Poliisi etandise okunonyereza ku muzungu enzaalwa ye Spain agambibwa okuba nga yesse
Florensa Detran yabuuse okuva ku mwaliro gwe 12 ogwa wooteri ya Sheraton n'afiirawo.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emiriraano, Ibin Senkumi agamba nti bakwataganye n'ekitebe kya Spain kuno okufuna ebisingawo n'okumanya kiki ekyaviiriddeko omusajja ono okwetta
Ssenkumbi agamba nti ekyasse omugenzi tekinnategerekeka yadde nga ebyakafunikawo biraga…
Ebbula ly’eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya litandise okuluma abalyetaaga
Mu malwaliro agasnga gyebalaga okulifuna babagobawo.
Akulira ekibiina ekigatta abantu abalina obulwadde buno Margret Happy agamba nti aba Busia beebasinze okukosebwa ng’ab’eddwaliro ekkulu katia te bazze mu bulwaliro butono.
Ono asabye gavumenti okwetegereza okulaba amalwaliro agakoseddwa gasindikibweemu eddagala
SSabiiti ewedde, minister omubeezi akola ku byobulamu, Ellioda Tumwesigye yakkiriza nti…
Abantu bangi balwaala kumala nnaku nebekyaawa.
Naye obadde okimanyi nti waliyo omuntu eyakamala ku kitanda emyaka 45
Paulo Machado obulamu bwe bwonna kyenkana abumaze mu ddwaliro oluvanyuma lw’okugongobala nga mwana muto.
Ono abeera ku byuuma ebiyamba okussa essaawa 24.
Ekyewunyisa nti omusajja ono obulamu teyabuvaako ng’atuula ku computer n’akola emilimu era ali mu kuwandiika ku bulamu bwe n’oluvanyuma abukolemu…
Poliisi ku muyiggo gw'omusajja enzaalwa ya China lwakukusa baana
Yang Zhengun n'omulala ategerekese nga Faith Orlando baggulwaako emisango gy'okukusa abaana kyokka nga kati emirundi 2 nga tebalabikako.
Ababiri bano baakukusa abaana babiri nga kuno kuliko omwana ow'emyaka 9 ne 13 okuva e Gulu okubatuusa mu Kampala okubakubisa obwa maalaya.
Amyuka omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango asabye omuntu yenna…
Abawuliriza ba Dembe FM obawaddeyo emitwaalo 20 eri omulimu gw’okuzzaawo amasiro ga ba ssekabaka .
Mu ngeri yeemu era baguze ne certificate eziweza emitwalo kkumi.
Bano basisinkanye minister w’ebyemizannyo Henry Ssekabembe abaddewo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Ng’ayogerako gyebali, Owek Sekabembe abasabye okwettanira emilimu gy’emikono neyebaaza ne Radio ya Dembe musaanikira mikutu olw’okusomesa abantu ba Kabaka.
Mu ngeri…
Amasimu g'abantu abatannawandiisa masimu gaabwe gasalidwaako.
Omwogezi w'akakiiko akakola ku byempuliziganya, Fred Otunnu agamba nti bakkiriza kkampuni z'amasimu okuggyako amasimu gano okuzuukusa ababadde beebase.
Otunnu agamba nti nsalessale eyaweebwa abantu okuwandiisa amasimu gaabwe eggwaako nga 31st omwezi guno era nga abanaaba tebannaba kwewandiisa bakugyibwa ku mpewo.
Abagyiddwaako bagenda kumala essaawa 12 nga tebasobola kukuba yadde okufuna amasimu oba…
Omuliro gusanyizawo bya bukadde oluvanyuma lw’okukwata ekisulo ky'abawala ku somero lya Nkutu memorial school e Iganga .
Abayizi bafiiriddwa emifaliso, ebitabo n'ebirala ebikozesebwa mu kusoma.
Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka.
Wabula amyuka RDC we Iganga David BBaale agamba abayizi ab'efujjo bandiba nga beebakumye omuliro guno.
Gyebuvuddeko abayizi bano bekumyeemu ogutaaka ne bekalakaasa olw'endya embi era bayonona ebintu ebitali bimu ekyavirako…
Eng Charles Kazibwe afudde amakya g’olunaku olwalero .
Kazibwe abadde n'obuzibu mu lubuto era abadde ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Nsambya .
Kazibwe yeeyali Bba w'eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Specioza Wandira Kazibwe.
Twogeddeko n'omu ku mikwano gye Monica Asaba atutegeeza nga abasawo bwebafubye enyo okutaasa obulamu bw'omugenzi naye ne bigaana.
Agamba kati bali mu kwogerezeganya n'ab'enganda z'omugenzi okulaba nga omulambo…
Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asabye nti wabeewo ekkomo ku kukozesa eryaanyi eggwaaga bweriba nga lyakugenda mu maaso
Ng'ayogerako eri Nasisi w'omuntu, Ssabasajja agambye nti kyetaagsa newabawo okuteesa 'okukwatagana ku nosnga ezitali zimu.
Agamba nti emmundu bazirabye naye nga teziyamba
Bw'atuuse ku nsonga y'olulimi, Kabaka agambye nti ennimi enzariranwa zirina okutumbulwa kubanga ennono kw'etambulira
Asabye nti wabeewo…
Ssabasajja atuuse mu lubiri e mengo wakati mu nduulu okuva eri abantu abeetabye ku mukolo guno.
Bazzukulu ba Kayiira ab'embogo beebazze bakongozze omuteregga.
Emikolo gino gyetabiddwaako ne president Museveni