Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abbye omufu

Ono bukyanga bamutenda okubba abbyeemu bino. Omusajja ono ayeeyita Billy ebbye evvu ly’omufu Muliranwa yeeyafiirwa nyina nebamwokya ne evvu n’alitereka ng’abadde alitunulako okujjukira nyina. Omusajja ono b’wabuuziddwa wa gy’abadde atwala omufu n’ategeeza nga bw’abadde agyiyita enjaga y’obuwunga  

Read More

Iryn Namubiru mu kooti

Okunonyereza ku musango ogwawaabwa omuyimbi Irene Namubiru kukyagenda mu maaso. Ono yawaaba munnabyabusuubuzi era nga yeeyali manager we Kim Tumwesigye ng’amulanga kumutikka njaga mu bugenderevu Kigambibw anti wakati w’enaku z’omwezi 1 ne 5 mu mwezi gw’okutaano mu mwka aguno, Kim ono yamusaba okumutwalira ku case ye gyeyali apakiddemu enjaga eweza kilo kumpi enkumi ssatu Enjaga eno yagisosoneka mu…

Read More

Abavuganya balemeddeko-Nabila akiise yekka

Omubaka omukyala owa kampala Nabilah Nagaayi yesolosezza mu bavuganya banne neyetaba mu kutuula kw apalamenti yadde banne beediimye. Nabilah abadde yeebikkiridde ayiseewo okutuuka ku ludda lw’abavuganya n’atuulayo yekka. Ababaka okuva ku ludda oluvuganya mu gavumenti n’olwaleero tebalabiseeko mu palamenti Bano basazeewo okwekalakaasa nga bagamba nti bakooye aba NRM okubayisaamu amaaso nga bakozesa obungi bwaabwe. Akulira oludda oluvuganya mu…

Read More

Emisaala gy’abakozi ba gavumenti gikaaye

Emisaala mu bakozi ba gavumenti gikutte wansi ne waggulu. Ng’abasomesa n’aba poliisi bakaaba , n’ababaka mu palamenti tebafunye gwaabwe Bano bulijjo basasulwa nga 15 kyokka nga leero 24 tebalina kyebalaabye Minister omubeezi akola ku nsonga z’ebyensimbi, Matia Kasaija agamba nti wabaddewo okulwaamu kyokka nga kino kibaddewo mwezi guno gwokka Abasomesa abatannafuna musaala gwaabwe ssibakusomesa. Bino byebimu ku bintu abasomesa byebasazeewo…

Read More

Taata afunyisizza omwana olubuto

Omuzadde abadde afuuse namunswa akwatiddwa Omusajja ono ategerekese nga Robert Kaye abadde asooberera muwala we n’amusobyaako ng’atuuse n’okumutikka ettu Omusajja ono yeeyasoose okuwaaba ku poliisi nti muwala we ali lubuto kyokka ng’omuwala ono amuwemukidde n’amusongamu nga bulijjo bw’amukozesa. Omwana ono takomye awo n’asonga mu musomesa we John Baptist Kigundu gw’agamba nti naye abadde amukozesa Omuwala ono agambye nti buli…

Read More

Enyanja etuze 9

Abantu 9 bafudde oluvanyuma lw’okugwa mu Nyanja . Bano beebamu kw'abo  16 ababidde mu Nyanja Nalubaale mu kitundu kye  Kavu Nyanja mu gombolola ye  Bussi . Omuwandiisi w’ekyalo kino  Emmanuel Basaanya agamba bano baabadde bagenze kuvuba omuyaga ogwamanyi negubasena okuva ku maato gaabwe  nebamira. Abantu musanvu beebatasiddwa, nga n'omulambo gumu gwe gwakanyululwa

Read More

Aronda awera

Minister w’ensonga z'omunda omuggya Gen Aronda Nyakairima, aweze okufafagana ne bannabyabufuzi abakuba enkungaana mu nguudo, obutale n'ebifo ebirala ebitakirizibwa. Bw'abadde akwasibwa ebikola bya ofiisi olwaleero,  asuubizza okukuuma eddembe ly’obuntu n'okuwuliriza eddoboozi ly’abangi. Ye Hillary Onek nga gw'adidde mu bigere amusabye okusooka okufa ku mbeera y’abakozi ba ministry eno okusingira ddala abasirikale ba police.

Read More

Katemba nga bakansala bakunyizibwa

Abadde katemba mu kakiiko akatekebaawo okuwulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abagala okuggya obwesige mu lord mayor wa kampala Erias Lukwago. Lord mayor yeyasoose okwekandaga nava awatula akakiiko kano oluvanyuma lw’okuganibwa okuyingira munda. Banamateeka ba Lukwago bagenze maaso n'okusoya bakansala abasoosewo ebibuuzo era  kansala Hope Tumushabe yasoosewo. Ono bw'abuuziddwa munnamateka wa Lukwago ku byebalumiriza lord mayor obutayita nkiiko…

Read More

Kasiru ayogedde

Omwana omuwala ow’emyaka esatu eyagaana okwogera nga bulijjo kasiru ayogedde ekigambo ekisoose mu bulamu bwe. Manyi bangi bebuuza atya naye ng’ekyewunyisa nti omwana ono ekimwogezza bya kulya Omwana ono babadde bamuwa olububi lw’amata muyite cheese okumala akabanga era babadde awo n’avaamu ekigambo Abasawo baali bamwekebejja nebategeeza nga bweyali alina buzibu ku bwongo kyokka nyina wakati mu ssanyu agambye…

Read More