bwewaliwo munnayuganda omulala eyakubiddwa amasasi agamutiddewo ku Nyanja Albert mungeri etanategerekeka.
Agamba ettemu lino lyongedde okukyankalanya eby’obusuubuzi wakati w’amawanga gombi.
Ssentebe w’egombolola ye…
File Photo: Amajje ga Updf
Abantu abatanategerekeka balumbye enkambi y’amagye ga UPDF mu Kabuga ke Opit mu gombolola ye Lakwana mu district ye Gulu, nebatta abantu 2.
Bano badduse nebyamabalo by’amagye ne mmundu 8.
Bino bibaddewo ku ssaawa nga 9 ezekiro ekikesezza olwaleero ku nkambi ye Alpha eyesudde kirometere 30 okuva mu kibuga kye Gulu.
Kati omwogezi wamagye ga…
Omubaka wa pulezidenti e Kalungu alabudde abatuuze bonna abakifudde ekyabulijjo obutasima zi kabuyonjo nebeyambila mu nsiko.
Abu-Bakr Lubega Kaddunabbi agamba abantu bangi eno, kabuyonjo muziro kalenga endwadde eziva ku bukyafu zandibalumba essawa yonna.
Lubega agamba bakutandika ebikwekweto ku bantu abatalina zi kabuyonjo n’abamala gamansa kasasiro n’obubi bwabwe.
Omubaka wa municipaali eye Mukono Betty Nambooze wakutwala okusaba kwe eri palamenti, Mukono asuumusibwe afuuke ekibuga.
Nambooze agamba ebitundu okuli Mukono ne Wakiso bisanye okukozesebwa okukendeeza omugotteko mu kibuga Kampala.
Nambooze awakanya ekyokugaziya Kampala mu Mukono nga ayagala kibeere ekibuga ekyetengeredde.
Nambooze era ayagala ebimu ku bitongole bya gavumenti bitwalibwe e Mukono n’asaba bannayuganda bonna okumuwagira mu kino.
Kkooti enkulu wano mu Kampala eyongezzayo ensala yaayo ku musango gwa Gen David Sejjusa mweyabuliza obanga akyali mujaasi oba nedda nga kati gwakusalibwawo olunaku lwenkya.
Omulamuzi Margaret Oumo Oguli kitegezeddwa nti mukiseera kino ali Mbale awulira misango gyakulonda.
Ssejusa ayagala kkooti erangirire nti takyali mujaasi kubanga takyafuna musaala songa taddangamu kutumibwa ku mulimu gwonna ogwamagye.
Omulamuzi Kenneth Munungu…
Omu ku basingisiddwa emisango gyokutega bbomu ezatta bannayuganda wano mu Kampala mu mwaka gwa 2010 awereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwansi.
Muzafar Luyima avunanibwa kukweka bantu abakyamu, okuli Baganda be babiri nga bano basingisiddwa emisango gyobutujju.
Omulamuzi wa kooti enkulu Alphonse Owiny Dolo ono amulagidde okulongoosa okumala omwaka mulamba.
Kati ekibonerezo agenda kukikolera wali mu Para Zone e Namasuba…
File Photo : Esomero lya Kcca elyamenyedwa
Ab’ekitongole kya KCCA bakyatubidde n’abayizi wamu n’abasomesa baabwe ab’essomero lya Kasubi Family Primary eryamenyeddwa.
Essomero lino lyamenyeddwa ku lwokubiri lwa sabbiiti eno nga KCCA egamba lyamenyeddwa mu ngeri emenya amateeka.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba kati batubidde n’abayizi abasoba mu 630 n’abasomesa 19.