Abatuuze mu zooni ya Kanakulya e Kibuli beesuddemu akambayaaya ne beekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze.
Bano bagamba kati wiiki ziweze 2 nga bali mu kibululu oluvanyuma lwa tulasifooma okufunamu obuzibu.
Bano bazibye oluguudo lwa Kakungulu era emotoka tezikyatambula nga wazzewo n'omugotteko.
Okusanyalala kw’ebyentambula kukosezza ssabadumizi wa poliisi Gen Kale Kaihura n'omukubiriza w'olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga nga oluseregende lw'emotoka…
Abakozi mu kkampuni ya multiplex ekola ku by'okuzimba bali mu kwekalakaasa
Bano bamaze emyezi esatu nga tebasasulwa.
Abakozi bano bagamba nti buli mwezi lweguggwaako nga babasuubiza naye nga negyebuli kati tewlai kyebalabye.
Abakozi bano bali mu 200 mulimu ba engineer, abawereeza ku bizimbe n’abalala
Munnamawulire abadde anyonyola banne nga bwawandiika saako n'okukuba obufananyi nga anyonyola, yeekanze akubye ekifananyi ky’obusajja mu butanwa.
Ono awulidde banne kuseka nga tamanyi kigenda maaso .
Agenze okwekanga nga mu bufananyi obwedda bwakuba mulimu akafanana obusajja bwe.
Abasomesa nabasirikale ba police bakusasulwa wiiki eggya.
Ministry y’ebyensimbi etegeezezza nga bwefunye obuwumbi 44 obwokusasula emisaala gy’abakozi bano.
Abasomesa bakusasulwa emyeezi ebiri okuli May ne June
Omuwandiisi weggwanika ya ministry eno , Keith Muhakanizi agamba okulwawo okusasula abasomesa kyava ku ministry y’abakozi okubawa olukalala kwebasasulira abakozi nga kuliko ab’empewo bebabadde balina okujjako.
Kooti ejulirwamu egobye okusaba kweyali omubaka wa Arua Akbar Godi kweyawayo nga awakanya ekyokumusalira emyaka 25 olwokusingisibwa ogwokutta mukyala we Rehma Ceasar.
Abalamuzi ba kooti abasatu bategezezza nga nga obujilizi obwaweebwa kooti ye mukono obulumika Godi bumalira ddala okumusingisa omusango guno.
Bano besigamye ku bujulizi obwawebwa muganda w’omugenzi nga kwogasse ne maama we bwebategeeza nga Godi bweyatiisatiisanga…
Katemba akyagenda maaso mu kakiiko ka KCCA akawulira okwemulugunya kwa ba kansala abagala okuggya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago.
Bannamateeka ba Lukwago bakunyizza ba kansala okuli Adam Kyazze, Bernard Luyiga nebibasobera.
Bw'abuuziddwa lwaki teyatwala byava mu mu nkiiko eze mabega Lord Mayor okuteekako omukono,omuwandiisi w'enkiiko,Rauben Kamoga ategezezza nga bweyali alinda ekiragiro okuve eri eri akulira ekibuga…
Abantu abasoba mu 70 beebafiiridde mu kabenje k’eggaali y’omukka
Abasoba mu 140 beebalumiziddwa eggali eno ey’byana 8 bw’evudde ku njegere zaayo
Kigambibwa okuba ng’eggaali eno ebadde edduka emirundi esatu okusukka ku misind ekw’elina okutambulira ate ng’eli mu kkoona
Abadde avuga eggaali eno akwtaiddwa ng’okunonyereza bwekugenda ,maaso.
Eggwanga lya Spain lilangiridde ennaku 3 ez’okukungubaga
Okukunya akulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi kufundikiddwa
Bannamateeka ba Loodi meeya nga bakulembeddwamu Abdu Katuntu beebakunyizza musisi nga kati luno lunaku lwa kubiri nga kino kibaawo.
Ng’addamu ebibuuzo ebimubuuziddwa, Musisi akkiriza nti alina ebiwandiiko byeyakweka loodi meeya yadde ng’akimanyi nti y’akulira bannabyabufuzi mu KCCA
Olunaku lwaleero era okukunya musisi kwesibyeemu, bannamateeka ba Lukwago bwebalumbye omulamuzi Catherine Bamugemeirwe…
Omusajja atemera mu gy'obukulu 42 e Kawanda agudde mu tanka y'amazzi naafirawo,
Ono abadde agezaako kusika kidomola ekibadde kyalemera mu tanka eno .
Omwogezi wa police mu kampala ne miriraano, Idi Bin Ssenkumbi atutegeezeza nti enjega eno egudde ku kyalo ekimanyidwa na Wabitende e Kawanda .
Omusajja afudde abadde apangisiddwa nanyini tanka eno okumusikirayo ekidomola kino.
Omuliro gukutte enyumba ya balongo ku masiro ga ba ssekabaka e Kasubi.
Tekinnategerekeka omuliro guno guvudde ku ki naye ng’abaddukirize batuuse mangu okuguzikiza nga tegunnalanda
N’abazinya mooto batuuse mu kitundu kino kyokka nga basanze abantu bamaze okuguzikiza.
Katikkiro wa Buganda owekitibwa Charles peter Mayiga akyaddeko ku masiro gano n’agumya abantu ng’omuliro guno bwegutabadde gwa maanyi
Asuubizza nga bwebagenda okunonyereza…