Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Mukyala Kasiiwukira yeganye eby’okutta bba

Namwandu wa Eria Ssebunya amanyiddwa nga Kasiiwukira yeganye ebyokutta bba nga amutebereza okubeeramu obulogo.   Sarah Nabikolo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Masalu Musene mu kwewozaako ku musango gw’okutta bba Kasiwuukira ogumuvunanibwa. Nabikolo ategezezza kkooti nti ye ne bba bbaali bakkiriza nyo nga era basabira mu kanisa ya St. Stephen's e  Kisugu kale nga tayinza kutirimbula…

Read More

FDC etabuse ku bisaawe by’emizanyo ebitundibwa

  Ab’ekibiina kya FDC baagala gavumenti eteeke nyo essiro ku kuzimba ebisaawe by’emizanyo egyenjawulo okusobola okukuumira ebyemizanyo waggulu.   Okwogera bino nga Uganda ekyajaganya olwa Uganda cranes okwesogga eza Africa olunaku lw’eggulo bwebakubye Comoros 1-o.   Kati nga ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi, amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Harold KAIJA ategezezza nga ebisaawe…

Read More

Abasoma obusawo bakyewera

File Photo: Abasawo abatendekedwa Abasoma obusawo  ku ddwaliro ekkulu e Mulago basuubirwa okusisinkanmu akakiiko ka palamenti ake’byobulamu bateese ku nsonga zaabwe ezibaluma ezabaviirako n’okwediima. Akulira ekibiina ekigatta abasawo bano  Dr.Fauzi Kavuma agamba era bakusinkana ne minisita w’ebyobulamu ku ssaawa 5 ezokumakya. Bano bekalakaasa wiiki ewedde nga bawakanya okulwawo okutendekebwa mu nkola ya Internship sso nga era bawakanya eky’okubeera…

Read More

Uganda yesunga za Africa

Oluvanyuma lw’okwesogga empaka za Africa ez’omwaka ogujja ttiimu ya Uganda  Cranes kati etunulidde biseera byamumaaso.   Olunaku lw’eggulo Ugandaa yegyeko ekikwa ky’obutakiika kati emyaka 38 bweyakubye Comoros 1-0 okwesogga empaka za Africa.   omukwasi wa goolo ya Uganda Denis Onyango ategezezza nga bwebasanye okwanguwa okwetegeka okulaba nga Uganda ekola bulungi mu mpaka zino eza Africa.   Ye omutendesi Micho Sredejovic asabye…

Read More

Aba FDC Ssibamativu

Ab’ekibiina kya FDC Ssibamativu n’ebyavudde mu kulonda ababaka bazisiditulikiti empya abakyala wamu ne bassentebe baabwe.   Omwogezi wa FDC  Ibrahim Ssemujju Nganda agamba bagenda kutuula nga ekibiina wiiki ejja bakube toochi mu byavudde mu kulonda oluvanyuma lwa NRM okwela ebifo byonna kumpi.   Nganda agamba bagenda kugerageranya nebyavudde mu kulonda abantu baabwe bebasindikayo byabafunye n’ebyo abyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.

Read More

Bannamagoye balajanye

Bannamagoye mu disitulikiti okuli  Bundibugyo ne Ntoroko basabye wabeerewo obwenkanya n’okubawa ku kitiibwa nga abantu.   Nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Eddy Nalongo bano bagamba nti basosolebwa mu buli mbeera okuli ebyobulamu, n’okusoma nga buli kimu balekebwa mabega.   Mugisha agamba kino kyekivuddeko bannamagoye bangi okwebalama eby’okusoma kubanga babayeeya mu bibiina kale olwokutya okuswazibwa nebasigala ewaka.   Okusinziira ku kitongole ky’ebyemiwendo mu…

Read More

Omuserikale omwenzi bamusse

File Photo: Police nga ekola ogwayo E Bugiri abatuuze bavudde mu mbeera nebatta omuserikale wa poliisi lwa kumusanga nemukamusajja. Omugenzi ategerekese nga Muyima nga abadde akolera ku poliisi ye Muterere mu gombolola ye Muterere. Muyima ono abatuuze bamugudde nga ali ne mukomukuumi wa kampuni eyobwananyini nga bali mu kweesa mpiki za Mukwano nebamubuuza gyeyamuwasiriza nga amatama ntengo n’ekyaddiride…

Read More

Abalongo bafiiridde mu muliro

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde amakya galeero wali e Seeta mu Ntinda zone mu disitulikiti ye Mukono. Okusinziira ku poliisi omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 2 ezokumakya nga abazadde babadde bagenze kukola.   Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Paul Kangave agamba abayidde kuliko omulongo Kato ne mukuluwe Kizza sso nga omulongo omulala…

Read More

Abasoma obusawo bekalakaasizza

Abasoma obusawo nga bakolera mu ddwaliro ly’e Mulago bediimye. Bano nga basoba mu 200 okuli banansi, badokita n’abagaba eddagala bavudde mu mbeera lwa gavumenti kulwawo kubateeka ku nteekateeka y’oguzesebwa emanyiddwa nga internship.   Akulira abasawo abagezesebwa mu ddwaliro lino Doctor Fauzi Kavuma agamba bagenda kwekalakaasa mu mirembe bakumbe okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago okugenda ku palamenti okulaga…

Read More

Mabiriizi kooti emuli bubi

Eyesimbawo ku bwapulezidenti Joseph Mabirizi asuubirwa mu kkooti olwaleero avunanibwe okuzimba ekizimbe nga tafunye lukusa kuva eri KCCA. Mabirizi asuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende. Nga 29thJuly 2016 kkooti yeemu eno yayisa ekibaluwa ki bakuntumye aleetebwe mu kkooti kubanga bamuyise enfunda eziwera wabula nga teyeyanjula.   Mabirizi avunanibwa ne paasita  Eldard Mulira olwokuzimba kanisa…

Read More