Ministry y’ebyobulamu etandise ku ddimu lw’okulwanyisa embeera ezivaako abaana okufa nga tebannaweza myaka 5
Mu kadde kano buli baana 1000 abazaalibwa 90 ku bbo bafa nga tebannaweza myaka etaano.
Akulira ebyobulamu abya wamu mu ministry y’ebyobulamu Dr Jane Acheng agamba nti bagaala wakiri omuwendo guno gukendeere okutuuka ku 56
Amaanyi bagenda kugassa mu kulwnayisa ezisinga okutta abaana okuli…
Ettendekero ekkulu erye makerere ligaddwa.
Sentebe w’akakiiko akafuga ettendekero lino Charles Wana Etyem yalangiridde kino oluvanyuma lw’akafubo abakulu kebabaddemu olwaleero.
Bano babadde basisinkanyemu okutema empenda ku kyabasomesa be ttendekero lino okwagala okwongezebwa omusaala 100%.
Kino wekijidde nga abayizi bateekateeka kweyanjula ku ttendekero lino mu lusoma olupya nga 17 omwezi guno, nga lwe lw’omukaaga luno.
Obadde okimanyi nti abakola amakarenda agatali gamu mu china bagulirira amadagala gaabwe okutuuka ku katale
KKampuni zino ezikola amakerenda zisasula abanene mu gavumenti ya China ebintu byaabwe nebiyitawo nga teri abikubye ku mukono.
Wabula yadde amawulire gano gafulumye, teriiyo kkampuni eyatuddwa kukola kino nga gavumentie gamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.
Bino bizze nga eggwnaga lya China linonyereza…
Abakugu bakizudde nti okulaga omuntu ekifananyi ky’omuntu gw’aludde okulaba kisobola okuyamba okutegeera oba omuntu alina obulwadde bw’okwerabira .
Abazudde kino beebannasayansi mu ggwanga lya America abagamba nti kino kiyinza okuyamba okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafuna obuzibu ku bwongo omuli okwerabira n’obutategeera mangu bintu.
Yadde embeera eno bw’etuuka ku Muntu tewona, abasawo bagamba nti ssinga kimanyika nga bukyaali…
Abakyala abakubwa eddagala ly’ebisa bali mu bulabe owb’okuzaala abaana abakosebwa ku bwongo mu bukulu
Kino kisinga kubaawo ssinga omwana azaaliddwa aba mulenzi.
Abaana abali mu mitwaalo 60 beebekenenyezeddwa okuzuula bino
Bannasayansi wabula bagamba nti bakugenda mu maaso nga banonyereza okuzuula lwaki kino tekitera kukosa bawala.
Abasawo bangi bagamba nti okuwa abakyala eddagala ly’ebisa tekiliimu bulabe kubanga emirundi egisinga kikolebwa…
Ministry y‘ebyobulamu etandise okugaba obutimba bwensiri eri abakyala abali embuto.
Mu kadde kano bali mu buvanjuba nga bali Budiope mu district ye Kamuli
Omubaka omukyala owa district eno, Veronica Babirye Kadogo agambye nti abakyala bonna abali embuto bakufuna ku butimba buno okulaba nti tebafuna musujja gwa nsiri.
Ono nno era akunze abakyala okwewala okukozesa obuti,ba buno obubi kubanga…
Omukyala eyatuuma omwana we amanya ga Yesu bamulagidde agamuggyeko.
Kooti mu gwganga lya Kenya etegeezezza ng'erinnya lino bweriri erya Yesu yekka nga kiba kikyamu okuliwa omulala
Abayiiya ensi eno tebaggwaawo.
Omugagga ayiyizza n'azimba ekifo ekikyakalirwamu ku ntikko y'ekizimbe
Ekizimbe kweyatadde ekifo kye kya myaliiro 23
Poliisi wabula emulabudde mu bwnagu okujjawo ekifo kye mu bwnagu kubanga kimenya ateeka
Akafo akatunda ka chai mu ggwnaga lya Taiwan kaleese kaawa ng'omuntu okwerabamu.
Kaawa ono asinze kujjumbirwa bavubuka abekungaanya nebagenda okumunywa era nga kyekyogerwaako kati
Omuwala ayagala okupika amabeere gen aye nga talina ssente asazeewo kugenda ku luguudo asabe obuyambi
Christina Andrewsokuva mu Florida agamba nti akooye obubeere obutabimba
Ono nno ku luguudo ayimirirako ng’ayambadde aka bulawuzi aka pinka akaliko nti nina wensula naye njagala mabeere
Omuwala ono agamba nti musanyufu nti abantu basobodde okumuyamba yadde nga yabadde n’okutya ng’atandika okusabiriza.