Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ono kimuwedde

Omusajja abadde agenze okulya lanki ne muganzi we kimuweddeko okudda ng’emmotoka mwebatambulira eri mu mwaala ebulirayo Tomos Wiliams emmotoka abadde agisimbye okumpi n’omwaala olwo n’agenda okulya emmere. Ebyembi nti emmotoka eno ebadde ya mulimu era amameeme gatandise okumukuba ne laavu n’emuggwaako. Tekinnategerekeka oba emmotoka eno abadde gisimbye bubi oba waliwo owe ttima eisindiseewo kubanga w’abadde wabaddewo emmotoka endala…

Read More

Eyatta mukyala we gatandise okumumyuuka

Omusajja agambibwa okutta mukyala we nga bali ku hanemuunu asindikiddwa mu ddwaliro ly’abatabufu b’emitwe mu ggwanga lya South Africa. Shrien Dewani, ow’emyaka 34 alabiseeko mu kkooti enkulu ku by’okutta mukyala we ow’emyaka 28  ng’ono yamukuba masasi mu kibuga Capetown. Omusajja ono enzaala ya Bungereza yegaana ebigambo bino Ono yatwaliddwa mu ggwanga lya South Africa gyeyaddiza emisango ng’eno emaze…

Read More

Mulwanyise obusaanyi- temulinda gavumenti

Abalimi mu disitulikiti ye Kalungu basabiddwa okwekolamu omulimu okulwanyisa obusaanyi obwabalumba mu kifo ky’okulindirira gavumenti Obusaanyi obwogerwaako bwalumbye nnimiro eziwera mu district eno nga buno bulya buli kyakiragala Omubaka ow’ebimu ku bitundu ebikoseddwa, Gonzaga Ssewungu agamba nti abalimi keekadde batereke nga ensimbi z’okukozesa okufuuyira obusaanyi buno.

Read More

Abalamuzi tebamala

Ekitongole ekiramuzi kikyatoba n’entuumu y’emisango ng’obuzibu buvudde ku bakozi batono okwetoloola disitulikiti zonna Omuwandiisi omukulu ow’ekitongole ekiramuzi, Paul Gadenya ategeezezza ababaka ba palamenti nti abalamuzi batono nnyo mu kooti za wansi kale nga kibakalubirira okukola ku misango mu budde Gadenya agambye nti mu ggwanga lyonna mulimu abalamuzi abakulu aba kkooti ento bali 50 bokka nga bano beebakola…

Read More

Abasuubuzi mu USAFI bacacanca

Ng’aba taxi bakaaba USAFI ate bbo abasuubuzi bazina gudikudde Kampala capital city authority olunaku lwajjo yasengudde siteegi za taxi 16 mu kawefube w’okukendeeza ku mujjuzo mu paaka enkadde Abataxi kino akivumiridde era nga n’olwaleero batabuse olw’akanyigo nga teri makubo ekyongedde okubakalubuliza emirimu Ezimu ku siteegi ezasenguddwa kuliko , Makindye, Kasanga, Kawuku, Namulanda stages n’endala nyingi Bano wabula nga bakaaba…

Read More

Omuyizi yetugidde mu kabuyonjo

Abasomesa n’abayizi ku ssomero lya Mandela secondary school e Kyabakuza Masaka bakyaali mu kutya oluvanyuma lw’okusanga omuyizi wa siniya ey’okubiri nga yeetugidde mu kabuyonjo. Omuwala ono ategerekese nga Esther Nakaggwa kigambibwa nti kino akikoze oluvanyuma lw’okuzuula nti abadde ali lubuto Kigambibwa okuba ng’omwana ono omusajja eyamufunisizza olubuto wa bodaboda ate nga yamaze n’amwegaana Omuwala ono kiteberezebwa nti okwetta…

Read More

Abalema bafunye ku ssuubi- ekyuuma kikiino

Mu ggwanga lya Bungereza, kati omuntu waddeembe okugenda ku ddwaliro n’agula akuuma akokozesebwa okukebera Mukenenya Etteeka eribadde ligaana kino likyuusiddwaamu nga kati abantu bajja kusobola okwekeberera ewaka nga bw’olaba ku mbuto. Kino kigendereddwaamu kuyamba abantu abali mu mitwaala ebiri n’ekitundu mu ggwanga lya Bungereza abatamanyi bwebayimiridde ku nsonga za mukenenya.

Read More

Etteeka ku siriimu teryetaagisa

Abali mu mulimu gw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya basabye ababaka ba palamenti okwongera okwetegereza etteeka erikwata ku siriimu nga tebannalowooza kuliyisa. Bano wansi w’ekibiina kya UGANET bagamba nti obuwayiiro obumu mu tteeka lino bugenda kuzza Uganda emabega ku bulwadde bw amukenenya Bano amakanda bagasimbye ku kawaayiro akawa abasawo abbeetu okwogera abakeberebwa nekizuulibwa nti balwadde kajja kukugira bangi okwekebeza…

Read More

Okujingirira ebiwandiiko bya Mukenenya

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kavumiridde eby’okuguza abantu ebiwandiiko ebiraga nti tebalina mukenenya Okunonyereza okwakolebwa aba BBC kwalaga nti bannayuganda bangi  abasaba emirimu ebweru oba nga bagenda okufumbirwa bagula ebiwandiiko ebitali byaabwe Ssentebe w’akakiiko ka mukenenya, Propf Vinand Natulya agamba nti ebikolwa nga bino byolese okuwanika omuwendo gw’abantu abalina mukenenya Ono agamba nti ebikolwa nga bino era…

Read More

Ogwa Lukwago gwa lwa kutaano luno

Kkooti ey'okuntikko mu ggwanga kyaddaaki etaddewo olunaku okunawulirwa okujulira okwakolebwa loodimeeya Erias Lukwago. Abalamuzi abataano aba kkooti eno nga bakulirwa Bart Katureebe nga 11th omwezi guno bakutandika okuwulira okusaba okwakolebwa Lukwago  ng'awakanya ebyasalibwaawo omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu Steven Kavuma Lukwago ayagala kkkooti eno okusazaamu ebyasalibwaawo kooti eno nga bimugoba mu ofiisi oluvanyuma lw'essaawa ntono ng'azzeemu okukola emirimu. Ayagala…

Read More