Bya Gertrude Mutyaba
Omukulembeze ow’ennono ow’eKkooki Kamuswaga Appollo Ssansa Kabumbuli II, ategeezezza nga bw’asonyiye abantu abesenza ku ttaka mu kitundu kyakulembera ssente ez’obusuulu n’envujjo okumala emyaka etaano.
Bino yabyogedde ku mukolo ogwamatikkira ge ag’omulundi ogw’ekkumi n’esatu (13) agaayindidde ku kitebe ky’egombolola ye Kabanda mu district ye Rakai.
Abantu okusonyiyibwa kivudde ku njala eyalumba abantu mu kooki ebbanga eriwera…
Bya Eria Lugenda
Minister omubeezi avunanyizibwa ku byempuliziganya eby’ekikugu, Idah Nantaba alaze okutya nti abasajja abakola omulimu gw’okusasanya amasanyalaze mu ssaza lye Bbaale mu district ye Kayunga bandiviirako
amaka agawerako mu kitundu kino okusasika olwa sente enyingi zebalina nalabula abakyala abafumbo okubesurubabba newankubadde nga bali
mumbeera ey’obwavu.
Nantaba eranga ye mubaka omukyala owa district ye Kayunga mu parliament ayise…
Bya Damali Mukhaye
Waliwo omukazi agumbye ku poliisi ya Division ya Kira nga alumiriza bba okukkakana ku kato ke ak’emyaka 13 n’akasobyako.
Oliver Namutosi nga ali n’omwanawe ow’emyaka 5 wamu negwagamba nti baamusobyako balemedde ku poliisi eno okuva ku ssande okutuusa nga bayambiddwa.
Namutosi mutowe yamuggya ewaabwe e Tororo mu mwezi ogwokubiri n’amuleeta babeere bonna e Kampala nti…
Bya George Muzoora
Omuvubuka ow’emyaka 16 ekyuma kya sukaali kimugaayizza yenna n’asigala bulere ku kkolero lya Kinyara
Daniel Daniel Odoch nga muyizi ku ssomero lya Kinyara high school mu Budongo mu disitulikiti ye Masindi abadde akolera ku kkolero lya sukaali lino nga anoonya fiizi wabula kuluno ekyuma kyamulobye nekimugaaya nga ebikajjo.
Omwogezi w’ekkolero lya Kinyara Kirunda Magoola akakasizza okufa…
Bya Stephen Mbidde
Muzeeyi Bonifance Byanyima nga ono ye taata wa Winnie Byanyima muka Dr Kiiza Besigye eyali ssenkulu w’ekibiina kya FDC AFUDDE.
Muzeeyi Byanyima afiiridde mu ddwaliro lya Nakasero .
Omugenzi yaliko omukulembeze w’essomero lya Mbarara High School era ssentebe w’ekibiina kya DP.
Munnabyabufuzi Yona Kanyomozi nga ono omugenzi amumanyi bulungi agamba muzeyi Byanyima yakolerera nyo enkulakulana mu…
Bya Damali Mukhaye
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu ab’ekibina kya Human rights network basabye palamenti okukola okunonyereza ku bantu abagambibwa okutulugunyizibwa bukyanga eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi attibwa.
Bano okuvaayo bwebati nga abantu 13 abakwatibwa ku byekuusa ku ttemu lino balumiriza poliisi okubatulugunya nga neyakasembayo ye meeya we kamwenge Godfrey Kamukama .
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire,…
Bya Ritah Kemigisha
Akakiiko k’ebyokulonda kamaze okukakasa ebigenda okugobererwa mu kulonda omubaka wa Kyadondo East nga era abeeno baakulonda nga 26 June 2017.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama ategezezza nga okusunsula bonna abagenda okwesimbawo bwekwokubeerawo nga 30 ne nga 31 May ku ofiisi z’akulira eby’okulonda e Wakiso.
Oluvanyuma wakubeerawo ennaku 6 abalonzi mwebanasobola…
Bya Moses Ndaye
Nga Uganda yegatte ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusubbawa olugendereddwamu okujjukira abafudde siriimu gavumenti etegezezza nti yakafiirwa abantu abasukka mu kakadde kalamba bukyanga siriimu abalukawo.
Bino byasanguziddwa minisita avunanyiaibwa ku nsonga za pulezidenti Esther Mbayo n’ategeeza nti mukiseera kino abantu nga akakadde kamu n’ekitundu bwebawangaala ne siriimu sso nga abavubuka abali mu 500 bebakwatibwa…
Bya Gertrude Mutyaba
Abakulu mu district ye Kalungu bayimirizza abasawo ba mulerwa ababadde bazaalisa abakyala nga tebalina bukugu bumala.
Kino kigendereddwamu okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya ogugambibwa okuba nga gweyongedde.
Ssentebe wa district ye Kalungu Richard Kyabaggu abadde abasisinkanyemu n'abagamba nti kino kyakuyambako gavumenti okumanya abantu bebalina okuteekera teekera naddala ku baana ababa bazaaliddwa.
Ono agamba nti…
Bya Ruth Andera
Waliwo omusajja ow’emyaka 23 awereddwa ekibonerezo kya saawa 30 nga akola bulungi bwansi nga omusango ogumuvunibwa gwakwefula kyeneena
Steven Ssendegeya nga avuga bodaboda ya gaali kigambibwa nti yakwatibwa wano ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa nga ennaku zomwezi 10th/May 2017 oluvanyuma lwokumusanga nga akunkumula mu kacupa ka mineral water, kyokka n’amala nakasula mu mwala
Kati…