Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Yetuze lwa mabanja

Bya Malik Fahad E Bukomansimbi omusajja ow’emyaka 30 yetugidde mu nyumba ya nyina Frank Wasswa  omutuuze ku kyalo  Kabigi  y’asangiddwa nga alengejjera ku muguwa mu kisenge kya nyina Nalongo Regina. Mukyala Regina agamba kimubuseko okusanga mutabaniwe nga yetuze kubanga mpaawo nsonga yoonna gy’amanyi eyinza kuba nga emuviiriddeko okwetuga. Lameck Kigozi nga y’ayogerera poliisi mu massengeta ga Uganda akakasizza kino…

Read More

Poliisi bongedde okugikomerera emisumaali

Bya Ben Jumbe Omubaka w’essaza lye   Kibaale  mu disitulikiti ye  Kamwenge Cuthbert Abigaba avumiridde engeri meeya we Kamwenge Geoffrey Byamukama gyebapakudde mu ddwaliro lye Nakasero okumuzza mu kkomera lye Nalufenya mu disitulikiti ye Jinja nga akyalina ebiwundu. Okusinzinziira ku mukyalawe  Viola Kyomugisha, Byamukama y’ajiddwa mu ddwaliro lye Nakasero ku lwomukaaga nebamuzza eNalufenya poliisi nga egamba eyagala kumutaasa…

Read More

FDC eyingidde mu bya sukaali

Bya Damali Mukhaye Nga ebbeeyi ya sukaali yeyongera okwekanama buli lukya, ab’ekibiina kya FDC basabye gavumenti ekkirize sukaali ataliiko musolo ayingizibwe mu ggwanga okusobolaokutaasa bannayuganda ababadde bavudde ku ka caayi. Kilo ya sukaali kati egula 7000 awamu nga minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde y’ategezezza nga ekyeya bwekyavaako ebbula ly’ebikajjo. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, amyuka…

Read More

Ekirwadde kya Kalusu kibalusewo

  Minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi eragidde obutale bw’ente bwonna bugira buggalwa olw’ekirwadde kya kalusu okubalukawo mu bitundu ebyenjawulo. Kalusu yakubye dda kkoodi mu disitulikiti okuli Mbarara, Lyantonde, Isingiro, Sembabule ne  Kiruhura. minisita omubeezi ow’amagana Joy Kabatsi akakasizza kino n’ategeeza nti Kalusu ono avudde k basuubuzi b’ente abazigula okuva mu ggwanga lya Tanzania ewali Kalusu. Agamba bakutandika okufuuyira ente zonna nga…

Read More

Muzaata awabudde ku “Kyapa mungalo”

Bya Shamim Nateebwa Akulira  d’aawa  mu Uganda  era  nga  yemwogezi  w’obusiraamu  e  kibuli  Sheikh  Nuhu  Muzaata  Batte  asabye  obwakabaka  bwabuganda  okwongera  amanyi  mukusomesa  abantu  ku nsonga  ezikwata  ku  ntekateeka  ya kyapa mu ngalo  gyebayanjula  gyebuvuddeko. Muzaata  ategezazza   nti  abantu  bangi  enkola  eno  tebanagitegeera  bulungi  nga  betaaga  kusomesebwa   bajitegere , okusinga  okuvayo  okuvumirira  abantu abagezezzako  okunyonyola  enkola  eno. Mungeri …

Read More

Eby’oluguudo lwa Entebbe Express biwanvuye

Bya Sam Sebuliba Ababadde besunga okutandika okukozesa oluguudo lwa Entebbe Express Highway bakugira nga bagumikirizamu omwaka omulala mulamba. Abazimba oluguudo luno bategezezza nti okulwawo okuliyirira bananyini ttaka oluguudo weluyita wamu n’enjazi ezikaluba bibalemesezza okulumaliriza mu budde. Oluguudo luno olwa kilomita 36 lulina kumalirizibwa mu November wa 2017 ku bukadde bwa doola  476 wabula akulira okuzimba oluguudo luno Li…

Read More

Eyalagajjalira omulwadde n’afa bamuli bubi

    Bya Malik Fahad Omubaka wa pulezidenti e Lwengo ayingidde mu by’omusawo w’eddwaliro lye Lwengo agambibwa okulagajjalira omulwadde n’afa. Omubaka  Mariam Nalubega Sseguya okubiyingiramu kiddiridde  Emma Katongole okufiira mu ddwaliro lino nga era baakitadde ku bulagajavvu. Omu ku b’oluganda b’omugenzi John Kaweesi ateegezezza nga bwebatwala omugenzi mu ddwaliro ekiro nebasangawo omusawo omu yekka wabula naye n’abulawo omuntu waabwe n’ataawa…

Read More

Enjuki zisse omwana

Bya Yahud Kitunzi Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Silika mu disitulikiti ye Busia enjuzi bwezilumye omwana ow’emyaka 4 n’afiirawo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi  Sowali Kamulya akakasizza kino omugenzi n’amumenya nga Hatiti Deludani nga era enjuki za  Micheal Sanya muliraanwa. Kamulya agamba omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Busia okwongera okwekebejebwa. Taata w’omugenzi Geoffrey Hatiti asabye poliisi…

Read More

Katikiro kati myaka 4 nga akutte ddamula

  Nga 12omwezi ogwokutaano omwaka 2013 katikiro wa Buganda yakwasibwa ddamula nga era olwaleero lwegiweze  emyaka 4 bukyaga akwasibwa obuvunanyizibwa buno. katikiro wabuganda Charles Peter Mayiga olw’ebirungi byakoledde Buganda awamu n’obuvumu bwayoleseza ngatukiriza obuvunanyizibwa obwo tusobodde okwogeerako naye okutumbulira olugendo lwe naddala ebimusomozza. wabula katikiro agamba nti abantu abamukuutira akadingidi bebasinga okumweralikiriza kubanga bamusubira okukolera buganda buli kimu…

Read More

Enjala ekyatta bannayuganda

  Gavumenti bongedde okuginenya ku njala eyongedde okukaabya bannayuganda obukoko. Abantu abalumbibwa enjala beyongera buli lukya nga abasinga banditondoka. Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalwanirira eddembe ly’obuntu Jovah Kamateeka agamba luli Uganda yali emanyiddwa nga ensulo y’emmere eri amawanga agaliranyewo wabula tekikyaliwo kubanga gavumenti tekyafaayo. Okusobola okulwanyisa enjala eno gavumenti nga eyita mu minisitule y’ebigwa tebiraze n’ebibamba kati batandise  okugabira…

Read More