Akulira ekitongole ky'ebigezo Fagil Mande alekulidde ekifo kino.
Ono agamba nti embeera ku UNEB temusobozesa kukola mirimu gye.
Kiddiridde pulezidenti Museveni okwongezaayo ekisanja ekya Mathew Bukenya yadde nga kontulakita ye yaggwaako.
Mande agamba nti pulezidenti talina buyinza bukola mirimu gitali gigye
Abasajja bataano abagambibwa okutta omuyizi wa siniya y’omukaaga bavunaaniddwa
Joan Namazzi eyali asomera ku ssomero lya St Marks Namagoma yattibwa abavubuka abaasigala nga batiisatiisa ab’oluganda lwe
Abavunaaniddwa kuliko Aloysius Ssemanda, Kamad Mugabi ,Asuman Muhereza , Juma Ainebyona and Umar Mwanje.
Emisango gino bagizza ng’ennaku z’omwezi 20 omwezi ogw’okusatu omwaka guno.
Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Stella Maris Amabilis abasindise e…
Siteegi za bodaboda zakutandika okukola omwezi ogujja
Omwaka oguwedde KCCa yawandiika abagoba ba pikipiki n’ekigendererwa ky’okutereeza omulimu guno
Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti bakafunamu siteegi eziwerera ddala emitwaalo etaano mu enkumi nnya.
Ono wabula agamba nti siteegi ku nguudo eziriko abantu abangi zakujjibwaawo
Alipoota efulumiziddwa ebibiina by’abakyala eraga nti enfuga y’ebibiina ebingi eyawudde mu bakyala
Alipoota eno ekoleddwa abakyala abali wansi w’ekibiina kya Isis WICCI
Omusomesa ku ttendekero lye makerere,Dr. Peace Musimenta agamba nti yadde abakyala bongedde okukulakulana , mu ngeri yeemu boongedde okweyawula nga buli omu yerippa ku kibiina kye
Ng’atongoza alipoota eno minisita w’ensonga z’amateeka Kahinda Otafiire agambye nti…
Abantu bangi boogerera nnyo banaabwe abaluma enjala, naye obadde okimanyi nti waliwo abalya emisumaali
Omusajja enzaalwa ye China buli lw’awujjaalamu ng’alya emisumaali kyokka ng’ekyewunyisa nti talina buzibu bwonna ku bulamu bwe
Takoma ku misumaali wabula alya ne Tayilo endabirwaamu n’ebirala ebizimbisibwa
Bino abinyweerako mazzi
Kino yatandika okukikola nga wa myaka 17 nga kati wa myaka 30
Omwana ow’emyezi etaano atandise okumera omukira yeeralikirizza nyina
Omwana ono yazaalibwa alina obuzibu ku mugongo gwe era nga tasobola kutuula.
Maama w’omwana ono asiiba akaaba ng’ayagala omwana we alongoosebwe kyokka ng’abasawo baamulabula nti kiyinza okukosa omwana ono
Abasawo era bagamba nti tebasobola nakusalako mwana ono mukira ogumumezeeko
Olunaku lwaleero lwa musujja gwansiri
Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte okujjukiza abantu nti omusujja guno gwamaanyi era buli omu asaanye okukwatira waali okulwanyisa obulwadde buno
Mu nsi yonna abantu obuwumbi busatu beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri ate nga bbo abaweza akakadde beebafa omusujja guno buli mwaka
Buli sekonda 30 lweziyitawo, wabaawo omwana afa omusujja gw’ensiri mu…
Amata kikulu nnyo eri obulamu bw’omuntu naye obadde okimanyi nti gano ate gayinz aokufuuka kanaluzaala
Amata agatali mafumbeko geegasinga okuba ag’obulabe nga gano galwaaliza ddala.
Dr Charles Kasozi okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti endwadde omuli ey’okuzimba omubiri, omusujja gw’omubyenda, ekiddukano n’endwadde endala nyingi biva mu kunywa amata amabisi
Dr Kasozi agamba nti amata gano amabisi gabaamu…
Omuwendo gw’abalwadde abaddukira mu bulwaliro bwa KCCA okufuna obujjanjabi guyitiridde obungi
Ekyewunyisa nti bangi ku bano tebava na mu kampala.
Akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi agamba nti kino kikosezza emirimu gyaabwe naddala bwegutuuka ku ddagala kubanga liggwaawo mu kiseera kyebaba tebetegekera
Musisi wabula agamba nti abasawo babagaana okugoba abalwadde nga bonna bafuba okulaba nti babakolako.
Asabye gavumenti okulongoosa…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze abakubye abakozi ba Umeme ababadde bagezako okuwanulayo tulansifooma yaabwe.
Bino bibadde mu gombolola ye Kasambya mu district ye Mubende abatuuze bwebakubye abakozi bano n’emmotoka y’omubaka waabwe Patrick Mulindwa abadde azze okubawooyawooya .
Bano bagamba bamaze ebbanga nga bali mu kibululu kyokka bano bwebatwala tulansifooma eno kyokka ng'okugizza lufuuse …