Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi yeezoobye n’abatuuze

Poliisi n’okutuusa kati ekyebulunguludde ewa Dinia mu Ndeeba oluvanyuma lw’abatuuze okutabukira bawanyondo ba kooti ababadde batandise  okumeya amayumba gabwe  agali ku ttaka erigambibwa okugulibwa  kampuni y’ebizigo  eya Movit. Poliisi ewaliriziddwa okukuba  omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abatuuze bano ababadde bataamuse nga enjuki.   Wabula ye adumira poliisi ye Katwe  Ibrahim Saiga agamba bbo bagoberera biragiro bya…

Read More

Aba Pakistan bawewuse- egy’obuliisa maanyi gibajjiddwakao

Omuwaabi wa gavumenti banansi b’eggwanga lya Pakistani babiri abajjeeko  emisango gy’okukaka omuwala ow’emyaka 23 omukwano wabula nebagulwako gyabusiyazi. Bano babadde bavunanibwa kukakana ku muwala ono nebamukaka omukwano mu kirindi. Omulamuzi wa kooti ya City Hall  Juliet Hatanga era omusango egusindise mu kooti ya Buganda Road okwongera okuwulirwa nga 25 April. Bano bavunanibwa nebanabwe abalala 2 abakyalira ku nsiko.

Read More

Kidandala yejjusa okusisinkana Kaihura

Amyuka loodimeeya Sulaiman Kidandala yejjusa okusisinkana senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura Ng’asisinkanye abakulembeze ku ludda oluvuganya, Kidandala agambye nti teyalina kigendererwa kyonna kibi kyokka nga yejjus aobutagambako mukama we Ng’ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukiiko luno, Dr Kiiza Kiiza Besigye agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza nga bakunyonyola eggwanga kyebanasalawo ekyenkomeredde Bbo abavubuka mu kibiina kya FDC olwaleero bakoledde…

Read More

Akulira Cairo Bank ayitiddwa bukubirire

Kooti ewozesa abakenuzi efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eli akulira banaka ya Cairo International Bank  Mohamed Tarek oluvanyuma lwokulemererwa okweyanjula mu kooti okwewozaako ku misango gyokubulankaya ssente z’akasiimo eziri eyo mu buwumbi 165 n’abamu ku bakungu okuva mu ministry y’abakozi. Munnamateekawe  Macdusman Kabega ategezezza kooti nga omuntu we bwatali mu ggwanga . Ono avunanibwa n’eyali omuwandiisi w’emkalakalira mu…

Read More

Abayizi abawolebwa ensimbi batono

Minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ayagala olukiiko olukola ku kuwola abayizi ssente z’okusoma lwongeze ku bayingizibwa abayingizibwa mu nkola eno mu matendekero agawagulu. Kati abayizi 5.7 bebokuganyulwa mu nteekateka eno nga ye ayagala batuuke ku bitundu 50%. Alupo agamba olukiiko luno lulina okufuba okulaba nga waliwo obulambulukufu mu kuwola ssente zino abaana babanaku basobole okuganyulwamu. Agamba olukiiko lwakusooka n’obuwumbi…

Read More

Pulezidenti Museveni alumbye ab’ebibira

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni anenyezza nyo ab’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga obutafaayo nga ebibira bitemebwa bigwaAwo. Bwabadde atongoza okusimba emiti ku luguudo lwa Northern bypass, Museveni ategezezza nga abakulira ekitongole kino bwebasazewo kutuula mu ofiisi nga eno ebibira bitemwa bigwawo. Museveni agamba nti buvunanyizibwa bwa kitongole kino okulaba nga emiti tejitemebwa saako n’okulaba nti emiti emirala gisimbibwa. Ono era…

Read More

Moyes agobeddwa

David Moyes agobeddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Manchester United. Ono abadde yakamala emyezi kkumi gyokka ku butendesi buno oluvanyuma lw’okudda mu bigere ebya Sir Alex Ferguson enzaalwa eye Scotland. Feruguson yalonda munnansi munne okumuddira mu bigere oluvanyuma lw’okuwummula obutendesi omwaka oguwedde  bweyali amazeeko emyaka 26. Kati Ryan Giggs omuzanyi ate nga mutendesi yasuubirwa okubeera mu mitambo gya…

Read More

Mu South Sudan ekitta bantu kitandise

Ebikumi n’ebikumi by’abantu battiddwa mu ttemu erigendereddwaamu amawanga agamu mu ggwnaga lya South Sudan. Kino kibaddewo ng’abayeekera bezza ekitundu kye Bentui nga kino kikubyeeko amafuta Okusinziira ku kiwandiiko okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, abattiddwa basangiddwa mu muzikiti, mu makanisa ne mu malwaliro Mu ngeri yeemu era waliwo ekiwandiiko ekijjudde obukaayi ekisomeddwa ku mikutu gy’amawulire nga kiragira abantu abamu…

Read More

Abawambibwa mu Nigeria batolose

Abawala musanvu kw’abo 85 abawambibwa okuva ku ssomero badduse Omuwala omu y’abadde yakasobola okudduka bukyanga kino kibaawo nga kati abawala 77 beebakyaali mu buwambe Abawala 130 beebawambibwa kuva ku ssomero abasajja abaali babakanye n’emmundu bwebalumba abawala bano ku lunaku lwa bbalaza oluwedde Ab’akabinja ka Boko Haram beebatebereza okuba nga baawamba abawala bano

Read More