Nga ebula mbale akatele ke Wandegeya katandike okukola mu butongole , nate abakatwalwa batandise okusaba banna Uganda bonna okubakwatizaako mu ntekateeka wenungi ayakatale kano .
Kano akatale kasuubirwa okugulwawo mu ntandikwa yomwezi ogwe kkumi ,nga kawemense obuwumbi 22 bulamba.
Muwejje muteesasira nga ono yye ssentebe wakatel kano , agamba nti buli kyetaagissa kiwedde , wabula nga kakano…
Omusajja agambibwa okuba nga yasingayo obukadde munsi yonna ku myaka 130 yewunyisizza abe Nyamitanga mu district ye Mbarara.
Muzei Paul Munyambubya yetegekera embuzi ze 6 enene ezokusalibwa nga afudde ,era asula nazo mu muzigo gwe ogwebisenge ebibiri .
Avunanyizibwa ku bantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu district ye Mbarara Habomugisha era nga muliranwa wa muzeyi ono,…
Abakulembeze ba district ye Wakiso, balina enteekateka gyebaleeta okuyamba abantu bamufuna mpola ,okwefunira enyumba ez’omulembe ng'ate bazitegese bulungi.
Okusinziira ku akulira eby'emirimu n'abakozi David Kigenyi Naluwayiro, District eyagala abantu abo nga balina bu poloti obutono ebayambe bayige okubukulakulanya n’okubawa zi pulani.
District enkola eno egenda kujiyisa mu bwangu ddala kibasobozese okumalawo enzimba embi n’omugotteko.
Naluwayiro agamba nti nga…
Abasuubuzi b’omukatale ka St Balikuddembe basekeredde gavumenti ku ky'okuzzaayo obuwumbi 10 obwabaweebwa mu bibiina byaabwe eby'okwekulakulanya.
Kino kiddiridde omuwabuzi wa president ku by’obufuzi Moses Byaruhanga, okulabula abasuubuzi bonna n'abavuzi ba bodaboda abazifuna okuzisasula mangu.
Ssentebe w'ekibiina kya St. Balikkudembe saving and credit society, John Baptist Kivumbi, agamba, buli omu yafuna emitwalo 30,000 gyokka ,president bweyali anonya akalulu…
Ababaka ba palamenti abava mu bitundu bya Buganda balayidde okuwakanya etteeka lyonna eriyinza okukosa Obuganda
Nga basisinkanyeemu katikkiro e Bulange Mengo, ababaka bano basuubizza okwogera n'eddoboozi ery'omwanguka ku nsonga za Buganda era mu kyo nebasuubiza n'okuperereza banaabwe okubawagira
Ng'ayogerako eri ababaka bano, Kamala byonna Charles Peter Mayiga asabye ababaka bano okwewala enjawukana mu byobufuzi bwegutuuka ku nsonag…
Ssabasajja Kabaka ayagalizza abayisiraamu Eid ey'emirembe n'essanyu n'abasaba okusaba nti obuli bw'enguzi busalirwe amagezi
Mu bubaka we eria bayisiraamu, Kabaka agambye nti obuli bw'enguzi kizibu kya maanyi ekyetaaga ekis akya katonda
Ono era asabye abayisiraamu okusigala nga beeyis abulungi n'okwagalaa
Abayisiraamu bakukwata Eid oluvanyuma lw'okumalako omwezi omutukuvu ogwa Ramathan
Omuliro gukutte negusanyawo bya bukadde ku kisaawe ky'enyonyi ekya Jommo Kenyata mu kibuga Nairobi.
Tewali Muntu alumiziddwa okusinziira ku kitongole ekiddukanya eby'entambula by'enyonyi ekya Kenya Airports Authority .
Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka wabula nga ebyentambula byenyonyi bbyo bisanyaladde .
President we ggwanga lino Uhuru Kenyata yatuuse dda ku kisaawe kino okulaba ekigenda maaso.
Omusajja mu ssaza Lya Ohio mu ggwanga lya Amerika akubye munne essasi lwakumugaana kuvuga nga atamidde.
Java Bowling 43, akubye munne ekyaasi abadde amuggyako ebisumuluzo by’emotoka oluvanyuma lwokukongojja omumbejje namaalwa ate nga nayagala kwepampalika ku nkata avuge.
Entabaza bakadde emuweddeko ali mabega wamitayimbwa nga aguddwako gwa kugezako kutta muntu.
Gavumenti ekkirizza enkola ya banka ezikolera ku mateeka g’obuyisiramu okutandika okukola mu ggwanga.
Minister w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga Rose Namayanja ategezezza nga ministry y’ebyenfuna bw'egenda okuddamu okwekenenya eteeka erikwata ku zi banka, enkola eno etambule bulungi.
Agamba enkola eno yakuyamba abantu okwewola sente okutali magoba .
Gavumenti egamba nti eli mu kutonda wo kakiiko akanateesa ku ngeri y’okuddizaamu Buganda ebyaayo
Kiddiridde president museveni okukkiriza okuzza ebya Buganda ebimu omuli ettaka ly’amagombolola, n’ensimbi buwumbi 20 mengo bw’ebanja
Omwogezi wa gavumenti Rose Namayanja agamba nti tebatudde bakola kyonna ekisoboka okulaba nti Buganda efuna ebyaayo
Namanyanja era alumbye abagamba nti okuwa Buganda ebyaayo kya byabufuzi .