Gavumenti ya NRM kyaddaaki ekkirizza okuzza ebintu bya Buganda by'erudde ng'etuddeko.
Endagaano eyassiddwaako emikono wakati wa gavumenti eya wakati ne mengo eraga nti ebyo byonna ebyatwalibw aomuli ettaka ebizimbe n'obuwumbi 20 byakuddizibwa
Endaagano eno eraga nti kino kyatandise okukola nga lumu omwezi guno ate ng'ettaka lino n'ebizimbe bilina okuggwaayo nga omwaka 2015 tegunnatuuka
Katikkiro wa Buganda Charles Peter…
Omusajja eyabulwaako wallet ye emyaka 24 emabega amaze n’agifuna
Manyi kati bangi bawakana naye nga kituufu .
Omusajja ono amanyiddwa nga Shrivel yewnyizza omuntu okumukubira essimu ng’amutegeeza nga bw’alonze wallet eno.
Ekyewunyisizza nti byonna ebyaali mu wallet eno mwebili yadde nga munda abadde atandise okuvunda.
Abantu abamu bakoowa poliisi naye ono yayitawo.
Ashton Powers, a 24 okuva mu ssaza lye Arizona ageze omusirikale wa poliisi atudde mu motoka ye , n'agyayo akambe nagifumita emipiira gyonna.
Ono abadde amulanga kulawuna nyo kiro nga abalekanyiza akagombe ka police.
Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakwanze sipiika ekiwandiiko ekiwakanya okuwumuza banaabwe okumala entuula ssatu.
Akulira oludda oluvuganya Nathan Nandala Mafaabi agamba baagala sipiika asazeemu ekyasaliddwawo omumyuka we Jacob Oulanya kubanga yakikoze mu bukyamu ekintu kyebatayinza kukiriza.
Mafabi alumirizza nga olanya bw'azze nga akola ensobi mu ntuula ez'enjawulo ekintu ekirina okukoma.
Ababaka bano era baweze okufuluma nga palamenti buli bwe…
Lord mayor wa kampala Erias Lukwago akyagenda maaso n’okwewozako maaso g’akakiiko akawulira okwemulugunya kaba kansala 17 abaagala okumujjamu obwesige.
Munamateka wabakansala bano Kiryoowa Kiwanuka alumiriza Lukwago okulemererwa okuyita enkiiko ezabulijjo neyemalira ku zeyayitanga nga alina ekigendererwa.
Agattako nti mu mateeka buli luvanyuma lwa myeezi esatu waba walina okuberawo olukungaana ekintu ekitaakolebwa mu myezi etaano.
Wabula mu kwewozako kwe,…
Abaana abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bakyabolebwa naddala mu mawnaga agakyakula
Abaana bano ababalabirira mu masomero n’awaka batuuka n’okubakuba
Okuzuula bano, abanonyereza beebuzizza ku bantu abalabirira abaana bano emitwalo ena n’ekitundu
Kino kyongera okukosa abaana bano era gyebigweera nga bartandise okweyawula ku banaabwe n’okwekubagiza
Abaana abaweza obukadde 93 beebalina obulemu mu nsi yonna ng’abasinga bali mu mawnaga agakyakula
Abakugu mu nsonga z’emiwendo gy’abantu balaze okutya nti nga tewabaddewo kukoma ku bakyala kuzaala, omuwendo gw’abantu gwandikubisibwaamu emirundi 2.
Kino kiddiridde ababaka abamu mu palamenti okuwakanya etteeka elikwata ku miwendo gy’abantu saabiiti ewedde
Akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’emiwendo mu ggwanga Charles Biremera agamba nti etteeka lino lyaali lyakuyambako okulaba nti omuwendo gw’abantu ababeerawo gubeera nga gusobola…
Abaagalana babiri ababadde bagenda va okubwa empeta emitima gibavuddemu n’eby’okwemoola nebabivaako ekizimbe bwekiyiise nga bayitawo.
Bano babadde batuuka bwebati ku lutikko webabadde bagenda okugattibwa ekizimbe nekiyiika ku muliraano buli omu n’ateekako kakokol atondeka nyuma okubadde ne Reverand yennyini abadde alina okubagatta
Ekirungi nti tebakoseddwa kyokka ng’omukolo guyimiridde akabanga naye nga bamaze nebagattibwa
Ministry y’ebyobulamu enyonyodde ekivudde ebbula ly’eddagala lya ARVs mu malwaliro ga gavumneti
Minister omubeezi ow’ebyobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti kino kivudde ku bantu abamira eddagala lino okweyongera
Tumwesigye agamba nti balowooza ku bantu emitwalo 10 abapya okukozesa eddagala lino kyokka nga bakafuna abantu emitwaalo kkumi mwenda mu mwak aguno
Buli mwaka abantu emitwaalo kumi n’ena n’ekitundu beebafuna siliima…
Loodi meeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago yegaanye ebimwogerwaako nti tayagala kukolagana na gavumenti kko ne executive director Jennifer Musisi.
Lukwago abadde addamu byayogerwa musisi nti Lukwago aludde nga yepena emikolo gya gavumenti naddala egiliko president Museveni.
Lukwago ategeezezza akakiiko nti tategeezebwa ku mikolo gino nga ne president lweyalambula ekibuga teyategeezebwa