Obulwadde bwa kokoolo w’olususu bwongedde okutabukira abali e Bunmgereza nga bwekubisizzaamu emirundu etaao mu myaka 40 egiyise
Abantu omutwaalo gumu mu enkumi ssatu beebalina obulwadde buno okuva ku bantu lukumi mu lunaana ababulna mu myaka gy’esanvu
Abamu bagamba nti kino kivudde ku bantu okumanya ebisingawo ku bulwadde buno nebadukira mangu mu malwaliro
Kokoolo w’olususu yoomu ku kokoolo akulira…
Kampala capital city yakulangirira siteegi za bodaboda ezayiseemu ssabiiti ejja.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju agamba nti mu ngeri yeemu n’amateeka aganatwaala abagoba bano gakufuluma
Kawujju agamba nti ekigendererwa mu kino kutegeka ba bodaboda bano era nga kino kyakubawo nga 28 omwezi guno
Omwaka oguwedde, KCCA yawandiisa piki emitwalo mukaaga nga zino zeezigenda okukolera mu kibuga
Omuwandiisi wa team ya Vipers Fc eyayitibwanga Bunamwaya Haruna Kyobe, ategezezza nga bwebakola ekisoboka okulaba nga baleeta omulambo gwabadde omusawo wa team eno eyafiride mukabenje mu district ye Adjumani olunaku lweggulo.
John Senkumba era nga ye manager womuyimbi Young Mulo yafiride mukabenje motoka gyeyabademu bweyamulemeredde neyefuula negwa ekigwo bwebabadde bagenze okusanyusa abantu be Adjumani
Omuyimbi akabenje wekagwiriddewo…
Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw'omusajja akolezezza nyumba n'atta abaana bana.
Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n'ekigendererwa ky'okunyagulula kyokka ng'omukyala yemuludde n'adduka.
Omusajja ono olulabye bw'ati n'ayokya enyumba era nga takomye awo n'agoba omukyala okukkakkana ng'amutuusizzaako obulabe n'abaana be abalala basatu
Ayogerera poliisi y'omukitundu kino, Lameck Kigozi agamba nti omusajja ono batandise okumuyigga era nga wakuvunaanibwa…
Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi.
Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga.
Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba kino ssikyabwenkanya kubanga kampuni ezilongoosa amata zakubafotola nga zigula amata gaabwe ku…
Ekitongole kya kampala capital city authority kimalirizza enteekateeka z’okuzimba obutale 7 obw'omulembe mu division za Kampala etaano nga era bwakubeera ku mutindo gwakatale ke Wandegeya..
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba omulimu guno kwakuwemmenta obuwumbi 250 nga era abasuubuzi abasoba mu mitwalo 2 bakufuna webakolera.
Agamba ezimu ku nsimbi zino zakugula ettaka okuzimbako obutale e Bukoto, Kitintale,…
Gavumenti eweereddwa amagezi okutendeka ab’obukiiko bwekyalo ab’ebyobulamu abajja okutendeka abalala engeri y’okulwanyisamu omusujja gw’ensiri n’okugwewalamu.
Okusinziira ku Doctor Rose Katushabe owa Miracle clinic e Wandegeya, abantu banji n’okusingira ddala ababeera mu bifo by’enzigotta tebamanyi mugaso gw’okusula mu butimba bw’ensiri kale nga banji bafudde.
Katushabe agamba singa obukiiko buno butendekebwa, bwakuyamba abantu okutendekebwa engeri y’okulwanyisamu omusujja guno.
Malaria atta…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akolokose pulezidenti Museveni olw’ebigambo byeyayogedde ebirengezza ab’oludda oluvuganya gavumenti , ng'abanenya nti bebaviiriddeko ekibuga kampala obutakulakulana.
Besigye agamba ebigambo bino binyomoola abakulembeze abalondeebwa abantu, nga era ayagala palamenti etunule mu nsonga eno kubanga tekikirizika mukulembeze w’eggwanga okweyisa mungeri bwetyo.
Mu ngeri yeemu , Dr Besigye agambye nti yali nsobi…
Omuzanyi wa Cranes ne Vipers fc Yunus Sentamu, wakuwandiisibwa mu kibiina ekikulembera omuzanyo gwomupiira mu Africa ekya CAF week eno okusobola okuzanyira team ye empya eya AS Vita Club eya Democratic Republic of Congo.
Omuwandiisi wa club gyabadde azanyira wano mugwanga Haruna Kyobe bwabadde yakakomawo enkya ya leero okumaliriza emisoso gyonna,ategezezza nga Sentamu bweyatadde ekinkumu kundagaano…
Ente ezisoba mu 1000 zesakalalibwa mu lufula ezenjawulo wano mu kampala ku lunaku lwa Easter .
Omwogezi wa Lufula esinga obunene mu kampala Wilberforce Mutesasira agamba kuluno ente zibadde ntono ezisaliddwa bwogeregeranya ku paasika eziyise.
Agamba kino kivudde ku kyeeya ekimaze ebbanga eddene nga kikunta nekireka nga ente nyingi nga zifudde.