Minisita w’ebigwa tebiraze n’ababundabunda Eng Hillary Onek avumiridde abateeka eby’obufuzi mu kugabira abantu abafa enjala emmere.
Kino kiddiridde minisitule eno okuteekebwa ku ninga ebitundu ebimu nga abaayo bagamba nti babasosola bwekituuka ku kugaba emmere.
Wabula ye minisita Onek alumiriza abakulembeze bazidisitulikiti abamu nti emmere bagigabira banganda.
Ono era mweralikirivu nti abamu ku bakulembeze ababika abafudde enjala sso nga…
Abatembeeyi b’emmere abawerako bavunaniddwa mu mbuga z’amateeka , era nebaweebwa ebibonerezo.
Bano amakumi 20 nga bakulembeddwamu Babirye Hasifah basimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nebakiriza emisango gy’okutembeya nga tebafunye Lukusa okuva mu kitongole kya KCCA.
Amangu ddala g’okukiriza emisango, omulamuzi buli omu amuwadde ekibonerezo kyakumala mu kkomera e Luzira…
Minisitule y’ebyobulimi eri mu kusattira olw’obusanyi obufuukidde ddala ekizibu nga bwatuuse n’okudda ku matooke emmere esinga okuliibwa bannayuganda okuva ku kasooli n’ebikajjo bwebubadde bulya kumpi kwagala kubimala ku misiri.
Mukiseera kino abakungu ba minisitule batuula bufofofo nga era webwazibidde nga batuuzizza enkiiko ez’enjawulo okusalira ekizibu kino amagezi.
Kati nga ayogerako n’affe, minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher Kyabazanga agamba…
Omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea Obiang Nguema asuubirwa mu ggwanga olwaleero okwogerageranyamu ne munne owakuno Yoweri Museveni.
Abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’amawanga gebweru batutegezezza nti abakulembeze ababiri bakwogera ku nsonga z’amafuta n’amagye.
Ku bugenyi bwe obw’ennaku 2 pulezidenti Obiang era wakwogerako eri olukungaana lwabakugu ku nsonga z’amafuta oluli wali ku Hoterl Serena ku lwokuna.
Ababiri…
Bya Sam Ssebuliba
Nga kyajje akwatibwe ku musango gw’okujja enguzi ey’obukadde 5 ku Munammad Muhammed Hamid owa kampuni ya AYA , minisita omubeezi ow’abakozi byongedde okumwononekera.
Ekitebe ky’eggwanga lya South Korea kuno kiwandikidde omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ensonga z'ebweru w’eggwanga banonyeerze ku neyisa ya minisita Herbert Kabafunzaki.
Bano balumiriza minisita okukwata munansi waabwe WOO Junghoon olw’okugaana okumuwa…
Bya Damali Mukyaye
Ab’ekibiina kya DP basabye amyuka ssentebewaabwe mu Buganda Betty Nambooze n’ekiwayi kye okugondera amateeka g’ekibiina oba ssikyo banonye ekibanja ewalala.
Nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ku City House, ssenkaggale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga Nambooze ne banne baabadde baagala kukuba lukungaana olumenya amateeka olutakkiriziddwa kibiina kale nga ssibakukkiriza…
Bya Ruth Andera
Abantu 14 abavunaanibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga basazeewo okusirika ekisera kyonna nga kkooti ewulira emisango gyabwe esinziira ku ku bujulizi bwokka obwaleetebwa okusala omusango.
Bano nga bakulembeddwamu akulira abatabuliiki Amir Ummah Sheikh Yunus Kamoga olwaleero balabiseeko mu kkooti okutandika okwewozaako wabula nebasalao okufuuka kyesirikidde nga era obubaka babutisse bannamateeka baabwe Fred Muwema ne…
Bya Malik Fahad
Abalunzi b’ente mu disitulikiti ye Rakai bassattira olw’ekirwadde ki kattira ekilumba amagana gaabwe.
Ebitundu ebisinze okukosebwa biri mu magombolola ge Kifamba ne Kakyera nga era okusinziira ku balunzi ente zaabwe zisooka kukwatibwa kamunguuze nezizunga ekiziviirako okufa.
Omu ku balunzi abakoseddwa ye Joseph Mukasa atutegezezza nti nte zino zifuluma obusa obukaluba nga era ye yakafiirwa ente…
Bya Ruth Andera
Omukyala ateerya ntama nga ajjukirwa nyo olw’okweyambulamu engoye nga akaayanira ofiisi Dr.Stella Nyanzi yekubidde enduulu mu kkooti ku bakulira amakomera okumugaana okusoma ekitabo kyonna okugyako bayibuli.
Nyanzi okwemuluguya bwati abadde alabiseeko mu kkooti ya Buganda Road okumusomera omusango gwokukozesa bubi compyuta nasinziira ku mukutu gwamuyunga bantu ogwa facebook n’ayita omukulembeze w’eggwanga obutuuliro.
Nyanzi asuubirwa olunaku…
Bya Ali Mivule
Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers.
Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo
Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya KCCA Mike Mutebi ategezezza nti asuubira omupiira guno okubeera omuzibu wabula banonye bubonero…