Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Temutiiririra Buganda-Katikiro

Bya Shamim Nateebwa Katikkiro wa Buganda charles Peter Mayiga alabudde ababaka abava mu Buganda obutatiirira Buganda balemere ku nsonga za Buganda ssemassonga 5. Bino Katikiro abyogeredde mu lukiiko lw’akabondo k’ababaka abava mu Buganda olukubiriziddwa ssente waabwe Muyanja Ssenyonga nga era bakonye nekunsonga ya federo. Omubaka Ssenyonga ategezezza nti Federo ssiyakuyamba Buganda yokka wabula neBuganda yonna okutwaliza awamu mu…

Read More

Besigye alabudde gavumenti ku by’enjala

Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr Kiiza Besigye agamba okukwata obubi eby’obufuzi by’aggwanga kyekivuddeko embeera y’obunkenke eriwo mu kiseera kino . Nga ayogerako ne bannamawulire ku ofiisi ye wali ku luguudo lwa Katonga, Besigye ategezezza nti olunaku lw’eggulo palamenti yaleese ekiteeso okulangirira  akaseera akakazigizigi olw’enjala eri bannayuganda obubi n’ategeeza nga enjala ssikyekizibu ekikulu…

Read More

Monitor Publications yakukola enkyukakyuka

Monitor Yakukola enkyukyakyuka mu bakozi. Abakulira kampuni ya  Monitor Publications Ltd batandise enkyukakyuka okulaba nga bongera okuweereza bulungi bakasitooma n’okwongera okuyingiza ensimbi. Ssenkulu wa Kampuni eno  Tony Glencross ategezezza nti mu nsi eno ekyukakyuka kampuni yakukwata ekkubo lya Digital nga bingi bikolebwa ku mutimbagano gwa yintaneti naddala amawulire. Wabula olw’enkyukakyuka zino abamu ku bakozi bakufiirwa emirimu gyabwe era…

Read More

Ssente za kabuyonjo zitabudde abomukatanga

Bya Shamim Nateebwa Abakulembeze bomu Katanga baleese enkola nga teri kusasuza baana bato nsimbi zakabuyonjo abali wakati w’omwaka ogumu ne 15. Kino kigendereddwamu okukendeeza ku baana abamala ganmansa empitambi buli webasanze. Ssentebe  w’ekitundu kino  Hassan Waswa agamba kino kivudde ku baana butafuna webeyambira nga ttooyi ezisinga zakusasulira sso nga tebalina ssente. Twogeddeko n’abamu ku batuuse nebatutegeza nti bayita mu…

Read More

Owa Guinea awabudde bannayuganda

Omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea nga  ali kuno ku bugenyi obw’ennaku 2 Theodoro Obiang Nguema Mbasogo asabye abakulembeze ba Africa bonna okuteekawo amateeka agawaliriza ebitongole bya gavumenti byazo okugula byebakozesa nga bikoleddwa ku butaka. Nga ayogerako eri bannamawulire mu maka ga Pulezidenti Entebbe, Pulezidenti Nguema agamba okugula buli kimu okuva ebweru w’eggwanga kikosa ebyenfuna by’amawanga ga…

Read More

Enjala ebizadde

Abatuuze  abawangaalira mu gombololla ye kyalulangira mu District ye Rakai beekokodde enjala  etuusizza abasajja okunoba mu maka ne babalekera abaana  nga ne mu kiseera kino abaana tebakyagenda  ku masomero olw’okubulwa eky’okulya. Abazadde babadde bakungaanidde mu kabuga ke  kibaale ku ddwaliro  nga bakubaganya ebirowoozo ku  ngeri eddembe ly’abaana  gyerityoboddwamu. Omusomo gwategekeddwa ekitongole ekya Rakai counselor’s Association ( RACA)  nga kino kirafuubana okulaba nga eddembe ly’abaana terityoboolwa…

Read More

Obutabanguko mu maka businga siriimu okutta

Obukiika kkono bwa Uganda bwebusingamu abakyala banakampaati abakkakana ku baami baabwe nebabawuttula gyoli bebaami ewaka.   Mu kwogerako eri olukungaana ku butabanguko mu maka wali ku Speke Resort Munyonyo, Dr. Jackson Amone kamissiona mu minisitule y’ebyobulamu yategezezza nti abasajja bangi bafiira mu kimugunyu nga bakyala baabwe bababacha empi bisssebo olwokutya okuswala nebasirika.   Agamba okusingira ddala kino kivudde ku…

Read More

Mugemese abaana

Bannayuganda bonna basabiddwa okufuba okulaba nga bagemebwa endwadde ez’enjawulo ezewalika nga omuntu agemeddwa. Omulanga guno gukubiddwa minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Achieng mu kuggulawo wiiki y’okugema ey’omulundi ogw’omusanvu. Okugema kuno kwatongozeddwa olunaku lw’eggulo ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna nga kino kigendereddwamu okukendeeza ku baana abafa nga bato okwetolola ensi yonna. Dr. Anchieng agamba abantu abalamu bebajja okutuusa Uganda mu…

Read More

Nabakooba awolerezza eyali mukamawe Kayihura

Wabadewo katemba mu kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’ebyokwerinda , nga kino kidiridde ssentebe w’akakiiko kano, era omubaka we Mityana Judith Nabakooba  okugezaako okugaana  omubaka Muwanga kivumbi  okubaako by’asoya ssabapolice wa uganda. Kivumbi okutuuka mu nkayaana zino kidiridde okukalira mu ssabapolice wa uganda nga agamba nti abantu beyakwata ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa…

Read More

Apollo Kantinti bamugobye mu palamenti

  Bya Ruth Andera Munna FDC Apollo Kantinti takyali mubaka wa palamenti. Kkooti ejulirwamu emugobye mu kifo ky’omubaka wa Kyadondo East lwakujeemera mateeka gabyakulonda. Abalamuzi abasatu okuli  Richard Buteera, Cheborion Balishaki ne  Paul Mugamba bonna bakkiriziganyizza n’ekyasalibwawo kkooti enkulu nti waliwo n’obululu okuva mu bifo 9 obutaabalibwa ga abantu nga 5000 bafiirwa olukisa lw’okwelondera omubaka waabwe. Kati kkooti eno eragidde…

Read More