Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kasasiro atabudde abakulembeze mu kampala

Abakulembeze  mu massekati ga kampala ssibamativu n’engeri ensonga za kasasiro gyezikwatiddwamu. Amyuka meeya we gombolopla eno Sam Gombya agamba nti yadde nga KCCA yateeka omukono ku ndagaano n’aba kampuni ya Nabugabo Nabugabo Up deal joint venture okukunganya kasasiro abatuuze bemulugunya ku nsimbi enyingi ezibasabibwa okukunganya kasasiro ono. Kati Gombya ayagala wabeerewo okukkanya ku ngeri gyebayinza okukunganyamu kasasiro…

Read More

Besigye alabudde gavumenti ku nsonga z’ettaka

Eyakwatitra ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr.Kizza Besigye alabudde gavumenti ku byasaliddwawo e Kyankwanzi mu lusirika lwa NRM ku nsonga zenongosereza ku mateeka g’ettaka. Okulabula kuno Besigye akukoledde  mu makage e Kasangati gyayogereddeko eri bannamawulire.   Besigye alabudde nti eggwanga lyolekedde akabi singa gavumenti etuukiriza ebyasaliddwawo baminisita okukola enongosereza nga gavumenti ettaka lyeyagala erifuna.   Besigye era ategezezza…

Read More

Abaserikale babbye ebikajjo

Abatuuze be Masindi kumpi n’ettendekero lya poliisi erye Kabalye bekubide enduulu ku batendekebwa ababamalidde ebikajjomu masamba. Omu ku balimi  Lawrence Byarugaba agamba bano ebikajjo bye babikeera nga misa ku ssaawa nga 2 ezokumakya nebabilya nebamulekera bikuta kale nga kuno kufiirizibwa kwenyini. Ssentebe w’ekyalo Kabalye 11 Robert Isingoma agamba bagezezezzako okugoba abantu bano naye nga buteerere. Omwogezi wa poliisi…

Read More

Omusajja ayokezza enyumba ya ssezalawe

Poliisi ye  Kalungu eriko omusajja gw’ekutte lwakutekera nyumba ya ssezaalawe omuliro. Frank Nakibinge omutuuze ku kyalo Lusaana y’akwatiddwa oluvanyuma lw’okwokya enyumba ya Peter Bwanika. Nakibinge okuva mu mbeera kiddiridde mukyalawe   Jane Namyalo okunoba n’adda ewa kitaawe gyeyamulumbye n’ayokya enyumba eno mu busungu.   Aduumira poliisi ye Kalungu Latif Zaake akakasizza okukwatibwa kwa Nakibinge n’ategeeza nga abatuuze bwebayambye okuzikiriza…

Read More

Abavubuka b’obubizzi balina okwewozaako

Kkooti ya City hall eragidde abavubuka ababiri abasuula obubizzi ku palamenti bewozeeko ku musango guno. Norman Tumuhimbise ne  Robert Mayanja kkooti egamba balina omusango gw’okwewozaako.   Omulamuzi Moses Nabende ategezezza nti oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi bw’abaali bakuuma palamenti mu kiseera ekyo, ababiri bano balina okwewozaako.   Omuomuzi Nabende agambye bano balina okubuulira kkooti engeri obubizzi buno obwali busiigiddwa kyenvu gyebwayingira palamenti…

Read More

Akabenje katuze 4 ku lwe Hoima

Abantu 4 bebafiiridde mu kabenje  akagudde ku luguudo lwe Hoima wali e Buswabulongo . Abagenzi kuliko abayizi 2, omukulu w’essomero wamu n’omusomesa ku ssomero lya Bright Future primary school. Bano babadde bava Kyankwanzi nga bajja Kampala kulambula emmotoka mwebabadde n’etomera ekimotoka ky’amanda ekibadde kisimbye ku kubo. Akulira okunonyereza mu poliisi y’okunguudo Patrick Mugisha agamba abagenzi tebanategerekeka wabula nga…

Read More

Kayihura asindise basajja be okusoma

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kayihura aliko basajja be basindise ku ttendekero lya Poliisi e Bwebajja bongere okubangulwa omwaka mulamba. Bino bizze  wakayita olunaku lumu lwokka nga Kayihura kyajje akole enkyukakyuka endala mu poliisi. Abamu kwabo abasindikiddwa okwongera okutendekebwa kuliko aduumira ekibinja kya flying squad Herbert Muhangi,  Polly Namaye amyuka omwogezin wa poliisi mu ggwanga, Siraje Bakaleke aduumira…

Read More

Ekirwadde kilumbye Sembabule

Abkulira disitulikiti ye Sembabule  basindise ekibinja ky’abasawo mu gombolola ye Lwebitakuli ekirwadde ekigambibwa okubeera omusujja gw’ensiri gyekyasse omuntu omu nga n’abalala bali ku ndiri. Ku bafudde kuliko omuwala ow’emyaka 12  Agnes Katushabe  sso nga mutowe  Enid Natukunda y’addusiddwa mu ddwaliro nga ali bubi. Omuvubuka omulala ow’emyaka  17 Paul Mujuzi 17 yemulala afudde ekirwadde kino mu disitulikiti ye…

Read More

FDC teyagala UPDF kugenda South Sudan

Ab’ekibiina kya FDC basanyukidde eky’omkago gw’amawanga ga Africa ogwa IGAD okusalawo okuweereza amagye okukuuma emirembe mu ggwanga lya South Sudan. Wabula omwogezi w’ekibiina kino Ibrahim  Semujju Nganda agamba UPDF tebeera agamu ku magye ago kubanga balina kyekubirira.   Ssemujju agamba mu  2013 UPDF yawagira gavumenti ya mwami Salva Kiir kale nga singa baddayo bakwongera okusajjula embeera.   Gavumenti bino byonna…

Read More