Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abakadde bakukulumye lwa omuceere

Bya Eria Lugenda Abantu abaliko obulemu ku mibiri awamu n’abakadde mu district ye Kayunga balaze obutali bumativu kulwengeri minisita omubeezi owatekinologiya nebyuuma bikalimagezi Idah Nantaba gyeyagabyeemu omuceere ogwasindikiddwa office ya  Sabaminisita mu Kayunga,gyebagambye nti yabaddemu kyekubila nokubasosola. Abakadde nabaliko obulemu basinzidde mulukiiko lwaabwe lwe baakubye ku gombolola ye Kayunga nebagamba nti omubaka bweyabadde agaba omuceere guno teyabafuddeko. Obusawo …

Read More

Museveni agumizza ku by’okwerinda

  Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta  Museveni asabye bannayuganda bonna okusigala nga bakkakamu yadde waliwo obutali butebenkevu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Pulezidenti bweyabadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi olunaku lw’eggulo e Pallisa yategezezza nti okukuuma obutebenkevu kiri ku mwanjo nyo ku birubirirwabye. Pulezidenti Museveni y’ategezezza nti abattira abantu ku bodaboda tebajja kuyinayina nga gavumenti etunula butunuzi. Agamba ebitongole ebikuuma ddembe…

Read More

Abalimi baakufuna ku buweerero

  Eddagala erifuuyira eriwerezaako ddala liita 10,000 lyelisuubirwa mu ggwanga wiiki eno okulaba nga abusanyi obumalawo ebirime butuulibwa ku nfete. Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher Kibazanga agamba eddagala lino lyakugabanyizibwa mu bitundu by’eggwanga okulwanyisa obusanyi buno obumazeewo  kasooli, amatooke, ebikajjo n’ebirime ebirala. Agamba obusanyi buno busanye okulwanyisibwa kubanga abantu baakufa obwavi okuva bwekiri nti bannayuganda 80% besigamye ku byabulimi.

Read More

Ambulance kati zikola nga bodaboda e Moroto

Bya Steven Ariong Mu disitulikiti ye Moroto mu bitundu bye Karamoja pikipiki ezaweebwawo okusomba abalwadde ku byalo okubatwala mu malwaliro zikola nga  nga bodaboda. Nga  20th/05 2015 disitulikiti 7 ezekaramoja zaweebwa pikipiki 28 okukola nga Ambulance okutaasa ob ulamu bw’bamaama abali enyo mu byalo ga kizibu okutuuka mu malwaliro nga era bweyali abakwasa pikipiki zino, akulira ekitongole…

Read More

Crime Preventer abbye Ttivvi

DCIM103MEDIA Bya Shamim Nateebwa Poliisi  ye Kireka eggalidde ‘Crime Preventer’ lwa bubbi. Bamata Botiki ow’e Kasokoso mu Division y’e Namugongo yakwatiddwa oluvannyuma lw’okubba ttivvi ya munnamawulire Fred Nsenye ekika kya kya Sonny. Baliraanwa beebalabye omubbi ono nebatemya ku nanyini Tv eyayungudde poliisi okukwata kabbira ono. Ono yabatutte ewa mukwano gwe gye yabadde agikukumye ne baaza gye baasanze ebicupuli bya mitwalo…

Read More

Ssabasajja asiimye

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja asiimyeokulabikako eri obuganda mu saaza lye elye Buddu  okuggulawo emipiira gyamasaza nga ennaku zomwezi 13  omwezi guno ogwokutaano. Bino byasanguzidwa Katikkiro  wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye baddiifiri abagenda okulamula emipiira gy’Amasaza okuba abeerufu n’okulinnyisa omutindo nga balamula empaka zino. Katikkiro ategezezza nti Empaka z’emipiira gy’Amasaza ziri ku mutendera gwa waggulu kuba gibeerayo buli…

Read More

Leero lunaku lw’abakozi

  Olwaleero Uganda yagwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakozi okujjukira ebyo ebituukiddwako abakozi mu nsi yonna. Wano mu Uganda emikolo gyonna gyakutambulira ku mubala ogugamba nti okuzimba eggwanga mu kuyita mu mpisa enungi ezabakozi ku mulimu nga era emikolo gyakubeera ku kisaawe kye ssaza e Kamuge mu disitulikiti ye paliisa. Minisita ombeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo asoomozezza…

Read More

Bannayuganda boogedde ku myaka gya pulezidenti

  Bannayuganda 76% tebaagala kuwuliza byakujja kkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga 75 gy’alina okuwummulirako. Bino birabikidde mu alipoota eyavudde mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekibiina kya Afro Barometer nga bakunganya ebirowoozo kun kola ya palamenti wamu n’ensonga  z’ebyokulonda. Mu bikungyaniziddwa okuva mu bantu 1200, bannayuganda 89% bawagira eky’okuggula emisango ku bakungu b’akakiiko k’ebyokulonda wamu n’abakuuma dembe abazimuula amateeka g’ebyokulonda. Bbo bannayuganda…

Read More

Ebibaluwa ebitiisatiisa bikomyewo

  Abantu 13 bebakwatiddwa mu disitulikiti ye Sembabule lwakumansa bibaluwa bi kiro kitwala omunaku ebitiisatiisa okutta abantu. Kigambibwa okuba nti bano bebamu ku abatigomya abatuuze mu bitundu ebyenjawulo . Ebibaluwa ebikwatiddwa kuliko bebagala okulumba na ddi lwebsuubira okubalumba. Aduumira poliisi ye sembabule  Denis Musinguzi  agamba bano bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo nga era bakyayigga abalala abakyaliira ku nsiko wabula n’asaba…

Read More

Embuto mu batiini kyeraliikirizza gavumenti

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu avunanyiaibwa ku bujanjabi obusookerwako Dr. Joyce Kaduchu mwenyamivu olwabatiini abongera okufuna embuto mu ggwanga entakera. Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa aba Uganda Demographic and Health Survey mu  2011, abawala abatanetuuka abafuna embuto bali ku bitundu 24% nga kubano 45% tebaasooma nga era bagenda okutuusa emyaka 18 nga bamaama abawedde emirimu. Kati bweyabadde asisisnkanyemu abazaalisa ,…

Read More