Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

NRM yeddizza eky’e Kagoma

  Bya Ismali Laddu Tausi Nakato Munna NRM  Moses Walyomu yeddiza ekifo kye eky’omubaka we Kagoma . Ono yalangiriddwa akulira eby’okulonda e Jinja Rogers Edward Serunjogi oluvanyuma lw’okukukumba obululu  24,257, naddirirwa atalina kibiina  Alex Brandon Kintu n’obululu18,490.. Munna FDC  Timothy Batuwa Lusala yafunye obululu 8,149 sso nga  Muhammed Bidondole- yafunye 1,248. Wabula ye Munna FDC  ebyavudde mu kulonda teyabikkirizza kubanga…

Read More

Asse omwana wamuliranwa

Bya Magembe ssabbiiti Poliisi   mu  district  ye  Mubende  eli  ku muyigo  gwa  ssemaka  akidde omwana  wamuliranwa  we owemyaka  4  namutemateema  ebiso  namutta nga  olumaze  okukola  ettemu  lino nabulawo. Ettemu  lino  libadde  ku  kyalo Lugalama  mu  gombolola   ye Butoloogo  eMubende Behengana –Sseemu  myaka  35 yavudde  mu  mbeera nakakkana  ku  mwana  wa  muliranwawe Amumpa- Mathias  owemyaka  4 n'amutta…

Read More

Abadde atigomya abe Kabowa gamumyuse

Bya Shamim Nateebwa Poliisi  ye Kabowa ekutte omusajja agambibwa okubeera mu kibinja okibba emmotoka ne pikipiki ne babitunda ebweru w'eggwanga. Omukwatte yye Bahat Silver Odongo myaka 28 era nga mutuuze we Bukasa Muyenga wano mu Kampala era nga pikipiki gyakwatidwa nayo ekika kya TR sport Okukwatibwa kiddiridde okubaako kayungirizi w'emmotoka gweyatuukiridde ng'amusaba amunoonyeze akatale ka pikipiki eno n'emmotoka…

Read More

Ssabasajja asiimye

Abaserikale ba Obote lwebalumba olubiri mu 1966 Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi  II  asiimye eddiini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba mu lubiri e Mengo nge naku zomwezi 24/5 omwaka guno nga bajjukira nga bwejiweze  emyaka 51 bukya Dr Milton  Obote  alumba olubiri  olwe Mengo . Entekateka eno eyanjuliddwa minister webyobuwangwa nennono mu bwakabaka bwa Buganda Owek.Denis walusimbi…

Read More

Dr Stella Nyanzi awonye ekkomera

Bya Ruth Andera Kyaddaaki Munnabayanjigiriza ateerya ntama Dr. Stellah Nyanzi kkooti ekkirizza yeyimirirwe awoze nga ava bweru. Nyanzi yeyimiriddwa ku bukadde 10 ezitali zabuliwo n’abamweyimiridde obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo. Banamateeka ba Nyanzi bategezezza nti omusango gwe guluddewo okuwulirwa kubanga abadde teyewulira bulungi. Nyanzi avunanaibwa kukozesa bubi compyuta n’ayita omukulembeze w’eggwanga obutuuliro. Okujja ku kkooti Dr Nyanzi bamuleese abaserikale…

Read More

Lukwago azizza omuliro

Bya Shamim Nateebwa Loodi meeya wa kampala  Erias Lukwago aweze okusimbira ekkuuli ebbago ly’etteeka erireetebwa okunafuya ekifo kya loodi meeya. Ebbago lino lyayanjuddwa eri palamenti nga era ssinga liyisibwa olwo minisita wa Kampala y’aba akulira oludda lwabannabyabufuzi ekisala ku buyinza bw’omuloodi. Wabula Lukwago ategezezza nti agenda kukozesa ennaku zino 45 ez’okwetegereza ebbago ly’etteeka lino okukunga bannakampala bamwegatteko nga…

Read More

Bannayuganda balabuddwa ku kyeyo

Bya Sam Ssebuliba Bananyuganda abayaayaana okulolera ebweru w’eggwanga balabuddwa okwewala okugenda mu mawanga agatateeka Mukono ku ndagaano na gavumenti yakuno ku nsonga z’abakozi. Uganda yategeragana n’amawanga okuli Saudi Arabia ne  Qatar, okulaba nga abakozi tebatuusibwako buzibu bwonna nga bagenze okukolerayo. Moses Binoga nga yemukwanaganya w’akakiiko akatekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu ggwanga agamba bannyuganda banji bagenze e Oman ,…

Read More

Abadde akozesa abatanetuuka gamumyuse

  Bya Shamim Nateebwa Poliisi ekutte omukazi abadde  akozesa abaana abatanetuuka Madrine Kwagala nga ye nnanyini bbaala ya  Best Pub esangibwa e Wakaliga yakwatiddwa poliisi ya Kampala Mukadde n’omusajja agambibwa okusobya ku bawala abamukolera. Okukwatibwa kw’abantu bano kiddiridde omu ku bawala okwemulugunya ku mbeera y’okukakibwa omukwano mu kifo kino. Waaliwo omuzirakisa, Ashiraf Kyagulanyi ow’e Wakaliga eyali agenze okulaba ku mukwano…

Read More

Eddagala erifuyira obusanyi lituuse

Bya Gertrude Mutyaba Minister avunaanyizibwa ku by'obuvubi,obulimi n’obulunzi akakasizza banna Uganda nga bwebamaze okufuna eddagala erigenda okuyambako okusanyaawo akasaanyi. Minister Vincent Bamulangaki Ssempijja ategeezezza nti kati abalimi balina essuubi okukungula ensigo olwokuba nti gavumenti yabakanye dda n’eddimu lyokugula eddagala. Okugaba eddagala ly’akawuka Minister ategeezezza nti kwakutandika sabbiiti ejja mu district ez’enjawulo. Minister waaviiriddeyo okwogera bino nga abalimi abasinga mu…

Read More

Abaamenya essomero lye Kasubi bakyabuze

Bya Moses Kyeyune Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza bakunyizza abakungu okuva mu KCCA olw’okulemererwa okunonyereza  okumanya eyali emabega w’okumenya essomero lya Kasubi Family Primary School. Nga 24th May 2016 essomero lino lyamenyebwa mungeri etaategerekeka bulungi olwo abayizi abasoba mu 600 nebasigala nga tebalina wakusomera. Nga bakulembeddwamu akunganya omusolo mu KCCA Samuel Serunkuma,bano baababuuzizza wa okunonyereza wekutuuse…

Read More