Bya Malik Fahad
Abatuuze ku kyalo Miwula mu disitulikiti ye Kalungu basattira olw’embizzi ezitataaya mu kitundu kyabwe.
Abatuuze bano bagamab embizzi zino zibaliiridde ebirime byabwe kumpi kubimalawo sso nga zijamawaza tawuni yaabwe nga zisaasanya obubi buli wamu.
Omu ku batuuze omusiraamu Yusuf Mwanje agamba kati ebiseera babimala mu kugobaganya bulufuluuta buno nga ebiseera ebisinga bugezaako okuwalampa omuzikiti gwabwe…
Bya Damali Mukhaye
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni wakukuba enkambi olwaleero mu ssaza lye Kagoma okunonyeza munna NRM Moses Walyomu obululu.
Omubaka wa pulezidenti e Jinja John Rex Aachilla akakasiza nga pulezidenti Museveni bw’agenda okukuba enkungaan 2.
Mungeri yeemu ne munna FDC Dr.Kiiza Besigye yatuuse dda e Jinja okunonyeza munnakibiina Dr. Timothy Lusala akalulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija…
Bya Ivan ssenabulya
Abamu ku bakugu mu nsonga z’ebyobufuzi bekengeddemu ekigendererwa kya pulezidenti Museveni okulagira minisitule y’ebyenjigiriza okutandika okugabira amassomero ekitabo ekirimu ebyafaayo bye ekimanyiddwa nga “Sowing the Mastered Seed”
Pulezidenti Museveni agamba ayagala kulaba nga ayongera okunyweza mwoyo gwa ggwanga mu mu bannayuganda.
Kati omukugu Prof Ndebesa okuva ku yunivasite ye Makerere agamba ekitabo kino kirimu byafaayo…
Bya Ali Mivule
Empaka z’amassomero ga secondary ez’omupiira eza Copa Coca cola zitandika olunaku lwaleero.
Amassomero 59 gegalwanira ekikopo kino ku ssomero lya Masaka Secondary School .
Abazanyi bonna basunsuddwa olunaku lw’eggulo era nebakeberebwa oluvanyuma lw’okutuuka olunaku lwomukaaga.
Kibuli SS bebanantameggwa b’ekikopo kino nga baakuba St Mary’s Kitende ku fayinolo.
Bya Damali Mukhaye
Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga kiwadde abalimi amagezi okutandika okulima ebivaavava nga engeri eyamangu okulwanyisa enjala etondola bannayuganda.
Kino kiddiridde bannayuganda okwongera okukaaba enjala ebali obubi naddala abo abali mu mambuka ga Uganda nemu buvanjuba.
Akulira ekibiina kino Charles Ogang agamba olwenkuba etalaganya nti anatonya, ebivaavava bisanye okuteekebwako nyo essira.
Wabula awadde gavumenti amagezi nti enjala…
Bya ShamimNateebwa
Olukiiko lwa Buganda luddamu okutuula olunaku olwaleero nga ebintu ebigenda okusibwako essira kwekuli ensonga ya Kyapa mu ngalo ,okusalira amagezi enjala ani amuwadde akatebe,wamu nebilala binji ebizze bigwawo.
Okusinzira ku mukubiriza wolukiiko lwa buganda owekitibwa Nelson Kawalya olukiiko lwakutandiika saawa nya nga ababaka basabidwa okukuma obudde.
Olukiiko lwomulundi guli lwayiisa ebiteeso omwali okukyussa munyimba ye kitibwa…
Bya Eria Lugenda
Nga olwaleero amasomero okwetoloola eggwanga lwegawumuza abayizi mubutongole,omusomesa mu district ye Kayunga asiiwuuse empisa nakwaata Burser w’essomero amataayi nga amulanga butamusasula musaalgwe.
Teddy Akumu atemera mugyobukulu 28 nga musomesa kussomero lya Noble Hill P/S elisangibwa e Namagabio mu Kayunga Town Council yaakedde okugenda kussomero lino nga ayagala Burser Waalyo Paul Mwaka era nga ono…
Bya Steven Ariong
Oluvanyuma lwa gavumenti okwongera okutabukira abakechula abawala mu mbugo, mu disitulikiti ya Amudat abasala abaana bano ab’obuwala kati bazze nankuba mpya kuwudiisa ab’obuyinza.
Mu bitundu bye Karamoja bano kati bakyusizza emyezi mwebasalira abawala okuva ku gimanyiddwa .
Kansala w’abakyala mu disitulikiti Docus Chelain y’ayasanguzza kino n’ategeeza nti okusala abawala mu mbugo kulina kubeerawo mu August…
Bya Steven Ariong
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Nakapiripirit district mu bitndu ye Karamoja kawefube waabwe ow’okulwanyisa omusujja gw’ensiri yandigwa butaka olw’abatuuze butamanya mugaso gwabutimba bw’ensiri .
Abatuuze bano obutimba obwabaweebwa okwebikka bawone okulumibwa ensiri ezireeta omusujja kati babukozesa kukwata nswa.
Omuze guno guli nyo mu magombolola okuli Nabilatuk, Lolachat, ne Loregae nga era osanga obutimba obupya bubikiddwa ku…
Bya Damali Mukhaye
Ab’olukiiko olutwala okuzanya zaala mu ggwanga balabudde nti teri kutwala byuma bya zaala mu byalo.
Akulira olukiiko luno Edgar Agaba agamba zaala alina kubeera mu bibuga mwokka bannakyalo babaleke.
Ono kati agamba okutandika n’olwaleero baakuggala buzineesi za zaala zonna ezimenya amateeka.
Agaba ategezezza nti ebibanda bingi bikkiriza abaana abato okuzanya zaala, ebimu tebirina layisinsi nebisanyizo ebirala…