Bya Shamim Nateebwa
Omusajja abadde yefuula omulalu nanyaga abantu mu bitundu by’e Makindye ebintu bimuddugalidde,Poliisi bwemutayizza n'emukwata.
Ono ategerekesse nga Steven Waliggo era olutuusiddwa ku poliisi y’e Katwe n’agezaako okwefuula zzolo nabo kye baakoze kwekumutwala kudwaliro eMulago bamwekebbejje era nga mukiseera kino akumibwa kunjegere.
Kitegerekesse nti abatuuze baludde nga beemulugunya ku Waliggo okubba ebintu byabwe kyokka olumugambako ng’abakwatira…
W’owulirira bino nga okulonda kw’omubaka wa munisipaali ye Kamuli kugendera ddala mu maaso nga era abalonzi bangi enkoko baagikutte mumwa.
Abantu 5 bebesimbyewo ku kifo kino wabula nga okuvuganya okwamanyi kuli wakatai wamunna NRM Rehema Watongola N’WA fdc Salaam Musumba.
Okusinziira mu mukwanaganya w’ekibiina ekilwanirira okulonda okwamazima n’enkola ya demokulasiya ekya Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in…
Bya Damali Mukhaye
Minisita wa kampala Betty Kamya akakasizza ab’ekitongole kya KCCA nga eky’okuteeka kamera zokunguudo bwekitajja kukosa mbalirira yaabwe .
Kamya okuvaayo bwati kiddiridde loodi meeya Erias Lukwago okumuwandiikiria nga yemulugunya nti kinasoboka kitya okuteeka kamera zino ku nguudo nga embalirira yaabwe yasalibwa okuva ku buwumbi 656 okudda ku 3014.
Agamba enteekateeka zonna zitambula bulungi nga era…
Bya Malik Fahad
Poliisi ye Mukoko mu disitulikiti ye Kalungu eriko yaaya gw’ekutte ku bigambibwa nti y’abbye omwana.
Hasifa Nassiwa omutuuze we Mukono y’akwatiddwa nti y’abbye omwana wa Shamimu Nabirye omutuuze we Kawempe gy’abadde akolera obwayaaya.
Okunonyereza okusoose kulaze nga Nassiwa bweyalimba bba Sunday Mukasa omuvuzi wa bodaboda omwana naye abadde amumubanja entakera kwekusalawo okubba owa mukamawe.
avunanyizibwa ku…
Obusanyi obwongedde okusaasanira eggwanga lyonna bwandikosa ebyenfuna bya Uganda n'okusingira ddala eby’obulimi singa tewabaawo kikolebwa amangu ddala.
Minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja agamba Uganda efulumya ttaani za kasooli obukadde 4 kumpi buli mwaka nga kyekilimi ekyokusatu Uganda kyelima mu bungi nga obusanyi bwandilyako metric tonnes 450000 kwekufiirwa obukadde bwa doola nga 192.
Mungeri yeemu n’abalimi basabiddwa okuloopera abebyobulimi…
Bya Magembe ssabbiiti
Taata abadde atambula n’omwana we ow’omwaka ogumu n'ekitundu nga bagenda ku duuka okubako kyebagula batomeddwa ebatiddewo.
Motoka ekoze akabenje kano yakika kya Premio namba UAW 643B nga era ebadde edda Fortportal era omugoba waayo tayimiriddemu.
Abagenzi ye Maliyusi Kakunda owemyaka 38 ne mutabani we JoshuaTwinemujuni ow’omwaka ogumu n’ekitundu .
Abatuuze batabukidde poliisi nebategeeza nga bwebazzenga balabula…
Bya Malik Fahad
E Kyotera mu disitulikiti ye Rakai omusajja yewadde obutwa n’afa nga alumiriza mukaziwe okubeera omwenzi.
Omugenzi ategerekese nga Roger Mawejje 32 omutuuze ku kyalo Kasambya.
Okunonyereza okusoose kulaze nga ono bweyasoose okuyomba ne mukyalawe gwalumiriza obwenzi oluvanyuma neyetta
Atwala poliisi ye Kyotera Patience Baganzi agamba baayombye ne mukaziwe namukuba bubi nyo omukazi naloopa ku poliisi namuggulako…
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi mu bitundu bya greater masaka yakakwata abantu 90 ku byekuusa ku ttemu erikyase mu kitundu kino.
Poliisi egamba bano bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo ebikoleddwa poliisi , amagye wamu n’abatuuze benyini.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye ategezezza nga embeera kati bw’egenda edda mu nteeko e masaka, Bukomansimbi ne…
Bya Damali Mukhaye
Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr Kiiza Besigye akubye ab’ebyokwerinda e Kimooni n’agenda ku poliisi ye Kira okukyalira Dr Stella Nyanzi asuubirwa mu kkooti olwaleero.
Besigye abadde ne loodi meeya Erias Lukwago, Ingrid Turinawe Wafula Oguttu n’abalala.
Wabula bano bagaaniddwa okulaba Nyanzi oluvanyuma lw’akafubo n’atwala poliisi yekitundu kino.
Dr Stella Nyanzi yakwatibwa oluvanyuma lw’okuvvoola…
Bya Ruth Andera
Kkooti eriko omuvubuka gw’esibye emyaka emyaka 7 lwakusobya ku mwana wamukamawe mu kinabiro.
Ssuuna Mark 22years nga mukozi mu maka g’abazadde b’omwana ono ow’emyaka omukaaga agambibbwa okukasendasenda bwekaali kazanya nebanne baako nakatwala mu kinaabiro nakamalirako ejjakirizi.
Ssuuna asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Yasin Nyanzi mu kkooti enkulu wano mu Kampala, amusibye emyaka 7 oluvanyuma lw’okukiriza omusango…