Poliisi ye Busega eriko omusajja ateberezebwa okubeera omubbi gw’esse.
Ono abadde ku kibinja ky’abanyazi 3 kyokka ng’ababiri beemuludde
Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saigs, atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga James Openge nga mutuuze we Bombo mu distilikiti ye Luweero.
Omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya yewozezaako
Omusawo ono Rosemary Namubiru agamba nti teyagenderera ng’empiso yamusereerako buseerezi
Ono era agambye kkooti nti yeefumita ku kigalo ekisajja bweyali akuba omwana empiso ng’akaaba ate nga bw’asamba
Wabula ono agambye nti ky’atajjukira kwekubeera nti empiso eyali emufumise ate gyeyakuba omwana mu musuwa kubanga ne maama w’omwana teyemulugunya
Namubiru…
Omusajja amaze emyaka 15 ng’amira eddagala eriweweeza ku mukenenya addukidde mu kkooti oluvanyuma lw’okukizuula nti talina bulwadde buno
Zabron Hategeka yekebeza obulwadde bwa siriimu mu mwaka gwa 1999 era ab’akalwaaliro ka Adventist medical Centre nebamutegeeza nti yalina siriimu
Bamusindika mu ddwaliro e Rubaga nayo abamukebera era nebamuteerawo ku ddagala
Wabula mwezi ogw’okubiri mu mwaka guno, omusajja ono yazzeeyo…
Oluvanyuma lw’ababbi okuddamu okutigomya Nansana w'atali, atwala poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira alagiddwa okudda mu ofiisi ng'okumunonyereza ku by’okulya enguzi bwekukyagenda mu maaso.
Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi agamba Kirumira musajja mwooyo ggwanga wabula ng'omusango ogwamutekeebwako munene ddala.
Kaweesi era agambye nti n'omusango ogwogerwaako ssi gwannaggomola nga tegusobola kukozesebwa kumuleka bweru
Kirumira yakwatibwa…
Amyuka loodi meeya wa Kampala Sulaiman Kidandala akirizza nga bweyasisinkanamu ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura e masindi .
Wabula yeesamulira ddala eby’okusaba ssente zonna okulwanyisa loodi meeya Erias Lukwago ng'obutambi bw’amaloboozi bwebugamba .
Agamba amaloboozi gano gajingiriddwa n’ekigendererwa eky’okwonona erinya lye nga ye yali ayogera ku nsonga ndala nyo ne Kayihura okuli embeera eri ku city hall…
Akakiiko akagenda okukulakulanya olubiri lwa ssabasajja kabaka e Mengo lulondeddwa
Omulimu gwaalyo gugenda kubeera gwakuyoyoota lubiri luno kulaba nti lweyagaza ate nga luvaamu n’ensimbi ezidda eri obuganda
Ab’ekisaawe ky’enyonyi bali baasaba dda nti ku kisaawe kino bafuneko akafo okunaagwa enyonyi kyokka nga Buganda yabasaba okubawa obudde okukirowoozaako.
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti akakiiko kano…
Diana Turyanaba aweze okuwangulira Uganda omudaali mu mpaka z’abakyala ez’ebikonde
Turyanaba yoomu ku bawala omukaaga abagenda okukwatira Uganda bendera mu mpaka za babinyweera ezibindabinda
Ono agambye nti ekigendererwa kye kumalaka okutuuka ku luzannya olusemba ekinamufuula omuwanguzi
Gavumenti egamba nti abantu bazze bategeera omugaso gwa yinsuwa
Kino kyeyolekedde ku bantu abazze bafuna yinsuwa ng’obuwumbi 456 bwebwafunibwa okuva ku buwumbi 351 mu mwaka ogwa 2012
Bino biri mua lipoota ekoleddwa ku nsonga za Yinsuwa nga bwezatambula mu mwaka 2013
Akulira ekitongole ky’eggwanga ekitwaala kkampuni za yinsuwa Ibrahim Lubega kaddunabbi agamba nti kino kivudde ku bantu okwongera…
Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku kkampuni za bettingi.
Kkampuni zino zonna kati zakuggulwangawo ssaawa nnya ez’okumakya era ziggale ku nnya ez’ekiro
Akwanaganya poliisi ku Muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa agamba nti ekigendererwa kukuuma mirembe awali kkampuni zino
Ono agamba nti kyo ekikwekweto ekiggala kkampuni zonna eziriwo mu bumenya bw’amateeka kyakugenda mu maaso
Olunaku lwajjo, kkampuni eziwerera ddala munaana zeezagaddwa…
Ba dereeva ba taxi baweze nga bwebatagenda kuva mu paaka enkadde okutuuka nga babafunidde webadda
Abakulira Mustafa Mayambala agamba nti kikakata ku KCCA okubafunira webadda awagazi mu kifo ky’okubaisndika ebweru
Mayambala agamab nti paaka ezoogerwaako ng’eya USAFI ntono nnyo okubamalawo
KCCA yalangiridde nti yakutandika okuddabiriza paaka enkadde mu mwezi gw’omusanvu