Mu Amerika waliwo omuwala akoze ekitakoleka.
Ono yabbye emmundu n'agikweka e buziba.
Oluvanyuma lw’okuzza emisango egy'enjawulo omuwala ono ategerekese nga Archer yatwaliddwa mu kkomera asibwe.
Wabula abakuuma ekkomera bwebabadde bamwaza bagenze okuwulira nga balinga abakwata ku kintu ekikaluba mu sikaati.
Ono bamututte emanju era bagenze okumwaza obulungi nga emmundu agikwese mu bitundu bye eby’ekyama.
Kati oyo bw'ataba naluwali aba ani,…
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti bongezezzayo okuteesa ku mbalirira y’ekitongole kya KCCA.
Kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okulabikako maaso g’akakiiko kano awatali ba meeya ba zi division etaano ezikola kampala.
Ababaka okuli Latif Ssebaggala bagamba nti abakulembeze ba Kampala bonna balina okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ku mbalirira eno okusobola okutambula obulungi…
Minisitule y’ebyenjigiriza ekalambidde nti ensimbi ezigenda okuwolebwa abayizi okweyongerayo okusoma ssizabwerere.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yatongozza enkola eno olunaku olw’egulo yatandise enkola eno n’ekigendererwa eky’okuyamba abaana abava mu maka amankusere okweyongeraro okusoma mu matendekero agawagulu.
Wansi w’enkola eno eno abayizi bakusasula ssente zino mu mwaka gumu nga bamaze okufuna emirimu.
Minister omubeezi ow’amatendekero agawagulu , J.C Muyingo agamba…
Emirimu gisanyaladde mu kisenyi oluvanyuma lwabawanyondo bakooti okukeera okumenya obuyumba bwonna obwazimbibwa kumpi n’oluguudo mu kitundu kino.
Kino kiddiridde omusango ogwawaabwa omusuubuzi John Bosco muwonge olwo kooti neragira obuyumba buno bumenyebwe.
Twogeddeko n’omu ku bawanyondo bano nategeeza nga buli awakanya kino bwali ow’eddembe okugenda mu kooti.
Gwo omulimu gw’okumenya obuyumba bwonna gukomekerezeddwa.
Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusujja gw’ensiri, minisitule y’ebyobulamu efunvubidde okulwanyisa omusujja guno okugumala mu ggwanga.
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba oluvanyuma lw’okumaliriza okugaba obutimba bw’ensiri okwetolola eggwanga, kati bakubaga entekateka endala akana ne kawefube omulala okulwanyisa obulwadde buno.
okusinziira ku bwino gwebalina, malaria akola ebitundu 50% ku balwadde abajanjabibwa nga bava…
Empaka z'omuzannyo gwa pool table eza National Open zitongozeddwa olunaku lwa leero mu kampala.
Empaka z'omwaka guno zakwetabwaamu abazanyi omutwalo gumu n'ekitundu okuva mu bitundu byegwanga amakumi anna nga zakutandika enaku 'zomwezi 9th omwezi ogujja okutuuka nga 30th omwezi gw'omunaana.
Company ya Nile breweries etaddemu ensimbi akawumbi kamu mu obukadde 100 omwaka guno era omuwanguzi wakwewangulira emotoka…
KKampuni ya Airtel etongozezza empaka zabamusaayi muto eza Airtel Rising stars olunaku lwa leero wano mu kampala.
Empaka zino zigenderedwamu kutumbula bitone byabamusaayi muto okuva ku myaka 12 okutuuka ku 18 mubalenzi nabawala mubitundu byegwanga ebyenjawulo.
Empaka zino zitandika nga 9th omwezi ogujja okutuuka nga 25th June era teams biri eyabalenzi nabawala zakulwondebwako okukikirira Uganda muzakamalirizo ezigenda okubeera e…
Okunywa giraasi z’omwenge ezisukka mu ssatu aba awanika emikisa gye egy’okugejjulukuka
Kino bw’okubisaamu wiiki kitegeeza nti omuntu aba yeeyongerako gulaamuzi 900
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu emitwalo 2,042
Kino kiva ku nsonga nti abantu abanywa omwenge bagaala nnyo okulya ate nga balya mmere nkolerere
Wabula ate abakugu abalala bagamba nti okunonyereza kuno kwatambulidde ku bulamu bw abantu sso ssi…
Olukiiko lwa baminista lusemberedde okuyisaamu ekiteeso ekinasobozesa eddwaliro lya kokoolo okwetongola
Eddwaliro lino eryatondebwaamu mu mwaka gwa 1967 bulijjo litambulira wansi w’eddwaliro ekkulu erye Mulago
Omwogezi wa gavumenti Rose namayanja agamba nti kino kijja kuyamba eddwaliro lino okufuna ensimbi eziwerako okuyambako
Namayanja era nga omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa kokoolo gweyongedde kale nga y’ensonga lwaki eddwaliro lino lyetaagamu…
Abaana abasoba mu 150 abalina obulwadde bw’omutima beebagenda okufuna obujjanjabi.
Aba’eddwaliro ly’omutima e Mulago beebakwataganye ne banna Rotary okuyamba abaana bano ng’ebimu ku bikujjuko by’okukuza emyaka etaano bukyanga ddwaliro lino litandika.
Amyuka akulira eddwaliro lye mitima Dr Peter Lwabi agamba nti abaana bano bakulongosebwa abasawo bannayuganda abaatendekebwa abasawo abazungu mu nkambi eyasooka
Ono wabula agamba nti nga bakuza…