Bya Damali Mukhaye
Abaatudde ebigezo ebibayingiza ettendekero ly’ebyamateeka erya Law Development Centre okufuuka bannamateeka abajjuvu bagudde n’enkoona n’enywa.
Abayizi abasoba mu 2,400 bebatuula ebigezo bino naye 224 bokka bebaabiyise.
Amyuka omuwandiisi w’ettendekero lino ow’ekiseera Charles Ssentogo, ategezezza nti abaayise bagende mu maaso n’okwateegeka batandike okusoma ate abaagudde banonyeyo amassomo amalala.
Wabula agamba bajja kusobola kutwalako abayizi 40 abanasasulirwa gavumenti…
Olwaleero ye nsalessale w’okugyako amassimu gaabo bonna abananawandiisa kaadi zaabwe.
Wabula bannamateeka abakola ku nsonga eziluma abanatu abaawamu aba Network of Public Interest Lawyers bawadde amagezi buli omu essimu ye enagibwako baddukire mu kkooti .
Omukwanaganya wabannamateeka bano Arthur Nsereko agamba abantu abamu bagenda kusubwa okuwandiisa amasimu gaabwe kubanga baalwawo okubawa endagamuntu zaabwe kale nga ssinsobi yaabwe.
Akakiiko…
Bya Malik Fahad
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kyalulangira mu disitulikiti ye Rakai oluvanyuma lw’omusajja okutta mukayalwe wamu n’omwana waabwe.
Edward Saazi 35 omutuuze ku kyalo Kasula village y’akidde muwalawe ow’omwaka ogumu n’ekitundu Judith Nabakooza ne mukyalawe Agnes Nakyeyune n’abatta..
okunonyereza kwa poliisi okusoose kulaze nti Ssaazi okuva mu mbeera kiddiridde omukyala okumubanja ssente zeyatunze mu bijanjaalo bye…
Bya Sam Ssebuliba
Gavumenti yakuno yakutuuka ku nzikiriziganya neya Qatar ku bannayuganda abakolerayo nga era emikono gyakuteekebwa ku ndagaano nga 23 June 2017.
Uganda yakwatagana dda ne gavumenti ya Saudi Arabia ne Jordan nga era balina n’enteekateeka okukwatagana neya
United Arab Emirates bangi gyebamanyi nga Dubai , Bahrain, Iraq ,Kuwait n’amawanga g’abawarabu amalala.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omuwandiisi…
Bya Ruth Anderah
Kkooti enkulu wano mu kampala egobye eky’okukoma ku kakiiko k’enyempuliziganya aka Uganda Communications' Communication obutajjako ssimu z’abo bonna abanaaba tebawandiiszzza kaadi zaabwe olunaku lw’enkya olwa nga 19th/May 2017.
Omulamuzi Steven Musota agobye omusango ogwali guwaabiddwa Norman Tumumbise n’ebekibiina ekirwanirizi ky’edembe ly’obuntu ekya Trumpet Ug Ltd. Nga baagala okugyako amasimu kugira kuyimirira okutuusa nga omusango…
Bya Moses Kyeyune
Gavumenti etegezezza nga bwetalina kyakukolera bbeeyi ya sukaali epaluuse mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Ssabaminsita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda bwati bw’ategezezza omubaka w’essaza lye Kitagwenda Agaba Abbas mu kiseera ky’okubuuza ssabaminisita ebibuuzo.
Omubaka Agaba ayagala gavumenti ekome ku basuubuzi ba sukaali okumwongeza baleme kusukka 5000 nga bwekyalagirwa minisita w’eby’obusuubuzi Amelia Kyambadde.
Wabula ssabaminisita Rugunda agamba nti…
Bya Damali Mukhaye
Minisitule y’ebyobulamu yeralikiriddemu olw’ekirwadde kya Ebola okubalukawo ku muliraanwo mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo.
Ku mande abantu abenjawulo baafudde e Congo nga bano bebaliraanwa ba Uganda mu bugwanjuba.
Omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwiine agamba okuva bwekiri nti abakongo ne bananyuganda bayingira bwebafuluma amawanga gombi awatali agamba kale nga kyangu okuleeta…
Bya Shamim Nateebwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza Obuganda nga amasiro bwegagenda okuggwa okuddabirizibwa ku nkomerero ya 2018.
Bino mukwata ddamula abyogeredde mu kulambula amasiro gano g’alambuzza bannamawulire okulaba omulimu gw’okuzimba wegutuuse.
Katikiro ategezezza nga ebbula ly’emmuli, n’okuyimiriza okusonda ettaffaali bwebivuddeko omulimu gw’okuzimba oktambula empola nga era kati babadde bakozesa nsimbi kuva mu nsawo y’obwakabaka nebazira…
Bya Shamim Nateebwa
Abakulembeze mu munisipaali ye Kawempe bataddewo amateeka amakakali nga terikuddamu kufuuwa mmindi nga abantu beyambudde.
Kino kiddiridde abatuuze ba munispaali eno okwekubira enduulu mu b’obuyinza mu kitundu kino okuggala ebifo omufuuyirwa emmindi bye bagamba nti bijjuddemu,okuwemula ,obucaafu , obwenzi ekiviriddeko amaka okusasika.
Mu minisipaali 5 eza Kampala okuli Lubaga , Nakawa, Kawempe , Makindye ne…
Bya Eria Lugenda
Omuwendo gwa baana abawala abafuna embuto nga tebaneetuuka gweyongedde obungi mu district ye Nakaseke. Akulira e kitongole ki Nakaseke Community Child Care, Christopher Musisi agambye nti abaana abawala abali wakati wemyaka 14-17 bafuna nnyo embuto mu district ye Nakaseke okusinziira kukunonyereza ekitongole kino kwekyakola omwaka oguwedde era ensonga eno agikaatiriza bwati mu
Musisi agambye…