Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi batudde mu Lukiiko okuteesa ku ky'okubagoba mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi.
Kino kiddiridde amakya galeero bano okuva mu mbeera nebediima okusaabaza omuntu yenna nga bawakanya ekya KCCA okubasindikiriza okuva mu paaka enkadde.
KCCA yajjuludde siteegi 16 ezikwata ku lw’entebbe okudda mu paaka ya Usafi .
Ku bano kuliko…
Badiifiri ba liigi y’eggwanga baweze obutaddamu kulamula mupiira gwonna okutuusa nga basasuddwa ensako yaabwe.
Bano bemulugunya nga bwebatanafuna ssente zaabwe mu luzanya olwasooka n’olw’okubiri olutandise kale nga kyebazzaako kwe kwediima.
Bano balabudde abaddukanya omupiira mu ggwanga okubasasula ssente zaabwe oba ssi kyo emipiira egisigaddeyo ssi bakugiramula.
Omutendesi wa tiimu ya Volley ball eya Ndejje University aweze nga tiimu ye bw’erina obukakafu nti yakutuuka ku mpaka eziddirira eza kamalirizo mu mpaka aza Volleyball w’abakyala ezigenda okubeera mu Tunisia
Jonathan Kawenyera agamba nti yadde abaana be bato, yesiga abazannyi basatu b’akakasa nti bajja kuyimirizaawo tiimu.
Aba Ndejje bakusitula owkolekera Tunisia olw’okubiri okwetaba mu mpaka ezitandika…
Poliisi etandise okunonyereza ku mirambo ebiri egizuuliddwa wakati mu kibuga enkya ya leero.
Abasajja bano bombi emirambo gyaabwe gisangiddwa ku kibangirizi kya Clock Tower era nga kitebeerezebwa nti babadde basaabaze ababadde bagenda okulinnya taxi mu paaka ya USAFI
Emirambo gino zeezimu ku nsonga ezivuddeko aba taxi okukeera okwekalakaasa nga bagamba nti eby’okwerinda okwetoloola paaka ya USAFi ssi…
Abakulira okulwanyisa envuba embi ku kitundu kye Mukono baliko abantu babiri bebakutte nga banno basangiddwa nga batambuza obweyanja obuto.
Abakwate kuliko Robert Kabalebe nga muvubi ku mwalo e Katosi ne Brian Mayanja nga muvuzi wa bodaboda.
Bonna batuuze be Kasanje.
Akulira ebikwekweto by'okulwanyisa envuba embi mu disitulikti eno ttaano James Kitaaka ategezezza nti yadde bafubye okusomesa abavubi akabi…
Poliisi eriko abavubuka 2 beekutte nga bano bavunaanibwa kukakkana ku Namukadde atemera mu gyobukulu 80 nebamusobyako .
Deziranta Nairuba omutuze we Namulanda mu gombolola ye Bukolooto kakano yali mu kujanjabwa ,oluvanyuma lw'abavubuka abatannaba kukakasibwa muwendo okumukwata ekirindi
Ayogerera poliisi mu bitundu bino Lameck Kigozi atubuulide nti bano abakwatiddwa era nga bagenda kuyambako police mu kunonyereza .
Bannanyini bifo biwugirwaamu n’embalama z’enyanja basabiddwa okufuba okulaba nti bassaawo abaddukirira abantu ssinga omuntu yenna abbira
Kino kiddiridde omuwendo gw’abantu ababbira okweyongera naddala ku mbalama z'enyanja
Amyuka ekulira poliisi enziinyamooto, Hasan Kihanda agamba nti kino ate kikulu nnyo ku baana abawugira mu bidiba by’abakulu
Abasajja basatu abagambibwa okutta omuyizi wa siniya y’okuna n’obubbi basibiddwa emyaka 28
Sgt. Noah Tumwesigye nga mujaasi mu barracks ye Mbuya n’omutembeeyi Fred Ssekandi basibiddwa emyaka 28.
Yye omulala gwebavunaanibwa naye ng’ono mugoba wa piki ku siteegi ye Nabugabo asibiddwa emyaka 32
Abasatu bano kigambibwa okuba nti batta William Muhumuza eyali omuyizi ku ssomero lya Cream Land Secondary…
Munna NRM Peter Ssematimba akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwa butaba na buyigirize bumala kwesimbawo ku bwa meeya
Omu ku beyesimbawo naye mu kamyuufu ka NRM Mohammed Kasule y’amuwawaabidde
Ono agamba nti Ssematimba empappula z’alina tezitegerekeka kyokka nga nebw’ozigatta zonna zivaamu diploma ate nga nayo tetegerekeka
Ono era agamba nti ekibiina kyamumma ebyaali bivudde mu bifo byonna ebirondebwaamu
Kasule ayagala…
Minista omubeezi akola ku byobulamu Ellioda Tumwesigye akyaddeko ku ddwaliro e Mulago mu ngeri buli omu gy’abadde tasuubira
Tumwesigye abadde ava e Kyankwanzi agambye nti abadde ayagala kulaba mirimu bwegitambula n’okulaba oba eddwaliro liri mu mbeera nnungi
Ono nno eno gy’agwiridde ku mukyala abadde yakazaala abalongo abatannaba kutuuka naye ng’abaana be babadde tebasobola kussibwa mu kyuuma ekikuza…