Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Empaka z’amasomero

Empaka z'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za Copa Coca cola kwakomekkerezeddwa  olunaku lw'eggulo mu bitundu bye Wakiso wamu ne Kampala. E’wakiso,St Julian bakubye Stardard High goal 8-7 mu kakodyo ka penalties oluvanyuma lw'okulemagana nga teri ateebye munne, okuwangula ekikopo kino. Kati St Junian yakwegatiddwako Standard High,St Marys Kitende ne Budo ss nga zeezigenda okukiikirira Wakiso. E’Kampala,Kibuli yawutudde Kawempe muslim ss…

Read More

Bulange Plaza yakuzimbibwa

Obwakabaka bwa Buganda bukakasiza ng’omulimu gw'okuzimba ekizibe kya Bulange Plaza bwegutandika essaawa yona. Abantu ba Sssabasajja batandise dda okuleeta ebikozesebwa mu kuzimba era nga basoose bebe Kasanja, baleese magulu kkumi z’omusenyu. Ssentebe w’akakiiko ka Kasubi Masiro Gggwanga Mujje freeman Kiyimba agambye nti omulimu guno gusuubirwa okuggwa mu bbanga lya mwezi 6 okuva kati. Kiyimba agambye nti balinda Katikiro…

Read More

Lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna

Leero lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna. Olunaku luno lukuzibwa buli nga 7 omwezi gw’okuna okujjukira olunaku ekibiina ky’ensi yonna lwekyatandikibwaawo mu mwaka gwa 1948 Buli mwaka gubeera n’omulamwa naye nga ku luno gwassiddwa ku ndwadde eziva ku biwuka ebaba birumye omuntu Obulwadde buno businga mu Uganda era nga obwakasinga okutta abantu musujja gwa nsiri Mu mwaka 2010, abantu…

Read More

Amannyo amalungi buwanguzi

Abasawo b’amannyo bagamba nti abaddusi b’emisinde abakuuma amannyo gaabwe nga malamu bulungi bongera emikisa gyaabwe egy’okuwangula empaka zebetabamu Mu Lukiiko lwa bannabyamizannyo olw’ebyobulamu olwabaddewo mu kibuga Londo, abasawo bagambte nti amaanyo amalamu gakola kyamaanyi ku bulamu bwa bannabyamizannyo naddala abaddusi Abasawo bano bagambye nti ebbanga wakati w’okuwangula n’okuwangulwa ttono nnyo nga buli kantu akayamba bannabyamizannyo bandibadde bakassaako…

Read More

Bannayuganda bangi banyigirizibwa ku bwongo

Abanonyereza mu Uganda bagamba nti okunyikirizibwa ku bwongo buzze kweyongera era nga gavumenti ekeekadde efe ku buzibu buno. Omukugu okuva ku John Paul II Justice and Peace Centre Kamilla Krygieragamba nti ebizibu mu bannayuganda byeyongera buli lukya mu bulamu bwa bulijjo n’enfuna yaabwe nga kino kyekivuddeko okunyigirizibwa oba okulowooza ennyo. Kino akitadde ku bwavu n’ebbula ly’emirimu ng’abantu…

Read More

Amasasi gabakubye mu butanwa

  Abavubuka 2 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lwokukubwa amasasi agawabye poliisi bwebadde egezaako okukwata omubbi wa kompyuta yomungalo ey’ekika kya ekika kya laptop. Mark Mujabi ne  Ramathan Werikhe beebalumiziddwa nga batuuze bomu Kito e  Bweyogerere. Ababiri bano bategeezezza nga amasasi bwegabakutte bwebabadde bazannya puulu mu baala emu wali mu kito. Okunonyereza kukyagenda maaso ku…

Read More

Omukazi ayokezza muggya we ow’olubuto

Poliisi e  Katwe ekutte omukazi eyayokezza mujjawe ow’olubuto n'amutta ng'akozesa petulooli. Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agamba  Aisha Nassali  nga mutuuze wali e  Sembuule Wankulukuku  yefudde omugenyi ewa Muggya we olwo n'amuyiira petulooli . Ebyembi, omukyala ono omuliro gwamutwaliddemu nga naye yayidde mu maaso. Saiga agamba nti nga bamaze okufuna olugambo nti muggya w'omukyala ono y'amusse ate…

Read More

Amataba gabalese bemagazza

  Abatuuze bokukyalo  Lubuga wano e Kibuli gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwa namutikkwa wenkuba afudembye mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero okuleka nga etikudde obusolya obusinga nga n’empya ezisinga nga zanjadde amazzi. Abamu ku batuuze betwogedde nabo obuzibu babutadde ku myaala egyazibikira nga kati basaba ab’ekitongole ekitwala ekibuga ekya KCCA okubaako nekyekikola nga sizoni y'enkuba ekyagenda maaso.

Read More

Uganda efiirwa buwumbi mu bubbi

Kizuliddwa nga Uganda bwefiirwa obuwumbi obuli eyo mu 500 buli mwaka olw'ababalirizi b’ebitabo mu makampuni agenjawulo okukyanga ebitabo. Okusinziira ku akulira ettendekero ly’ababalirizi b’ebitabo mu ggwanga  Timothy Etoori, amancoolo gano era gafiiriza amakampuni ssente eziweza 5 ku kikumi. Bw'abadde ayogerera mu lukungaana lwa banamawulire nga yetegekera olukungaana lwababazi b’ebitabo wiiki ejja, Etoori agambye nti okubulankanya ssente kuli…

Read More