Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Owa NRM awangudde e Bubuulo

Munna NRM Rose Masaba Mutonyi ye mubaka we Bubulo ey’obugwanjuba omuggya. Ono yakukumbye obululu  29,135 n'addirirwa munna FDC  Ahumada Wakweya  n’obululu  3270 , eyesimbyewo ku lulwe Joseph Masolo  yafunye 1684 , munna DP Paul Butita n'abuukayo n'obululu 662 olwo  Emma  Mukindwa  n'akwebeera n’obululu  128. Akulira eby’okulonda mu district ye Manafwa  Salim Kizindo agamba okulonda kuno kwabadde kwamazima.

Read More

Bukenya aguluba na gwakubba mukyala wa munne

Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 27 omwezi gw’omukaaga okuwulirirako omusango ogwawaabwa omusajja agamba nti eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yamubbako omukazi Eyawaaba ye Emmanuel Nyababyango ng’alumiriza Bukenya okumubbako mukyala we Margaret Kabasinguzi Omusajja ono agamba nti yawa mukyala we n’amusiba n’empeta kyokka ono yamala n’amwabuulira mu mwaka gwa 2007 aawatali musango Omusajja ono agamba nti Bukenya teyakoma…

Read More

Ono amafuta anywa kendo

Poliisi mu ggwanga lya China eri ku muyiggo gwa mugoba wa nyonyi asimbye ku ssundiro ly’amafuta n’asimba mu lukalala lw’emmotoka ezinywa amafuta Enyonyi eno ebadde entono tepapye erinze ng’emotoka endala era nebagisaamu amafuta Okugiyiwamu nno amafuta tekubadde kwangu ng’assamu amafuta awalampye ku kiwaawo okutuuka ku ttanka Omu ku bakozi ku ssundiro lino agambye nti enyonyi eno ebaddemu abantu…

Read More

Abagoba ba baasi bakaaba

Bannayuganda abavuga baasi ezigenda e Kenya bongedde okukandula ku maloboozi nga bagaala buyambi bwa gavumenti Okuva ssabiiti ewedde nga bagezaako kusisinkana bakulu mu gavumenti kyokka nga bakyalemereddwa Bano nno ssi basanyufu nti gavumenti ya Kenya tebaagala bavuge kiro ate nga babakak n’okwewandiisa mu bibiina by’obwegassi mu ggwanga lya Kenya ekintu kyebatakkiriza Akulira ekibiina ekgatta ba dereeva ba baasi…

Read More

Poliisi yeeyakasinga okutulugunya abantu

Alipoota efulumiziddwa akakiiko ka gavumenti akalwanirira eddembe ly’abantu eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abalala Alipoota eno eraga nti emisnago egyawaabwa poliisi gyava ku 346 mu mwaka gwa 2012 okudda ku misango 424 mu mwaka gwa 2013. Poliisi eddibwaako abantu babulijjo ssekinoomu n’emisango 163 olwo amaggye g’eggwanga negaddako n’emisango 55. Ab’amakomera ne gavumenti z’ebitundu beebaddako awo. Akulira akakiiko kano…

Read More

Lwaki mumenyako bimu- Palamenti etabukidde KCCA

Ababaka ba palamenti olwaleero bakunyizza akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi ku ky’okumenya ebizimbe ebimu ebirala nebisigala. Ababaka okubadde Monica Amoding, Wilfred Niwagaba, Medard Ssegona ne Crispus Ayena bagamba nti mu bikwekweto ebikolebwa mu kibuga tewali bwenkanya nga waliwo abalekebwa ate nga nabo baba bamenya amateeka. Musisi agambye nti tebalina gwebataliza wabula nga tebasobola kumenya byonna mulundi…

Read More

Mukomye okutema emiti

Eggwanga lyolese okwongera okufuna ebibamba ssinga tewaliiwo kikoleddwa kutaasa buttonde bwa nsi. Minisita akola nsonga z’ebibamba, Hillary Onek agamba nti abantu bangi bakyasala emiti egyandikutte ku mbuyaga  kale nga buli lw’ejja eyera buli by’eyitako. Onek agamba nti keekadde abakulembeze ku mitendera gya wansi okukwatizaako gavumenti mu kulwanyisa ebintu ng’amataba n’embuyaga eyera buli kimu Onek bino abyogedde alambula e…

Read More

Emiwendo gy’amasanyalaze gyetaaga kukyuuka buli kaseera

Yadde nga gavumenti yagaana UMEME okwongeza ebbeeyi y’amasanyalaze, yeemu eno egamba nti ebisale bino bijja nga kwongezebwa okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna mu ggwanga Ab’ekitongole ekya ERA bagaana UMEME okwongeza amasanyalaze wabula bongere kukendezaako shs 1. Omwogezi w’ekitongole kino Julius Wandera agamba nti ebisale bino birina okuba nga byongezebwa buli myezi esatu okusinziira ku bintu ng’ebbeeyi y’ebintu, bbeeyi…

Read More

Pistorious yegaanye eby’okusojja muganzi we

Munnabyamizannyo Oscar Pistorius yegaanye ebigambibwa nti yasojja nga muganzi we nti era baalina obutakkaanya Ono abadde addamu ku bubaka bw’essimu obwasindikibwa ku ssimu ye nga muganzi we yemulugunya Ab’oludda oluwaabi baleese obubaka buno okukakasa omulamuzi nti  Pistoriuos ono yali anyiiga mangu ate nga taggwa kwekalakaasa na mmundu Pistorious agamba nti tattangako mukyala we mu bugenderevu ng’amasasi okugamukuba yali…

Read More

Faaza akakoze

Omufaaza abadde agatta abagole mu ggwanga lya Ireland asanyusizza abantu bw’asazeewo okubayimbumu obuyimba ku nkomerero y’omukolo . Bano nno babadde balowooza nti abadde abayimbiramu buyimbizi kumbe abadde atongoza akayimba ke aka Halleluyah akapya Omufaaza ono obwedda ayimba n’obwagaazi bw’amaze yebazizza abantu okubaawo ng’atongoza akayimba ke Kuno kwebayita okuyiiya, tategese kivvulu ate nga n’abantu abafunye okutongoza akayimba ke

Read More