Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omulamuzi eyeeyambula azzeemu okukola

Mu ggwanga lya Bosnia omulamuzi eyasangibwa mu ofiisi ye ng’ali bute ayota musana azze ku mulimu Omulamuzi ono Enisa yasooka kubuukabuuka mu awo mu ngeri y’okukola exercise era olwa mala n’agalamira ku meeza ye okwota omusana ng’ali bute Ono nno abamulengera baali basajja abaali bayita ku ofiisi ye nga bakwata buli kimu kamera nga bayita mu ndabirwaamu…

Read More

Micho mugumu- Cranes emalako

  Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Milutin ‘Micho’ Sedrojevich wakulangirira abazanyi Uganda begenda okukozessa mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morroco. Uganda yakuggulawo campaign negwanga lya Madagascar omwezi ogujja wakati wenaku zomwezi 16th ne 18th ,oluvanyuma badingane  mu weeks biri e’Namboole. Omuwanguzi ku team zombi,wakusisinkana anawangula ku Equatorial Guinea ne Mauritania nga ezebibinja…

Read More

Obutimba buwewa mmere ya nkoko

  Mu disitulikiti ye Lwengo ku kyaao kya Lwengo Rural, abaayo obutimba bw’ensiri babusiba ku biyumba bya nkoko SSentebe w’ekitundu kino Joseph Lubega bazonoona agamba nti ate abalala obutimba buno babukozesa kusengejja mmere ya nkoko Bazoonona agamba nti ekikwekweto ekigenda okuyoola abantu bonna abagwa mu kkowe lino kyakugenda mu maaso okukwata abantu bonna abakozesa obubi obutimba buno Wabula Lubega…

Read More

Cholera e Moyo- 4 beebakafa

Minisitule ekola ku byobulamu ekakasizza nti obulwadde obutta abantu e Moyo cholera Mu ngeri yeemu era n’omuwendo gw’abafudde obulwadde buno gulinnye okuva ku basatu okudda ku bana . Abalala 64 baweereddwa ebitanda mu ddwaliro lya Obongi health center four Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti abasawo bamaze okutuuka wansi mu balwadde era nga babakolako n’okwongera okulaba…

Read More

Aba kampala bawagidde Museveni

Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu massekati ga Kampala  basizza kimu nga nkuyege omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 206. Kino kiddiridde ensisinkano y’okukubaganya ebirowoozo ebadde wali  ku kitebe kya Division mu kampala amakya ga leero. Ssentebe wa Division ya Kampala  Godfrey Nyakaana agamba president akoledde nyo eggwanga kale nga tasaana kuvuganyizibwa…

Read More

Bamusibye lwakulinnya mu muddo

Owembale  abadde akyaddeko mu kibuga  n’ayita mu muddo , kampala amuwanda lulusu. Omusajja ono bamusimbye mu kkooti n’aggulwaako emisango gy’okusaalimbira awakyaamu Emmanuel Barata  asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku city hall Juliet Hatanga era omusnago tagwegaanye. Barata alaajanidde kkooti emusonyiwe nga agamba nti yye we Mbale abadde tamanyi bye kampala. Wabula omulamuzi naye alemeddeko ng’agamba nti Mbale elina ekibuga ekiyonjo…

Read More

Abasibe tebafuna zakulya

Ababaka ba palamenti abaatuula ku kakiiko akakola ku byokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga kenyamidde olw’ensimbi entono eziriisa abasibe Kiddiridde aba makomera okubategeeza nga bwebatafuna obuwumbi nsimbi zirina kuliisa basibe Akulira amakomera, Dr Johnson Byabashaija ategeezezza ababaka nti buli musibe babubalira shs 3000 buli lunaku lyokka nga nazo tezijja. Kino kinyizizza ababaka okubadde Theodore Sekikuubo, Semujju Nganda ne Odonga…

Read More

Eyafulumya obutambi bwa Kaihura avunaaniddwa

Omusirikale agambibwa okufulumya obutambi obwakwatibwa nga mulimu ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura avunaaniddwa Ronald Poteri ng’egigye egikolera ku kakiiko akalondesa, bamuvunaanye gwa kubutola byaama n’okusasanya amawulire amafu Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Lilian Omara lugamba nti omupoliisi eno yaddira ebyaama ebyamukwasibwa ate yye n’abijabaata Alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Olive Kazarwe amusindise e Luzira okutuula nga 7 omwezi ogujja Bannamateeka…

Read More

Omuvubuka atemyeeko kitaawe omutwe

Omuvubuka avudde mu mbeera n’atemako kitaawe omutwe. Enjega eno ebadde ku kyaalo Kasosi mu disitulikiti ye Manafwa Omuvubuka ono nno naye abatuuze bamutabukidde era okukkakkana nga bamukubye okutuuka lw’afudde Ayogerera poliisi mu bitundu kino Diana Nandawula agamba nti omugenzi Boniface Mutonyi asoose kuyomba ne mutabani we Denis Okwale era bw’atyo n’amusanjaga Nandawula wabula agamba nti bakunonyereza ekituufu ekivuddeko obuzibu…

Read More