Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okutangira abaana okufuna mukenenya

Enkola anayamba abakyala abalina akawuka ka mukenenya okukasiiga abaana baabwe etongozeddwa mu buvanjuba bw’eggwanga Mu enkola eno emanyiddwa nga Option B plus,abakyala bakussibwanga ku ddagala nga embuto za wiiki 14 okutuukira ddala nga bazadde Ng’atongoza enkola eno, omukoomukulembeze w’eggwanga Janat Museveni asabye abantu okukoma okumala gakyakala nga tebeekuuma ekyongedde obulwadde bw amukenenya. Ng’ali ku mukolo gwegumu, minister mubeezi…

Read More

Ssejjusa akyawumudde

Eyali akulira ekitongole ekikessi gen David Ssejusa awandikidde spiika wa palamenti Rebecca Kadaga ng’asaba oluwummula lwe lwongezebweeyo. Kino kizze nga wakayita olunaku lumu lwokka ng’amaggye gategeezezza nga bwegagaala okufuna anasikira Ssejusa mu palamenti Ng’ayita mu munnamateeka we Joseph Luzige , Ssejusa agamba nti akyetaaga emyezi esatu okumaliriza by’akola mu Bungereza

Read More

Nabagereka ku baana

Nabagereka Maama Syliva Naginda agamba nti ekivuddeko obusiwuufu bw’empisa mu baana bazadde. Ng’ayogerako eri abakyal abakulisitaayo ku kkanisa ya St John e Kawuku Ggaba, Nabagereka agambye nti abakyala beerabidde omulimu gwaabwe  buli kimu nebakirekera abakozi Mu bakyala bano mubaddemu bannamwandu aba mothers union, bakyaala b’abasumba n’abalala. Onoa gamba nti eno yensonga lwaki abaana bakula muwawa nga tebaliiko kuwabula

Read More

Ebola akomyeewo

Omuntu omu kikasiddwa nti afudde oluvanyuma lw'obulwadde bwa Ebola okubalukawo mu district ye Agago. Omuntu omulala naye ali ku ndiri okuva mu maka gamu ng'ono ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo. Omubaka omukyala ow'ekitundu kino Franca Akello agamba nti ministry y'ebyobulamu emaze okuyimbula abakugu baayo owkongera okwkebejja abantu abasemberedde omufu n'omulwadde. Wabula ono agamba nti minisitule yabakakasizza nti Ebola…

Read More

Mugende mulunde embuzi- President

President museveni aboggoledde abasomesa be Makerere abagaala okwongezebwa omusaala Ono abalagidde baddeyo okusomesa oba ssi kyo balundemu embuzi President okwogera bino abadde ayogerako eri abazirwanako mu district ye Mpigigy’ategerezza ng’eggwanga bweririna byeritunuulidde mu kadde kano ng’ggyeeko emisaala.   Abasabye okubeera abakkakkamu ng’ensonag zaabwe bwezikolebwaako Abasomesa basazeewo okussa wansi ebikola ku ttendekero e Makerere ekyavuddeko okuggala kw’ettendekero Poliisi yeddizza eby’okwerinda ku ttendekro…

Read More

Eggulu lisse omu

Omuntu omu y’akubiddwa eggulu elimuttiddewo Thomas Mukasa yoomu bantu omusanvu abakubiddwa eggulu ku kyaalo Bwema okumpi n’ekizinga kye Kibibi mu district ye Buvuma Bano babadde beggamye enkuba wansi w’omuti olw’eggulo lwaleero   Omulambo gw’omuntu afudde guyidde kyenkana kuggwaawo ate ng’abalala abasatu baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka

Read More

Ekizimbe kikyaali bubi

Emirimu olwaleero gizzeemu okusanyalala ku kizimbe kya  Superior Complex kumpi ne Arua  Arua Park wano mu kampala, nga kino kidiride ekizimbe kino okuddamu okugwaamu. Ekizimbe kino okukolera abantu abanjawulo,kyagaddwa olunaku lw’egulo oluvanyuma lwekimu ku kitundu kyakyo okugwamu abasubuzi nebasasana. Agavaayo gooleka nti police ekyeblungulude ekifo kyona okutangira abantu okuda mu kitundu kino

Read More

Kasirye Gwanga wakusengulwa

Munnamaggye Brig Kasirye Ggwanga wakusengulwa Poliisi egamba nti egenda kussa mu nkola ekiragiro kya kooti ekisengula ggwanga mu Uganda gy’abeeramu ng’eno elimu enkayaana Enju eyogerwaako ekaayanirwa omukyala Christine Kakai agamba nti ettaka okuli enyumba eno yaligula okuva mu kkampuni ya Bao enterprises Ne Kasirye ggwanga alumiriza nti alina ekyapa ekiraga nti ettaka yaligula ku ba Buganda land board. WOmuduumuzi…

Read More

Akasawo k’embwa

Abayiiya tebaggwaayo. Mu kibuga newyork ekya merica, omukyala ayiyizza akasawo mw’assa akabwa ken g’egenda okutambulamu Akasawo kano omuntua sobola n’okukaweeka n’atakalubirizibwa ng’agoba embwa ku kkubo. Wabula embwa ebadde mu kasawo kano erabise ga nyiivu nzibu ng’erabika eyagala kwetambuza  

Read More

Omusu guyiseewo

Mu mipiira gy’ebika olwaleero, ekika ky’omusu kiwanduddemu abalangira okwesogga oluzannya olusooka oluddirira olwakamalirzo luyite quarter final Ab’Omusu okuyitawo bawangudde abalangira goolo 3 ku emu mu mupiira ogubadde mu kisaawe e Nakivubo Omupiira ogwasooka , abalangira bawangula goolo 1 ku bwereere wabul goolo z’omusu zisobodde okuguyisaawo butereevu Ate ggyo emipiira egyenkya okuli ogw’olugave ne Ngabi ensamba  kko n’og’enjovu n’envubu…

Read More