Omujaasi wa UPDF yekubye amasasi n’eyetta oluvanyuma lw’okukukuba abantu 4 amasasi mu bbaala.
Private Steven Agune nga akolera mu nkambi y’amagye eya Gadafi Army e Jinja y’agenze mu bbaala n’akuba abantu amasasi okwabadde abasajja 2 n’abakyala 2 bwebyamusobedde neyekuba amasasi neyetta.
Ekyaviiriddeko omujaasi ono okwekyawa n’alumba ebbaala mu gombolola ye Mpumudde tekinatagerekeka .
Abaalumiziddwa baakubiddwa amasasi mu mikono…
Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo olwa nga 29th August 2016 okulonderako ababaka ba palamenti abakyala neba ssentebe bazidisitukikiti empya.
Nga ayogerako nebannamawulire ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda, amyuka ssentebe w’akakiiko kano Joseph Biribonwa ategezezza nga bwebagenda okulondesa mu disitulikiti zino okuli in Kibaale, Omoro, Rubanda ne Kagadi
Okusunsula kwakubeerawo nga 19 ne 20 olwo kampeyini zitandike okuva 22 July okutuukira…
Omubaka wa NRM omulala agobeddwa mu palamenti.
Kkooti enkulu e Jinja esazizzamu obuwanguzi bwa Hajat Rehema
Watongola nga omubaka wa municipaali ye Kamuli lwampapula zabuyigirize eziliko akabuuza.
Amyuka ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Proscovia Salamu Musumba yawawabira Watongola mu kkooti amangu ddala nga okulonda kyekuggye kuggwe mu mwezi ogwokubiri.
nga ayita mu bannamateekabe aba John Isabirye and Co advocates, Musumba …
Omubaka we Nakawa Michael Kabaziguruka aleeteddwa mu kkooti y’amagye ku misango gy’okulya mu nsi ye olukwe.
Kabaziguruka yakwatibwa ku ntandikwa y’omwezi guno n’atwalibwa ku kiteba kyabambega e Kireka oluvanyuma n’atwalibwako ku poliisi ye Nalufenya mu tawuni ye Jinja.
Okusinziira ku amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija, Kabaziguruka wakugulwako gwakulya mu nsi ye lukwe.
Kafulu mu kuzanya omupiira Lionel Messi alangiridde nga bw’anyuse okuzanyira eggwanga lye.
kiddiridde Argentina okukubwa Chile mu fiyinolo z’empaka za Copa Amerika.
Kati eno fayinolo yakuna mu myaka 9 nga Messi ne tiimu ye eya Argentina ekubwa ku fayinolo.
Messi ategezezza nga ebya ttiimu y’eggwanga bwebiganye yadde nga agezezzako kale nga ekisingako kubyesonyiwa asigalire kiraabu ye eya Barcelona.
Mu…
Minisita wa Kampala Betty Kamya asabye bannayuganda bonna okuvaayo bawagire entujjo ya Kampala etuumiddwa Kampala city Festival.
nga atongoza enteekateeza z’entujjo eno , mukyala Kamya ategezezza nga entujjo eno bw’egenda okutunda amakula ga Kampala eri ensi yonna n’ebilungi ebirala.
Agamba nga oggyeko okufunamu ensimbi, KCCA yakugatta abantu bonna okuva ebule n’ebweya.
Entujjo y’omwaka guno yakubeerawo nga 2 October…
Nga Idi entukuvu ekubye koodi, abalunzi e Mukono bali mu kutya olw'obubbi bwebisolo obweyongedde naddala mu byalo.
Ababbi bebisolo abasoba mu 10 bebakakwatibwa nebagalirwa kuzzi poliisi ezenjawulo.
Kati omubaka wa gavumenti e Mukono Matovu David alabudde abalunzi okuba abegendereza bakuume ebisolo byabwe.
RDC alabudde nabasabaza ebyamaguzi nti abamu balagajjavu tebafaayo kumanya bikwata ku nsolo zebatambuza ngezimu oluusu teziba…
Poliisi ebakanye ne kawefube w’okulaba nga empisa n’obukugu buddamu okwolesebwa mu baserikale.
Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, amyuka ssabapoliisi w’eggwanga Fred Yiga ategezezza nga abaserikale abamu bwebefudde eb’ekitalo nga betwala okubeera abamanyi okusinga ekitongole kya poliisi kale nga kittatanye erinya lya poliisi.
Anyonyodde nti abamu ku bantu bamenyi b’amateeka abawedde emirimu era olwalmbala yunifoomu nebaweebwa obuyinza olwo…
Ababaka 2 nabo baddukidde mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja Margret Mutonyi okusazamu obuwanguzi bwabwe.
Munna NRM Peter Mugema amanyiddwa enyo nga Panadol awakanya ensalawo y’omulamuzi n’okulangirira munna FDC Nasser Abedi Mudiobole ku buwanguzi bwa municipaali ye Jinja.
Mugema agamba omulamuzi yalemererwa okulaga obujulizi nti ddala yagaba enguzi kale nga ayagala kkooti…
Bannamateeka b’abamu ku bavunanaibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu balumirizza ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura okutiisatiisa abantu baabwe okwelumiriza nti ddala bebatta abakulembeze b’abayisiraamu.
Twaha Mayanja ga y’omu ku bawolereza abavunaanwa ategezezza nga abantu be okuli Ismeal Ssentongo,yusuf Kakande ne Isa Musa bwebazze batwalibwa mu bifo ebyekusifu mu kkomera e Luzira nebabalagira okuwaayo munaabwe akulira abatabuliiki ku muzikiti…