Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Mukome okuwandiisa abantu- abavuganya

Abali ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala okuwandiisa abantu okufuna endagamuntu kuyimirizibwe Bano bagamba nti tekutambulira ku mateeka nga y'ensonga lwkai kulimu emivuyo Mu lukiiko lwa bannamawulire olwa wamu, akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu agambye nti tewali kigobererwa mu kuwandiisibwa bantu oba olyaawo kyekivuddeko n'abatalina biwandiiko okusanga obuzibu. Otunnu era agamba nti ekitongole ekyetongodde kyekirina okukola ku…

Read More

Omukyala ono tawena

Kati eno ensi buli omu agiyiiya bubwe. Mu ggwanga lya china waliwo omukyala atandise okukamula amabeerege nagagyamu amata olwo n'agakolamu ssabuuni. Ono yazudde sukaali ono oluvanyuma lwamutabaniwe omuwere okugana okuyinka olwo nasalawo amata gano agoozese kyeyalabye nti gatukuza era yagenze n’okugasiiga mutabani ku lususu nga gawonya obuwere. Ono kati yatandise dda okweranga ku mukutu gwa yintaneti era abantu…

Read More

Abasuubuzi ssibakusengulwa

Ab’obuyinza mu kibuga kye Mbale bayimirizza eky’okusengula abasuubuzi bokunguudo okudda mu katale akapya mu kibuga kino. Kino kiddiridde abasuubuzi bano okulumba ofiisi ya  RDC Kachimate Shaban nga baagala abataase. Kati RDC yasabye tawuni clerk okuvaayo ne alipoota enambulukufu ku nsonga eno nga tanakiriz basubuzi bano kusengulwa. Akatale kano kazimbibwa banka y’ensi yonna okutumbula eby’obusuubuzi e Mbale.

Read More

Gavumenti eremedde ky ky’okusabika amata

Gavumenti ekyakalambidde ku ky’okuwera amata agatali malongose era nga simasabike. Minister omubeezi owamagana  Bright Rwamirama agamba gavumenti tejja kulinda kulaba nga omutindo gw’amata gusse  okubaako nekye’kola. Kino kiddiridde bananyini bimotoka by’amata okusimba ebimotoka byabwe nga bawakanya kino. Agamba amateeka gano gabaddewo okuva  mu 2007 wabula nga abasuubuzi bano babadde bakyaganye okugagondera.

Read More

Ebikofiira bikwangala

Ebikoofira by’okumutwe bi Helmet KCCA z’ebadde ereese okugabira abagoba ba Bodaboda ,ekitongole ekikole ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga kizizudde nti  tezitukaganye namutindo. Akulira ekitongole kino Ben Manyindo agamba bakebedde helmet zino nebakizuula nti teziyinza kuyamba muvuzi wa pikipiki singa aba agudde ku kabenje. Agamba nti kati KCCA erina eddimu ly’okuddamu okunoonya kampuni endala enabawa ebikofiira bino ebirala…

Read More

KCCA teyetaaga Loodimeeya kutambula-Gavumenti

Bannamateeka ba KCCA bategezezza nga ekitongole kya KCCA bwekisobolera ddala okudukanyizibwa awatali loodi meeya. Munnamateeka wa KCCA Charles Ouma bwabadde awayo okwewozako kwa KCCA eri abalamuzi ba kooti ensukulumu 7 abakulembeddwamu Esther Kisakye , ategezezza nga Lukwago watabadde mu ofiisi kati emyezi etaano naye nga emirimu  gitambula bulungi. Ono ategezezza nga minister wa kampala bwasobodde okulungamya bannabyabufuzi…

Read More

Ono eyoyoota mbaata

Kati ebiseera ebisinga abazungu balina omuze gw’okutambula nembwa, kale oba kappa. Mu kibuga London ekya Bungereza waliwo omusajja ye ebyembwa ssibyaliko, asazewo okukwata embataze 2 nazisibamu emigwa olwo nakaalakaala nazo mu kibuga wakati nga zimukuilembeddemu. Abantu abenjawulo bavudde ku byebakola olwo nebatunulira omusajja abadde atambula n’embaata.

Read More

Abawagira Mbabazi abalala bavuddeyo

Waliwo ekibinja kyabavubuka abawagira ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi ekyetonzeewo mu kibiina kya NRM. Bano abeeyita aba NRM Poor Youth Forum bazinzeeko ekitebe kya NRM e kyadondo,nga bagamba nti bbo bawagizi ba Mbabazi. Agavaayo goolese  nga bano bwebabadde  bakyategeka olukungana lwaabwe, omubaka akiikirira abavubuka Evelyn Anite  n'abalumbagana , n'abalangira okubeera banna DP abazze okukyankalanya ekibiina. Adam Luzindana nga…

Read More

Ogwa Besigye tegugenze mu maaso

Okuwulira omusango ogwawaabwa eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye tekugenze mu maaso. Omulamuzi abadde alina okugukolako, Elizabeth Musoke talabiseeko Besigye yawaaba ng’;ayagala aba UBC bamuddize ensimbi zeyabasasula okumukubira obulango nga yesimbyeewo mu mwaka gwa 2011 nga kino kyabalema Ayagala bamusasule obukadde bwe 21 zeyabawa nga kuliko n’amagoba Aba UBC beegana okukwata ssente za Besigye nga bagamba nti…

Read More

Ababaka be minista bakubaganye empawa

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bavudde mu mbeera ng’okukubaganya ebirowoozo ku bawala abatundibwa mu ggwanga ya Iraq kugenda mu maaso. Omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara ne Teopista Ssentongo beebaleese ensonga eno nga bagamba nti abawala bangi bwebatuuka eyo batulugunyizibwa Wabula minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi Mwesigwa Rukutana agezezzaako okuwolereza amakampuni agatwaala abawala bano Minisita agambye nti Uganda oluusi…

Read More