Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 37 eyasobya ku baana ab’obuwala babiri abatanetuuka asibiddwa emyaka munaana.
Kasozi Edward nga mutuuze we Kawempe mu Kampala asibiddwa omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Joseph Murangira oluvanyuma lwekwekenenya obujulizi obwaletebwa oludda oluwaabi nakizula nti ddala omusajja ono mulya buto.
Kkooti ekizudde nti abaana bano omu yali wa myaka 6 ate omulala myaka…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ekutte n'eggalira omukazi ng’emulanga kusuulawo mwana we n’agenda okukola obwayaaya.
Doreen Bako myaka 23nga mutuuze we Katooke - Kisumu mu ggombolola ye Nabweru mu disitulikiti ye Wakiso, yakwatiddwa poliisi y’e Katooke ng’emuvunaana kusuulawo mutabani we, Savio Tati.
Kino Kiddiridde abatuuze okutemya ku poliisi nga Bako bwe yabasuulira omwana omulwadde nga taliiko buyambi, ekyabatiisizza nti…
Bya Shamim Nateebwa
Omuyizi aweredwa ekitanda oluvanyuma lwa banne okumukuba ekibulooka kumutwe nebagwassa bwebabadde bava mizanyo.
Ayebare Moses Bright myaka 15 muyizi ku somero lya Mwenge parents school kati yali mubulumi obwekitalo nga abasawo balindirila binava mu kebeerebwa mu kyuma ekibeera emitwe okulaba nga oba omusaayi tegwayingidde mu bwongo.
Twogeddeko ne Taata womwana ono Ayebare Benson nategezza nga…
Bya Damali Mukhaye
Gavumenti yeganye ebigambibwa nti munna FDC Dr Kiiza Besigye ne pulezidenti Museveni bali mu nteeseganya.
Kino kiddiridde Besigye okukakasa nga ye ne pulezidenti Museveni bwebali mu kuteesaganya naddala mu kwekenenya ebyaliwo mu kalulu k’obwapulezidenti aka 2016.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire wali ku ssengejero lya Mawulire ga gavumenri erya Media Centre, amyuka omwogezi wa gavumenti Ofwono…
Bya Ali Mivule
Abatuuze ku kyalo Kigenda mu gombolola ye Kawolo mu disitulikiti ye Bukiwe basattira olw’ababbi ababasuza ku tebuukye.
Kino kiddiridde ababbi okubalumbagana nebabba embuzi 10 zonna nebazisala nebakuuliita n’enyama.
Sumaani baamubbyeko 2, Mukyala Nanjobe baamubidde 3 sso nga ye Mukyala Nabatanzi embuzi 5 zonna mmye.
Ow’ebyokwerinda ku kyalo Scout Mukasa atutegezezza nti ababbi bano baabadde bajooga kubanga…
Bya Malik Fahad
Nga obubbi buwanise amatanga mu bitundu bye Masaka n’ebitundu ebiriranyewo, poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okutaasa Crime preventer ku batuuze ababadde baagala okumumiza omusu.
Abatuuze balumiriza omusajja ono okubeera omubbi nti y’omu kwabo ababasuza kutebukye.
Medie Bwambale abatuuze bamukubye yenna nawulubala lwakubba mifaliso 2 nga era poliisi yemutaasizza…
Bya Malik Fahad
Poliisi ye Busia eriko omusajja ow’emyaka 40 gwekutte lwakusobya ku muwalawe ow’emyaka 12 gyokka.
Amawano gano gabadde ku kyalo Kyekya mu gombolola ye Suguda mu disitulikiti ye Sembabule.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Sowali Kamulya ategezezza nga musajja mukulu ono bwekakatise ku muwala ono mujjananyina nga maamawe agenze mu tawuni ye Mbale okubaako…
Bya Ritah Kemigisa
Abasoma obusawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago kyaddaaki basazizzamu akediimo kaabwe .
Mukiseera kino emirimu gitambulira ddala bulungi ku ddwaliro ekkulu e Mulago nga era nenyirira zikendeddeko.
Okuva ku lwokutaano lwa ssbbiiti ewedde bano babadde batadde wansi ebikola nga babanaja ensako yaabwe ebadde yafuuka ganyana era baabadde bewera nti teri kudda ku mirimu okutuusa nga…
Bya Ali Mivule
Eyaliko emunyenye ya Rgypt mu kucanga akapiira Hossam Hassan asuubirwa mu ggwanga essaawa yonna okuva kati.
Hassan nga kati atendeka kiraabu ya Al –Masry ali n’ekibinja ky’abazanyi be abasuubirwa okuzanya KCCA FC mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Omwogezi wa KCCA Clive Kyazze agamba abazanyi bano basuubirwa olwaleero nga era bakusuzibwa ku woteeri ya Sheraton.
KCCA…
Bya Shamim Nateebwa
Mengo emalirizza enteekateeka y’okukolagana n’ekitongole kya Joint Clinical Research Centre okukebera abantu ba ssabasajja akawuka ka mukeneneya ku bwerere,
Ngatongoza kaweefube w’okusaasaanya obubaka obukwata ku kulwanyisa mukenenya e Bulange, Minisita w’ebyobulamu e Mengo Doctor Ben Mukwaya asabye emikutu gy’amawulire okusitukiramu mu kaweefube ono.
Doctor Mukwaya agamba kaweefube ono bakukolaganiira wamu n’abayimbi, Bannakatemba, Bodaboda, amasomero, mu…