Abasomesa mu ttendekero e Makerere bakyasibidde webaakoma ku butalinnya mu kibiina
Bano wansi w’ekibiina kya MUASA bagamba nti okutuusa nga basasuddwa teri kusomesa
Akulira abasomesa bano, Mohammed Kiggundu alumbye akakiiko akafuzi ak’ettendekero ng’agamba nti tekalina kyekakoze.
Ono asabye abaddukanya ettendekero okukola ku nsonga yaabwe mu bwangu ng’olusoma olujja telunnaggulawo.
Abasomesa bano olunaku lw’enkya lwebasisinkana abakulu mu ministry y’ebyenjigiriza
Meeya w'amasekkati ga Kampala, Godfrey Nyakaana agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku Jennifer Musisi.
Agamba nti Musisi yajja n'abantu abaali bakola mu kitongole ekiwooza nga tebalina kyebamanyi ku ngeri yakuddukanyaamu kibuga.
Amulumbye era ku kujjako aba divizoni obuyinz abwonna n'abwezza nga buli kimu akikolera waggulu w'amateeka.
Bino bili mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala abagaala Loodimeeya…
Ettaka lizzeemu okubumbulukuka mu district ye Buduuda
Kino kivudde ku nkuba eyatonnye akawungeezi kajjo ng'abantu 193 beebakoseddwa mu gombolola ye Bumayoka
Ssentebe wa district ye Buduuda, John Baptist Nambeshe agamba nti abakoseddwa batwaliddwa ku kitebe kye Gombolola okugaba weema gyekugenda mu maaso
Nambeshe wabula agamba nti balina weema 100 zokka nga zino zeezasigalawo mu mwaka 2010 ekizibu kino…
Ettaka lizzeemu okubumbulukuka e Buduuda
Emiruka ebiri gibikkiddwa nga kuno kwekuli ogwe Namirumba ne Matua nga byonna bisangibwa mu gombolola ye Bushiyi mu district ye Buduuda
Abantu abali mu 8,000 bebakoseddwa kyokka nga ku luno katonda ayambye tewali afudde.
Ettaka lino era liyiise mu mugga manafwa nagwo oguzibikidde mu kadde kano.
Minister akola ku bigwabitalaze n'ebibamba, Musa Ecweru agamba…
Poliisi e Mukono ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abatunzi b'embaawo ababadde beekalakaasa
Bano ekibaggye mu mbeera ye poliisi gyebagamba nti ekyagaanye okukwata basajja baayo abatta munaabwe eyali ataasa omulala gwebaali basikamu ssente nga bamukutte atambuza embaawo
Swaibu Kalibbala yakubwa amasasi mu kifuba ne ku mutwe ku kyaalo kigombya bweyali ataasa muganda we Salim MPagi
Abasuubuzi bano bazibye ekkubo ly'omu…
Omulunzi mu ggwanaga lya Holland alumya
Omusajja ono agulidde embizzi ze gogolo n’okuzikolera swiiming pool weziwugira
Embizzi zino zisooka kuyita mu gogolo okutuuka ku kidiba omuwugirwa era nga zirabiddwaako nga zinyumirwa okufaako obufi
Eggwanga lya America kyaddaaki lifunye alirivvula mu kubeera n’abantu abanene.
Eggwanga lya Mexico kati lyelisingamu abantu abanene mu nsi yonna.
Alipoota enoe koleddwa ekibiina ky’ensi yonn ekikola ku by’emmere.
Aba mexico abawerera ddala ebitundu 32 ku buli kimu beebanene ennyo okwawukanako ne America eri ku bitundu 31 ku kikumi.
Ekyewunyisa nti ate bbo aba mexico bano ekibagezza kulya bubi…
Abanonyereza ku ddagala erigema obulwadde bw’omusujja gw’ensiri baliko webatuuse.
Eddagala lino balikozesezza ku bantu 15, 12 nebatafuna bulwadde buno kyokka nga kyeyolesse nti omuntu okumugema olina okumuwa eddagala elinonyerezebwaako eriwera
Abantu bano eddagala lino lyabakubiddwa mu mpiso era nga kyazuuse nti emibiri gyaabwwe gyayongedde okuguma nebatafuna bulwadde buno mulundi mulala
Abantu obuwumbi 3 beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja…
Ekirwadde ekitannategerekeka kyakatta abantu basatu mu district ye Mubende
Omuntu akifunye alumwa olubuto era neluzimba okutuusa lw’aafa.
Abantu basatu beebakafa ekirwadde kino ate nga mukaaga bali ku ndiri.
Abalwadde batwaliddwa mu ddwaliro e Mulago ng'okunonyereza okuzuula ekituufu ku kirwadde kino kugenda mu maaso
Omusajja mu ggwanga lya Australia asingisiddwa omusango gwokwesitaza abantu.
Wati Holmwood yakirizza ogwokweyambula wakati mu kisawe kya rugby nga omuzayo gugenda maaso nadduka okwetolola ekisaawe kyonna.
Ono mugwenyufu wabaluwa.