Kooti eweze emikutu gy’amawulire gyonna obutaddamu kunyega ku nsonga zakunonyereza okugenda maaso ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi okumala ekiseera ekigere.
Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti Joy Kabagye Bahinguza.
Kino kiddiridde ssabapoliisi w’egwanga Gen Kale Kayihura ngayita mu ssabawolereza wa gavumenti okuggula omusango ku kampuni yamawulire eya Red Pepper, olwokuwandiika…
Munna FDC Dr Kiiza Besigye bamuganye okukyalira omukyala ateerya ntama Dr.Stella Nyanzi mu kkomera e Luzira gyali.
Besigye nga awerekeddwako bannakibiina abalala akadde kugenda ku kkomera akyalire Nyanzi wabula tebamuganyizza.
Ab'amakomera bamutegezezza nti olwaleero ssirwakukyalira bakyala mu kkomera kale ebyokulaba Nyanzi abiveeko.
Wabula Besigye ategezezza nga bweyasabye olukusa okukyalira Nyanzi nebamutegeeza nti olwaleero lw’alina okulaba ny Nyanzi.
Besigye ategezezza…
Poliisi ye Matugga mu district ye wakiso abantu 3 kubigambibwa nti babye ensawo za seminti 46 okuva ku Muzikiti gwa Masgid Juma e Migadde.
Abakwatidwa kuliko Nuru Najjuma owemyaka 42 nga mutuuze we Kazo Angola , Muhammed Sserunjogi ne Steven Kalinda omugoba wa mmotooka ku siteegi e Kigoogwa. .
Kigambibwa nti olukwe lwakoledwa Lubega omu ku bakozi…
Omusajja atemera mugyobukulu 23 anyiga biwundu oluvanyuma lwa mukyala we okumufumita ekiso kumutwe nga balwanira ensimbi.
Robert Serugo myaka 23 nga mutuuze mu zooni ye Lubya e Namugoona nga emirimu gye agyikolera mu kibuga Kampala e Nakivubo agamba nti mukyala we Esther Serugo yatabuse oluvannyuma lw’okumusaba ssente n’agaana.
Era ekyazeeko kwekusulawo omwana wabwe owemyezi 2 nayambala nti…
Nga palamenti eri mu nteekateeka ezisembayo ku mbalirira y’eggwanga anatera okusomebwa, ba ssentebe bazidisitulikiti nabo balajanye nti bafuna omusaala mutono baagala babongeze waakiri bafune obukadde 15.
Mukiseera kino bassentebe bazidisitulikiti bafuna obukadde 2 nga tebanagibwako musolo.
Bweyabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti aka gavumenti ez’ebitundu, akulira ekibiina ekigatta bassentebe bazidisitulikiti George Mutabazi yateegzezza nga bwebalina obuvunanyizibwa obuwerako…
Okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo ne bassentebe kwa mwaka gwabyansimbi ogujja okusinziira ku minisita wa gavumenti ez’ebitundu Tom Butime.
Ku ntandikwa y’omwaka guno minjisitule y’ebyensimbi yalangirira nga obuwumbi 16 ezaali ez'okutegeka okulonda bwezakyusibwa okugulira abaali bafa enjala emmere.
Kati bweyabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti aka gavumenti ez’ebitundu,minisita Butime y’ategezezza nga buli kimu bwekiteereddwa mu mbalirira ya 2017/2018 nga…
Abakugu mu by’obulamu balaze okutya olw’ebikozesebwa okukebera omusujja gw’ensiri eby’ebichupuli okweyongera ku katale.
Mu December wa 2012 minisitule y’ebyobulamu yaleeta ebikozesebwa ebimanyiddwa nga The Rapid Diagnostic Test (RDT) okukebera omuntu 0ba alina omusujja gwensiri nga tanateekebwa ku ddagala.
Wabula okunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina kya Coalition for Health Promotion and Social Development (HEPS-Uganda) kwalaze nga abasuubuzi abatali bakitongole kyabyaddagala…
Ab’ekitongole kya Kampala capital city authority bagobye ababulizi b’enjiri bonna ku nguudo banonye amasinzizo gyebaliisiza ekigambo kya mukama.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, anaddamu okusangibwa ku luguudo nti aliisa kigamba kya mukama Katonda wakuyoolebwa.
Bano balabuddwa nti bamenya etteeka erya gavumenti ez’ebitundu erya 2006.
Kino wekijidde nga abantu bangi begumulidde omuze gw’okukeeranga ku nguudo nebabuulirira enjiri eri abayise
Abatuuze be Bundimasoli mu tawuni ye Ntandi mu disitulikiti ye Bundibugyobaguddemu ekyekango oluvanyuma lw’omukazi okwokyera bba bba mu nyumba naye neyeyokya n'afa.
Omukazi ono ategerekese nga Nyangoma muka Mugisha Isembambu.
Baliraanwa bagamba nti abafumbo bano baludde nga balina obuttakanya nga era ekiro baasuze bayomba omukazi kwekuggalawo enyumba bba nga yebase enyumba n’agiteekera omuliro.
Omukazi ono olwalmaze okwokya bba…
Bya Gertrude Mutyaba
Newankubadde Omwogezi wa Police mu ggwanga AIGP Assan Kasingye ajja agumya bannauganda nga embeera mu bendo-bendo lya Masaka bweri mu nteeko, abatuuze mu kibuga kye Lukaya mu district e Kalungu bazzeemu okusattira olw’ebibaluwa ebibasuuliddwa.
Abaalabuddwa abazigu basangibwa ku byalo bibiri okuli Kirinnya ne Kaliro nga kino kiddiridde omutuuze omu okukisanga nga kisuuliddwa ku kkubo…