Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi ekyalemedde abaana b’abakwate

Bya Ben jumbe Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batadde poliisi ku ninga eyimbule mangu abaana b’omu ku baakwatibwa  ku kutibwa Andrew Felix Kaweesi. Kino kiddiridde poliisi okugaana okubayimbula olunaku lweggulo okuva ku poliisi ye naggalama  olwo bamaama baabwe abaabadde bagenze okubagyayo nebasigala nga bakonkomaliridde.   Kati munnamateeka alwanirira eddembe ly’obuntu Nicholas Opio agamba kikyamu okukwata abaana bano bayimbulwe baweebwe obukuumi bwekiba…

Read More

Eyalimba ku bya Kaweesi bamusibye

Bya Ruth Andera Kkooti ya City Hall  eriko omukazi ow’emyaka 18 gw’ebasibye omwaka ggumu n’ekitundu lwakuwa poliisi bujulizi bukyamu ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi. Shiellah Nalubega nga mutuuze we  Bukomasimbi mu disitulikiti ye Masaka akkirizza omusango guno mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende nti nga 29th/April 2017  wali e  Kyaliwajjala yu’alimba omuserikale…

Read More

Obuyinza bwa loodi meeya bwakukendezebwa

Bya Mose Kyeyune Gavumenti olwaleero esuubirwa okwanja enongosereza mu mateeka agafuga ekibuga Kampala aga 2010. Kino kiddiridde emiwaatwa egyenjawulo egizze ginokolwayo mu tteeka lino nga era bangi bagamba kyekivuddeko okusika omugwa mu KCCA. Okusinziira ku bigenda okuteesebwako ebirabiddwako, Minisita wa Kampala Betty Kamya asuubirwa okuleeta ebbago ly’etteeka lino. Omusasi waffe Moses Kyeyune atutegezezza nti byasobodde okutegeerako nti ebbago lino…

Read More

Abbye anatooke alula

Bya Malik Fahad Poliisi ye  Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu etaasizza omusajja ow’emyaka 35 okutibwa abatuuze lwakumusanga lubona nga abba amatooke mu lusuku lwamunaabwe. Joseph Walusimbi 35 nga mutuuze ku kyalo  Ssebijja  y’awonye amagombe abatuuze bwebamusanze lubona nga ayunja byatasimba mu lusuku lwa Hajat Joweriya Namatovu. Ssentebe w’ekyalo kino  Hussein Ssensamba  agamba ababbi b’emmere beyongedde mu kitundu kyabwe…

Read More

Amasasi gazzemu okunyooka e Kyengera

Bya Damali mukhaye Abasaabaze abakwata olwemasaka nga bava e Kampala embeera yeyongedde okubakalubirira oluvanyuma lw’abagoba ba taxi e Kyengera okuziba ekkubo eridda e Masaka lwankaayana za siteegi. Amasasi nate gazzemu okunyooka nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga abataxi e Kyengera baakaayana naba siteegi ye Kibuye nga buli ludda lurumiriza lunaalwo okusalimbira webatalina kugenda. Mukiseera kino abataxi bano tebakkiriza taxi…

Read More

Yetuze lwakumuyeeya

  BYA PATRICK EBONG Waliwo Omusajja mu disitulikiti ya Oyam eyesse lwabantu kumuyeeya nti agwa ensimbu. Patrick Odongo nga mutuuze ku kyalo  Acan-ling abadde n’ekirwadde ky’okugwa ensimbu okumala emyaka egiwerako kuluno yasazeewo kwetuga. Atwala poliisi ya  Otwal Robert Okello atutegezezza nti musajja mukulu ono yaguze omuguwa ku dduuka n’ategeeza mukyalawe nga bwegunyuma okwetugisa era namulabula nti wakwetta kubanga banne…

Read More

Eyakubye aba KCCA atwaliddwa Luzira

Bya Ruth Andera Eyakubye aba KCCA baakwasisa amateeka amayinja asibiddwa ennaku 40 mu kkomera. Barata Mugisha avunaniddwa nebanne abalala bassatu bo abeganyi omusango  nebasindikibwa ku alimanda e Luzira okutuusa May 16 omusango gutandike okuwulirwa. Bano bavunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende abasomedde omu nakiriza ate ababiri nebagwegaana. Kkooti ekitegedeko nti bano…

Read More

Katikkiro ku nsonga za “Kyapa mungalo”

  Bya Shamim Nateebwa Obunafu bwa police okunonyerezza kumisango gye ttaka kitunuliddwa nga ekimu ku bisinze okuvaako enkaayana z’ettaka wano mu Uganda. Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’ati bwategezezza ababak mu lukiiko lwa Buganda olutudde amakya galeero. Katikkiro agambye  kooti yesigama kubujurizi bwa police mukusala emisango kale singa eba tekoze gwayo enkaayana zizakuggwa kati. Mungeri yemu katikkiro anyanirizza akakiiko…

Read More

Sadam Juma ayabulidde Express FC

Bya Ali Mivule Abadde kapiteeni wa Express  Sadam Juma yegasse ku bannantameggwa  ba liigi y’eggwanga aba KCCA FC. "Juma nature"  nga bw'amanyiddwa enyo aweereddwa amyaka 3 ku ndagaano ye. Wabula mu kiseera kino Sadam Juma ssiwakuzanyira Kanso mu liigi wamu n’ekikopo kya Uganda Cup wabula nga waakuzanya mu mpaka za CAF Confederations Cup. Amangu ddala nga kyajje ateeke omukono…

Read More

FDC etabuse ku baakwatibwa olwa Kaweesi

  Bya Damali Mukhaye Ab’ekibiina kya FDC bambalidde poliisi ku bigambibwa nti baatuugunya abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi nga n’abamu baategeeza nti baabayisa paasi eyokya ku lususu. Nga ayogerako eri bannaamwulire olwaleero ku kitebe ky’ekibiina e Najjanakumbi, omwogezi w’ekibiina Ibrahim Nganda  ategezezza nti yadde omuntu aba avunanibwa omusango gwonna, teri tteeka likkiriza kumutulugunya . Agamba…

Read More