Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebibiina biwandukululwe

Kkooti enkulu mu ggwanga eragidde nti ebibiina ebiwerera ddala kkumi biwandukululwe Ebibiina bino birangibwa butatuuza nkiiko, n’obutalaga gyebijja nsimbi. Akakiiko akalondesa keekaddukira mu kkooti nga kagaala kufuna lukusa luwera bibiina bino Ebibiina ebyogerwaako Action party, bridge party, progressive alliance party, Uganda mandate party, new order democracy, Peoples Independent party, movement for National Redemption party, Reform party n’ebirala.

Read More

Ekidyeeri kibbidde-300 tebalabikako

Ebikumi n’ebikumi by'abantu bakyabuze oluvanyuma lw’ekidyeeri kwebabadde okubbira. Ekidyeeri kino kibaddeko abantu 459 ng'abasinga bayizi. Biri mu ggwanga lya South Korea ng'abayizi bano babadde bava kulambula ku kizinga kye Jeju. Bbo abaddukirize baatandise dda okutuuka mu kifo kino ng'enyonyi zi namunkanga n’emeeri byonna byatuuse dda okutandika okuyigga abo abakyabuze. Amangu ddala ng'akabenje kano nga kaakaggwa, abantu abali eyo mu…

Read More

Aba FDC bagala okuwandiisa abantu kuyimirizibwe

  Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya FDC  abasazeewo okugenda mu kooti nga bawakanya okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu okugenda maaso mu ggwanga. Bano bawakanya ekya ba ssentebe b’ekyalo okuteekebwa ku bukiiko obuwandiisa abantu nga bagamba nti buliwo mu bukyamu era tebwesigika. Bano bagamba nti ebikwatagana ku batuuze tebisaanye kusalibwaawo ba ssentebe ba byalo kubanga  obuvunanyizibwa buno buli mu mikono…

Read More

Buganda ssi yakugoba bantu

Obwakabaka bwa Buganda ssibwakugoba musenze yenna ku ttaka bwalyo obwalidiziddwa gavumenti eyawakati. Oluvanyuma lw’okukwasa obwakabaka ebyapa by’ettaka erimu kwelyo elyali liwambiddwa mu gyenkaaga, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yasabye obwakabaka obutagoba basenze bano ku ttaka lino wabula bateese engeri y’okulikulakulanyamu. Omwogezi w’olukiiko olutwala eby’ettaka mu bwakabaka bwa Buganda Abby Ntambi agamba obwakabaka tebulina kigendererwa kyonna kyakugoba Muntu yenna…

Read More

Omu afudde mu mpaka z’omutolontoko

Omuntu omu afudde oluvanyuma lw'okutondoka n'agwa ng'amaze okudduka emisinde gya London marathon egyabadde e Bungereza olunaku lweggulo. Omusajja atayatuukiriziddwa manya nga aweza egyobukulu 42 abasawo bakakasizza nga bw'afiridde mu dwaliro oluvanyuma lw'okumalako emisinde egy'okwetolola egyakasameeme egyetabiddwamu munayuganda Steven olunaku lweggulo. Alina record yemisinde gino,muna Kenya Wilson Kipsang yeyagiwangudde era nga gyetabiddwamu abantu emitwalo esatu mu kakaaga.

Read More

Nantaba ayimirizza ab’amasanyalaze

Minister omubeezi ow’ebyettaka  Aida Nantaba ayimirizza eby’okugoba abatuuze ku ttaka lye Kayunga  awagenda okuzimbibwa ebbibiro ly'amasanyalaze E Isimba. Kino kiddiridde kkampuni  eyapatanibwa okukola omulimu guno okulagira abatuuze okwamuka ettaka lino yadde nga ebadde tennabaliyirira. Nantaba agamba abatuuze bagende maaso n’okulima okutuusa nga baliyiriddwa. Agamba yasisinkanyemu dda aba kampuni eno eya  china international water and electric cooperation nebakkiriza okuyimiriza…

Read More

Abavubuka bakole nga bakyalina amaani- Kabaka

Ssabasajja kabaka akalaatidde abavubuka okufaayo okukolerera obukadde bwaabwe nga bakyasobola, nga kw'ogasse n’okukulembezanga obuganda mu buli kyebakola. Buno bwebubade obubaka bwa ssabasajja eri obuganda, wakati mukukuza amazaalibwa ge ag'omulundi ogwa 59th. Emikolo emikulu gibadde ku ssomero lye Gombe secondary , era nga gitambulidde ku mulamwa gwa bya njigiriza kko n'eby’obulamu mu baana. Ssabasaja kabaka agambye nti abavubuka basaana…

Read More

Pulezidenti Museveni akunze abantu okwewandiisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozezza enkola ey’okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu ziyite Identity cards President ng'asinzira e Nakasero ,agambye nti enteekateeka eno yakuzingiramu abantu bonna abawezezza emyaka 16, era nga yakubunyisibwa mu Uganda yonna . Ono asabye banna Uganda obuteetulako beetabe mu ntekateeka eno, okusobola okumawo obumulumulu bwonna obubaddewo mu kulonda kko n’emiganyulo emirala. Kinajjukirwa nti…

Read More

Ono tanyumiddwa mukwano woowe

Omusajja enzaalwa ye Itali amanyiddwa nga Romeo asibiddwa lwakuwoggaanira ba neyiba be mu kaseera k’okwesa empiki z’omukwano Omusajja ono alagiddwa okwebaka e Luzira emyezi mukaaga oluvanyuma lwa neyiba be abawerera ddala 12 okwemulugunya Omulamuzi asaze omusango guno amugambye nti ogumusinze gwakunyumirwa nnyo n’atuuka n’okuyingirira eddembe lya banne Omusajja ono agambye nti agenda kujulira

Read More

Akulira poliisi ye Nansana akwatiddwa

Omuduumizi wa polisi ye Nansana Mohammed Kirumira akwatiddwa. Ono  akwatiddwa ku bigambibwa nti yalidde ekyojjamumiro kya mitwalo 20 ezamusindikiddwa ku  mobile money. Wabula Kirumira bino abyegaanye era nga alumiriza nti waliwo  ekibinja ky’ababbi abakolera wamu n’abanene mu polisi okumulwanyisa. Kirumira era agambye nti kino tekigenda kumuyigula ttama ng'ekigendererwa kye kyakumalawo bamenyi b'amateeka naddala abazigu. Wabula ye omwogezi wa polisi…

Read More