Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi bavudde mu mbeera olw’omugotteko ogusukiridde.
Olunaku olw’eggulo aba KCCA basazeewo okusengula siteegi ezikwata ku lw’entebbe okusobola okukendeeza ku mujjuzo mu paaka eno.
Wabula aba taxi bano bemulugunya nti paaka eno nfunda nyo nga taxi emu kigitwalira ebbanga okugiyingira okutikka abasaabaze.
Mu ngeri yeemu n'emiryango tegimala ekivuddeko omugotteko.
Omwogezi wa KCCA Peter…
Emirimu egimu gisanyaladde mu ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’abayizi abasoma obusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bayambako mu kujanjaba mu ddwaliro lino, okwediima lwabutasaulwa musaala kati giweze emyeezi 2.
Bano kati basazeewo kudda ku byaabwe mu bisulo byaabwe era bekolera gyaabwe.
Omwogezi w’eddwaliro Mulago hospital Enock Kusaasira akakasizza nga ddala bwewaliwo ekizibu kino naye nga…
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bakyalina ensonyi ku biki ebyatuuka mu ggwanga lya Rwanda emyaka 20 emabega.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Ban Ki Moon agamba nti bakywulira bubi nti tebalina kyebaakola kutangira kitta bantu kino.
Bino abyogeredde ku mukolo gw’okukungubagira abantu abattibwa mu kitta bantu mu ggwanga lya Rwanda
Abantu abazze mu kukungubaga bangi bagamba nti bazze baguma yadde abamu tebasigaza…
Ebizuuliddwa mu ddwaliro e Mulago byenyamiza.
Obadde okimanyi nti ebyaalo bibiri biramba ebiriraanye Mulago biri ku mazzi g’eddwaliro
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu nga bakulembeddwaamu Kenneth Omona bagamba nti amaka mangi gatambulira ku mazzi ge Mulago.
Omu ku baddukanya eddwaliro lino, David Nuwagaba agamba nti bakyanoonyereza okulaba engeri kino gyekyatandikamu
Mu ngeri yeemu, era ababaka bazudde nti…
Abali mu byobusuubuzi bagenda mu maaso n’okuyiiya okulaba nti bawereeza abantu baabwe obulungi
Aba Mukwano industries kati nno tebasigadde mabega nga bakoze ennongosereza mu ssabuuni wa Meditex medicated soap.
Ssabbuuni ono ng’atta obuwuka, kati agenda kusobola okuvuganya ne sabbuuni omulala okuva mu mawanga ga Rwanda, Kenya, Tanzania, South Sudan ne Democratic Republic of Congo.
Omu ku bakulu mu…
Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti emisango gy’okusobya abaana gyeyongedde
Alipoota ey’omwaka oguwedde eraga nti okweyongera kuno kwa bitundu 18.4 ku kikumi
Bwegutuuse ku kuvvoola eddembe ly’abaana, wabaddewo okweyongera ddala nga kutuuse ku bitundu 38 kikumi.
Obukubagano mu maka nabwo bwaali bungi ddala nga bwalinnya n’ebitundu 18.4 ku kikumi okusingako omwaka guli
Bbo abantu bakyatwalira amateeka mu ngalo era nga…
Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agamba nti eky’abavuganya ne bannakyeewa okusaba enkyuukakyuuka mu mateeka g’eby’okulonda tekisobola kumubuza tulo
Abavuganya babadde batambula eggwanga nga basaba nti wabeewo enkyuukakyuuka mu mateeka g’ebyokulonda nga muno mwemuli okugoba akulira akakiiko
Kiggundu agamba nti abavuganya baddembe okusaba byebagaala naye nga palamenti y’asazeewo ekyenkomeredde.
Kiggundu azzeemu okukikkatiriza nti baweereza awatali kyekubiira kyokka nga…
Bannamateeka wansi w’ekibiina ekibagatta bongedde okutabuka ku ky’okubulawo ssabalamuzi akakasiddwa.
Kati mwaka mulamba ng’eggwanga teririna ssabalamuzi oluvanyuma lw’ekisanja kya Ben Odoki okuggwaako
Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira bannamateeka Ruth Ssebatindira agambye nti kino kikosezza nnyo emirimu gy’ekitongole ekiramuzi
Ssebatindira agamba nti bagenda kwekubira enduulu eri pulezidenti ku nsonga eno era nga ssinga bigaana, tewali kulonzalonza bakwekalakaasa
Omwana omuwala eyasalako enviiri ze okulaga obuwagizi ku lutalo lwa kokoolo ayolese okubonerezebwa ku ssomero gy'asomera.
Omwana ono alagiddwa mu bwangu okwambala enviiri z'ekimpatiira
Jees Vine nga wa myaka 15 yasalako enviiri ze ezaali empanvu oluvanyuma lwa jjajja we okufa kokoolo
Maama w'omwana ono agamba nti omwana we bamugaanye okudda ku ssomero ng'alina akawalaata
Omukyala abadde avuga emmotoka okuyita mu miti kimuweddeko, ekinyonyi bwekiyise mu ndabirwaamu nekiwummulira mu siteliingi
Omukyala ono abadde ayita mu ssaza kye Adam ng’ava mu kibuga Colorada.
Omukyala ono awogganidde waggulu mu kutya ate nga kyo ekinyonyi kino yadde kifunyeeko obuvune naye tekifudde