Bya Damali Mukhaye
Abasomesa ku yunivasite ye Kyambogo batiisizza okwekalakaasa oluvanyuma lw’okumala emyezi 4 nga tebakomba ku musaala.
Abasomesa bano yunivasite bajiwadde obutasukka lwaleero nga ssente zaabwe ziri ku akawunta oba sikkyo bediime.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ku ttendekero lino Dr. Grace Lubaale agamba bakooye okukolera obwerere nga bbo abasomesa abatali bankalakalira abasoba mu 800 babanja akawumba akasukka…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi ye Jinja eriko abantu 2 bekutte ku bigambibwa nti baasobezza ku bawala abatanetuuka.
Abakwate bategerekese nga Waiswa Ivan myaka 19 omutuuze wa zooni ye Mafubira ne Fred Kyalukundo 18 omutuuze ku kyalo - Kyamagwa .
Atwala poliisi ye Mafubira James Muwanga agamba bano bavunaanibwa kwefuula magunju makadde agalya enseera nebasobya ku bawala omu wa…
Bya Alex Tumuhimbise
Abasawo 2 okuva ku ddwaliro lya Kasambya Health center III mu disitulikiti ye Kakumiro bakwatiddwa lwabigambibw anti baalagajalidde omukyala n’azalira ku kkubo n’afa.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwamu aduumira poliisi ye Kakumiro Hassan Mugerwa nga era bano kuliko akulira eddwaliro lino wamu n’omukyala omuzaalisa.
Mukyala Everlyne Kyohirwe nga wa nzaalo 4 yafiiridde ku mabbali g’oluguudo…
Bya Damali Mukhaye
Poliisi eriko abasuubuzi boku Nasser Road 4 bekutte lwekwekalakaasa olw'ebbula ly'amasanyalaze.
Abasuubuzi bano bakedde kwekumamu gutaaka nabakuma omuliro mu Makati g’oluguudo nga bagamba tebakola okuva olunaku lw’eggulo olw’ebbula ly’amasanyalaze .
Kino kivuddeko ebyentambula okusanyalala nga tewali mmotoka esala mu kitundu kino ekiwalirizza poliisi okubagumbulula okukkakana nga ekutteko 4.
Aduumira poliisi ya CPS Joseph Bakaleke ategezezza nti…
Bya Ruth Andera
Abamu ku Bananyini mayumba agali mumbeera embi mu Kampala bayitiddwa kkooti ya City Hall babeeko nebyebajinyonyola.
Bano nga bawerera ddala bataano bayitiddwa omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende, era ng’abalala bawereddwa ebibaluwa bi bakutunmye.
Bano bakuvunanibbwa emisango egy’okubeera n'ebizimbe ebiri mu mbeera embi mu Kampala wamu n’okujemera ebiragiro bya KCCA okutereza ebizimbe byabwe .
Oludda oluwaabi nga…
Bya Ali Mivule
Poliisi mu disitulikiti ye Kitgum ekutte abantu 4 ne kilo z’amasanga g’enjovu kilo 61 nga gabalirwamu wakati w’emitwalo ana n’ataano.
Bano baakwatiddwa ku kyalo Akilok nga era eyakuliddemu ekibinja kino Okong David amanyiddwa nga Ojara y’ategezezza nga amasanga gano bwe baagajje mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kidepo valley national park.
Atwala poliisi ye Kitgum ow’ekiseera Jimro…
Bya Steven Ariong
Ab’obuyinza mu municipaali ye Moroto mu disitulikiti ye Karamoja baleeta etteeka ekkakali okukwata ba landiloodi bonna abatalina zikabuyonjo.
Meeya wa municipaali eno Noah Ewaru ategezezza nti bazze balabula bananyini mayumba bano okusima obwamugwanya naye nga befuddle na nampulira zzibi nga abapangisa bambai bekuniza nga mafumbe.
Kati baakuteeka amakufulu ku nyumba zonna okutali buyumba bukyamirwamu kubanga…
Bya Simon Peter Emwamu
Poliisi mu disitulikiti ye Amuria eriko omusajja gw’ekutte lwabigambibwa nti asse munne eyamuliranye nga afuuweta sigala.
Abeerabidde n’agaabwe bategezezza nti Stephen Ojulong bwebaabadde mu katawuni ke Wera yakubye munne Asuman Amenu ekiggo ku ssekalootera nebamuwa ekitanda gyeyafiiridde.
Omu ku yeerabiddeko Richard Epesu atutegezezza nti Ameno okusooka yabitutte nga ebyolubalaato nga Ajulong amugambye amuviire ekyaddiridde…
Bya Mose Kyeyune
Okuvaako e Jinja, Poliisi y’ebuweenge ewonyeza omuvubuka wa myaaka 18, okugajjambulwa abatuuze mu lumbe.
Omuvubuka ono, nga ye Ayaga Rogers, kigambibwa nti yageze banne bakilidde emagombe okuziika, ye bwatyo kwekukakana ku ppiki-ppiki yabandi okugezaako okugibba kyoka n’akwatibwa lubona.
Bino byonna, byabade ku kyaalo Ludondo, ekisangibwa mu Gombolola eno eya Buwenge.
Ayaga w’osomera bino ng’apoceza ki ndiri…
Bya Mose Kyeyune
E Kamuli, abatuuze ababadde batasalikako musale balumbye abeteberezebwa okuba ababbi ba ppikippiki 2, nebabakuba mizibu nebabaleka nga kibuyaga yakuunta.
Ettemu lino, lyakoleddwa ku byaalo bibiri, okuli akabuga k’ekasambaira mu gombolola ya Bugulumbya e Kamuli, kyoka nga omulala baamulumbye ku kyaalo Bumwena nga kino kisangibwa mu gombolola y’Emalongo e Mayuge.
Kakaano, abattidwa kuliko Were Peter (23)…