Abayizi abawerera ddala 20 beebafumitiddwa ebiso mu ssomero lya sinita mu kibuga Pennyslvania ekya America
Kigambibwa okuba nti omu ku bayizi y’alumbye bayizi banne n’atandika okubafumita ebiso omu ku omu era ng’ono amaze okukwatibwa
Abayizi abafumitiddwa balina ebiwundu bya maanyi ng’abalumbiddwa bali wakati w’emyaka 14 okutuuka ku 17
Essomero lino liggaddwa nga poliisi bw’ekola okunonyereza
Omwana omuwala eyatwaala embizzi ye ku ssomero gy’asomero okugiwonya ekiwuubaalo ewaka kimuweddeko bw’asanze ng’ab’essomero bagisaze
Omuwala ono agamba nti ekyamutwaaza ensolo ye ku ssomero kuzannya n’endala ezibeerayo era nga yali tamanyi nti bayinza okugisala
Wabula bbo ab’essomero bagamba nti embizzi eno ebadde erwaana nnyo nga yagezaako n’okuluma omwana olumu
Abasabaaze mu ggaali y’omukka basattidde bwebalabye emmese ng’etambula nabo
Eggaali eno ebadde mu kibuga Newyork ng’edda mu Manhattan ng ‘omu ku basaabaze y’asoose okulaba emmese eno era mu kuwoggana abalala badduse.
abandi obwedda tebamanyi kiguddewo naye nga baddukira mu nkuubo za ggaali y’omukka eno
Eggwanga lya Kenya liwemukidde aba somaali nerigoba abawerera ddala 82 oluvanyuma lw’okutongoza ekikwekwero ekigoba abayingira mu ggwanga lino mu bukyaamu
Abagobeddwa bonna baali bayingira eggwanga mu bukyaamu
Bbo abali mu 4000 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu kibuga kya Kenya ekikulu Nairobi yadde nga poliisi egamba nti abakyaali mu mikono gyaabwe bali 447.
Bannalukalala enzaalwa ye Kenya bakoze obulumbaganyi…
Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw'okugezaako okulmesa poliisi okusengula abasuubuzi ababadde bakolera kumpi n’essundiro ly;amafuta erya Petro city e Nateete .
Amakya ga leero bawanyondo bakooti nga bayambibwaako poliisi basengudde obuyumba bw'abasuubuzi bano oluvanyuma lwa nanyini taka lino atannaba kutegerekeka okuweebwa ekiragiro kya kkooti ekiragira nti basengulwe
Akulira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agamba nti bbo bakolera ku…
Poliiisi kyaddaaki evuddemu omwaasi ku bibadde biyitingana nti erina enteekateeka z’okukwata mukyala Jackline Mbabazi
Wabaddewo ebitandise okuyitingana nga mukyala wa ssabaminista Amama Mbabazi bw’agenda okukwatibwa anyonyole ku bigambo by’azze eyogera nti gen Kale Kaihura akozesebwa okuggula ebisangosango ku bavuganya gavumenti
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga agamba nti luno lugambo bugambo era nga bigendereddwa kusaaba poliisi ttosi
Ono anyonyodde…
Ensimbi ezisoba mu bukadde 35 zezakasondebwa abatuuze be Gombolola ye Kasanje mu Busiro , mu kawefebe wa Katikiro owokusonda ensmbi z’amasiro ge Kasubi.
Abantu ba Ssabasajja abe Kasanje era bawaddeyo magulu kummi z’omusanyu ezatuuse edda mu Bulange.
Ssentebe wa Kasubi Masiro Gwanga mujje Freeman Kiyimba agambye nti okusonda ku kaygenda mu maaso era nga basubira ensimbi okweyongera.
Ono…
Poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka etongozezza ekikwekweto ku bantu abavuga nga tebalina driving permit
Ekikwekweto kino kigendereddwaamu kukendeeza ku bubenje okuva ku ba dereeva abavugisa ekimama nga n’abandi tebalina bisanyiizo
Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Norman Musinga agamba nti bategese okukwata ba dereeva bonna naddala abavuga emmotoka z’olukale abazza emisango nebasenguka nga bakutta permit zaabwe
Ekikwekweto kino…
Embwa zimanyiddwa nnyo okwagala okulya kyokka nga ziboola mu zebirya.
Naye obadde okimanyi nti waliyo embwa eyefumbidde emmere yaayo.
Kati bangi balowooza balimba.
Embwa eno ya mu America ng’olumaze okufumba n’etuula ku dining bulungi n’ekwata fooko n’akambe n’etandika okulya
Embwa eno teyerabidde kwessaako kagoye okwewala okwetonnyeza
Olutambi olulaga embwa nga yejaga kati lutunda nga keeki…
Bannayuganda abakubi b’ebikonde abetegekera empaka za common wealth games ssi basanyuf olw’obutafuna buyambi bwonna okuva mu kibiina ky’eggwanga ekikola ku bikonde
Abagunzi b’engumi zino abaatatuukirizza mannya gaabwe bagamba nti mu nkambi gyebakubye e Lugogo tebalina na byakulya nga basiibirira bikajjo
Bano batuuse n’okukaluubirirwa okutendeka buli lunaku kubanga tebalina nsimbi zibatambuza
Bbo ab’ekibiina eky’ebikonde bino byonna babiwakanyizza