Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ssabalabirizi Akunze Abakulembeze ba Africa

    Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda , Rev. Stanley Ntagali  asabye amawanga ga Africa okwanguwa okuyingira mu nsonga z’eggwanga lya South Sudan awali obutabanguko mu kiseera kino. Kino kiddiridde okulwanagana okuddamu mu ggwanga lino  nga abayekera kati beddizza ekibuga Bentiu ewasimwa amafuta.   Mu bubakabwe obwa Easter  wali ku kanisa ya All Saints e Nakasero, Ntagali agambye nti gyebuvuddeko amawanga…

Read More

Temunywa nemuvuga

Poliisi erabudde abantu okwewala okunywa omwenge ate nebavuga. Omuduumizi wa poliisi  mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agambye nti poliisi egenda kusuula emisanvu ku nguudo zonna, okukwata abanywa nga bavuga. Kaweesi agambye nti polisi egenda kusinga kukolera ku nguudo omuli olwe Ntebbe, Jinja road, Masaka road n’endala. Kaweesi agambye nti kino kigendereddwaamu okukendeza obubenje mu ggandalo lya Paasika.

Read More

Omubaka William Oketcho afudde

Omubaka eyali akiikirira abantu be West Budama North afudde William Oketch yafudde mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Mutabani w’omugenzi Val Oketcho agambye nti kitaawe yafudde akawungeezi g’eggulo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lw’okusanyalala. Omugenzi abadde ssentebe w''ekitongole ky'amazzi ekya National water and sewerage ate era yaliko ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira. Oketcho yawangulwa mu mwaka…

Read More

Ssabasajja ayagalizza abantu be paasika ennungi

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayagalizza  bannayuganda amazuukira ga yezu kulistu amalungi mu bubaka bwe bw'awereeza. Kabaka agamba nti singa yesu  teyazuukira kuva mu bafu kugenda mu ggulu tewandibaddewo ssuubi. Mu bubaka bwe, kabaka ategezeza nti  eggwanga lirina okwebaza mukama katonda olw'obutebenkevu. Ayongeddeko nti abakkiriza basaanidde okukuuma empisa ennungi zebooleseza mu kisiibo okugenda nazo mu maaso.

Read More

Loodimeeya ayise omumyuka we abitebye

Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise omumyukawe Sulaiman Kidandala abitebye ku bigambibwa nti yasaba ekyoja mumiro okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura  ajje Lukwago mu ntebe. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwekyamulumye okuwulira amawulire gano era yawulidde nga aliriddwamu olukwe. Agamba gavumenti nayo yeetaga okuwa oludda lwayo kubanga abakungu…

Read More

Bulange Plaza y’eddako- Katikkiro

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda ng’omulimu gwokuzimba ekizimbe kya Bulange  plaza  bwegudenda okutandika era gumalirizibwa ng’omwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2015 tegunayitta. Katikiro okwogera bino abadde mu Bulange Mengo mu kusonda ensimbi z’okuzimba amasiro ge Kasubi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 11 n’ensawo za Cement 300 zezisondeddwa. Mayiga agambye nti Kati esimbi ezigenda okusondebwa zona…

Read More

Pulezidenti Museveni alambudde ekibuga- asiimye Musisi

Pulezidenti Museveni atendereza omulimu ogukoleddwa akulira abakozi mu kibuga Jennifer musisi mu kukyuusa endabika y’ekibuga Ng’ayogerako eri abakozi ba KCCA e Lugogo, pulezidenti agambye nti ekibuga kampala kibadde kiddukanyizibwa b’ayise ababbi okumala ebbanga era nga beebakinnyika Ono era asabye bannakampala okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga za kampala bakolagane ne musisi mu kutwala ekibuga mu maaso Museveni nga tannayogera…

Read More

Rugby egenze jjinja

Kkampuni  ya Nile Special olunaku lwa leero etadde omukono kundagano yamyaka ebiri nga eteeka ssente obukadde shs 460 mu mirimu gyekibiina kyabanamawulire abasaka agemizannyo. Bwabadde ayanjula enteeka teeka eno enkya ya leero ku Hotel ya Imperial Royale,omukungu wa company ya Nile Special Isaac  Sekasi ategezezza nga enkolagana enungi eri wakati waabwe ne  USPA ebawaliriza okuzza endagano…

Read More

Eza yunivasite ziyinda

Team Makerere University Business school emazeewo esuubi lya team ya Mbarara University of Science of Technology okwesogga oluzannya lwokusirisizaawo  bwegiwutudde goal 2-1 olunaku lwa leero mu league yamatendekero ga University egenda mu maaso wano ggwanga. Omupiira guno gubadde Mbarara era goal za MUBS zitebedwaAdula Aron ne Ninsiima Davis. League eno eya teams e kumi nebiri (12 teams) eddamu…

Read More

Obukiiko bulina okukola

RDC wa Kayunga, Rose Birungi akalatidde abasawo b'ebyalo (Village Health Teams - VHTs) bulijjo okukola egyabatumwa mu ngeri egwanidde mu kawefube w'okutumbula eby'obulamu wano mu ggwanga. Okwogera bwati, abadde abakwasa ba VHTs bano obugali bumanyi gakifuba obuweredde ddala 407 ku kitebe ky'eggombolola e Kayunga. Wano wasinziridde nalaga okutya olw'engeri banayuganda gyebajjumbiddemu enteekateeka ya gavumenti ey'okuwandisa abantu okufuna…

Read More