Empaka z’omupiira gw’oku lubalama lw’enyanja zitandika ku nkomerero ya wiiki eno ku Lido beach Entebbe
Ab;ekibiina ekitwala empaka zino beebalangiridde bino mu Lukiiko lwa bannamawulire e kololo.
Club 16 zezigamanyiziddwaamu ebibinja 2 nga kuliko aba Huricane ne Monsoon.
Omupoliisi abadde ali ku milimu gye akubiddwa amasasi agamuttiddewo
Gaddi Sulukumana ng’abadde akolera ku poliisi ye Seeta omusajja atategerekese amulumbye n’amusikambulako emmundu n’amukuba amasasi
Omusajja ono bw’amaze n’adduka n’aleka omupoliisi ng’ali mu kitaba ky’omusaayi ataawa kyokka ng’abantu tebamugobeddeewo nga batya okumulumba
Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisnago, Henry Mugumya akakasizza ebibaddewo kyokka talina ky’agasseeko
Amaggye g’eggwanga gatandise okwebuuza ku kifo omwali akulira eby’obukesse Gen David Sejjusa
Ab’amaggye bano balagidde ekitongole kyaabwe ekikola ku by’amaggye okukolagana ne ssabawolereza wa gavumenti okuwabula ku kiyinz aokukolebwa
Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala bino y’abyogedde bw’abadde asisinkanye ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda
Uganda eri mu bulabe bw’okuddamu okulumbibwa ekirwadde kya polio
Ab’ekibiina ky’ensi tonna bagamba nti abantu abasoba mu bukadde 2 beebali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kino mu Uganda
Mu kadde kano abaana abalina poliiyo mu Somalia bali 100 mu Kenya baliyo 10 era nga ne Uganda teyeyinula
Omukungu mu kibiina kino Dr Samuel Okirio agamba nti abantu bayitiridde kutambula…
Police e Mbarara ekutte omusajja agambibwa okutta mukyalawe nga amulumiriza okubera omwenzi.
Namukadde George Rwomuzana 70 nga mutuze w’okukyalo Rubindi mu Kashari ,avudde mu mbeera natirimbula mukyalawe ,nga agamba nti buli lwabadde ava awaka , omukyala ono nga agenda mu bwenzi.
Omukyala gw'asse ye Mbabazi nga wa myaka 28 gyokka.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Mbarara Pauline…
Omusawo akola ku byokuzaalisa awumuziddwa emyaka 2 nga ono alangibwa lwakweyisa mu ngeri etasaana.
Dr Asinja Kapur y'awumuzidwa nga avunaanibwa gwakukyusa biwandiiko by’omwana omulenzi eyali yakazaalibwa ,olwo bananyini mwana n'abawamu omulambo gw'omwana omuwala.
Akakiiko akagatta abasawo kakasiza nga Dr. Asinja bweyakyusakyusa ebiwandiko ,nga bino byebyali biraga nga abafumbo ababiri bwebali bazadde omwana omulenzi wabula yye n'abawa mu…
Abasajja mu ggwanga lya Sweden balagiddwa okwongera okusabika obusajja bwaabwe nga bagenda okukka mu mazzi .
Kino kiddiridde abakugu okugwa ku kyenyanja nga kino tekibuwomeddwa bitooke byebigwa
Ekyenyanja kino kirumba basajja bokka nekibalumako ebyaabwe era nga waliwo abaluguddemu edda
Abasajja nabo balabye bili bityo nebafuna ebyuuma byebambala ku busajja okudduka ekyenyanja kino kyokka ng’era okutya kukyaliwo
Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Leila Blick agamba nti ekigendererwa kye kikyaali kyakuvuga kutuuka ku mutindo gwa Suzan Muwonge.
Muwonge ye mukyala yekka eyakawangula empaka za bannantameggwa ba Africa mu mwaka gwa 2011.
Lelial muwonge ne munnakenya Helen Shiri bagenda kukwatagana n’abasajja 24 mu mpaka za pear of Africa Uganda rally
Muwonge wakuvuga Subaru N11, Leila wakubeera mu Evolution five…
Abantu bangi bagaala nnyo okuzaala abaana abagimu naye nga ssinga kisukka, ate gayinza okufuuka amaziga
Mu ggwanga lya spain ,Baby eyazaaliddwa nga wa kilo 6 buli omu kw’asizza amaaso oluvanyuma lwa nyina okumuzaala nga talongoseddwa.
Omukyala omungereza ew’emyaka 40 yeeyazadde omwana ono era nga bebi ne maama tebalina mutawaana.
Bangi bakyewunya naye wali webuuzizza kiki ekivaako abaana okuzaalibwa…
Abantu abatannawandiisa masimu gaabwe bazzeemu okujjukizibw aokukikola
Omulanga gukubiddwa omukungu mu kkampunia MTN Mazen Mroue abadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti
Okusinziira ku kakiiko akakola kubyempuliziganya, abantu bonna abatannaba kwewandiisa balina okuba nga bakikoze ng’ennaku z’omwezi 21 tezinnatuuka kubanga bakusalwaako
Mazen agambye nti kawefube w’okuwandiisa abantu agenda bulungi ng’abatanaba kwewandiisa nabo ssinga bakikola byonna byakutereera